TOP

Ofiisi za NRM e Luweero ziggaddwa lwa bbanja

By Musasi wa Bukedde

Added 21st June 2018

ABAKOZI mu ofiisi ya NRM mu disitulikiti ya Luweero ababadde beegeyaamu ku by'okulonda kwa LC baakiguddeko nnanyini kizimbe mwe bakolera bw'abafulumizza wabweru entyagi n'azisibako kkufulu lwa bbanja eriweza 1,800,000/=.

Ekizimbeekyaggaddwaokuliofiisizanrmeluweero 703x422

Ekizimbe okuli ofiisi za NRM e Lwuweero ekyaggaddwa

Bya Samuel Kanyike         

Maneja wa kampuni ya Kasoma and sons mu Lumu Zone mu kibuga Luweero aba NRM kwe baapangisa ofiisi Mahad Semmambo ng'ali wamu ne ssentebe wa Lumu Zone Sakka Kisekka ku lw'okusatu baazinzeeko ofiisi ne balagira abakozi okuva muntebe zaabwe bafulume mu bwangu wabweru kye bakoze ekizimbe ne kissibwako kkufulu. 

Semmambo yagambye nti abanjizza ensimbi okuva ku kitebe kya NRM e Kyaddondo obwoya ne butuuka n'okumuggwa ku magulu nga tebamuwa nsonga ntuufu ebagaanyi okusasula ssonga naye alina ebizibu byalina okumala ebimutuuse mu bulago n'ekyasinze okumunyiiza kwe kujjako masimu gaabwe. 

Yagambye nti abakozi mu ofiisi ya NRM e Luweero bwabadde abajjukiza ebbanja bamuyombesa na kumujerega kwe kusalawo abafulumye aggalewo okutuusa lwe balimusasula. 

Wabula akulira okulonda kwa NRM mu disitulikiti ya Luweero David Kamugisha yagambye nti Semmambo babaddenga bamusasula mu budde nga n'ogusembyeyo baamusasudde  2,000,000/= za myezi 12 ze yali abanja. 

Yagambye ne zino bakamaabe babadde mutegeka ya kuzisasula nti kyokka yapapye n'afubutuka bufubutusi nga tabawadde na notisi n'amala gaggala ofiisi yaabwe erimu ebiwandiiko ebikulu naddala bye bagenda okukozesa nga beetegekera okulonda kwa LC okubindabinda ebiyinza okubula. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...