TOP
  • Home
  • Agawano
  • Bassentebe ba LC 1 e Lwengo balaajanidde Museveni abongeze ensako

Bassentebe ba LC 1 e Lwengo balaajanidde Museveni abongeze ensako

By Musasi wa Bukedde

Added 21st June 2018

BASSENTEBE b'ebyalo 454 ebikola disitulikiti y'e Lwengo balaajanidde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni abongeze ensako (bbo gye bayise omusaala) okuva ku mitwalo 120,000/- okutuuka ku 500,000/-

Sentebemutabaazingataakakanebasentebebebyaloabalemereddwaokukolanebaddamukugwiranababongezeomusaala 703x422

Ssentebe w'e Lwengo ng'ayogera ne bassentebe ba LC 1 mu lukiiko

Okwogera bino basinzidde mu lukiiko lw'okusisinkana ssentebe, George Mutabaazi olugendereddwaamu okulondoola  oba buli ssentebe w'ekyalo yafuna akasiimo ke ak'omwaka guno.     

Bano nga bakulembeddwamu Mudashiru Kafuuma baagala Mutabaazi abatuusize okusaba kwabwe eri Pulezidenti Museveni nabo bongezebwe omusaala.

Bagamba nti be bakyasinze okutoba n'ebizibu ebigwa ku bitundu byabwe omuli okumalawo ettemu, obubbi bw'ebisolo n'ebirime kw'ossa n'ekisaddaaka baana ekyali kikyase mu Lwengo.     

  assentebe nga basimbye ennyiriri okwetaba mu lukiiko Bassentebe nga basimbye ennyiriri okwetaba mu lukiiko

Mutabaazi abasekeredde olw'obutaawula akasiimo n'omusaala kuba akasiimo tebakasaba kuba kaba ka kyeyagalire n'abawa amagezi okuddayo basome basobole okwesimba mu bifo ebya waggulu bave mu kululunkanira okubongeza omusaala.   

Wano asabye abo abanayitamu ku bwasentebe bwebyalo obubindabinda obutettantala kumubonyaabonya kuba abamu ku bassentebe babadde bayitirizza okwenyigira mu bubbi bw'ettaka so nga abamu bakaddiye tebakyasobola kukola bulungi emirimu gyabwe.

Mu ngeri y'emu Mutabaazi atadde etteeka ku bassentebe abanaayitamu okuzimba kaabuyonjo mu maka gaabwe nga bukyali n'okusimba muwogo nga beetolooza ensalosalo z'ebibanja byabwe ataakikole waakukubibwa kibooko oba okugobwa ku kyalo.  

Obukadde 54,480000/- ze zaaweebwa bassentebe b'ebyalo okwetoloola disitulikiti ku ntandikwa y'omwezi guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kalendeweds1 220x290

Obunkenke e Namirembe nga Reverand...

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev....

Saba 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Nakalembe1 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Sebulime1 220x290

Famire ya Ssebulime ekukkuluma...

FAMIRE y’omugenzi Ronald Ssebulime eyakubwa poliisi amasasi ng’ateeberezebwa okuba mu lukwe lw’okwagala okutta...

War1 220x290

Tekinologiya wa Iran asannyalazza...

TRUMP yabadde takisuubira nti Iran erina tekinologiya asobola okusannyalaza ennyonyi za America! Kyamukubye wala...