TOP
  • Home
  • Agookya
  • Abakuumi ba Kayihura nabo baboogezza ebyama kw'abadde mukama waabwe

Abakuumi ba Kayihura nabo baboogezza ebyama kw'abadde mukama waabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd June 2018

Abakuumi ba Kayihura nabo baboogezza ebyama kw'abadde mukama waabwe

Solution 703x422

Kayihura (ku ddyo) ne Kayira (ku kkono) eyali omukuumi we.

ABAKUUMI ba Gen. Kale Kayihura abaayitiddwa ku kitebe ky’ekitongole ky’amagye ekikessi baboogezza ebyama bye bamanyi ku mukama waabwe ne balaga engeri gye yatambulangamu n’abantu be yasisinkananga.

Bababuuzizza bannyonnyole ku lukiiko olugambibwa okuba nti lwatuula ku bbaala ya Kati Kati nga Kaweesi tannattibwa. Mood Kayira eyali musajja we ow’oku lusegere baamubuuzizza annyonnyole ku bantu mukama we be yamulagiranga okutwalira ssente era ssente zino zaali nga zaaki?

Olwamalirizza okubabuuza bino n’ebirala ne babaggalira! Abaserikale abeeyanjudde ku CMI abamu yali yabakyusa, abalala be babadde bakyamukuuma, kuliko abaserikale ba poliisi ekuuma abakungu, VIPPU, abakolera wansi w’ekitongole kya Counter Terrorism n’ab’ekitongole kya Police Presidential Guard (PPG).

We baamugobera mu poliisi, Kayihura yali yakyusa abaserikale abamukuuma, aba VIPPU yali abagobye ng’afunye aba PPG abakuuma Katikkiro wa Uganda, muk’omukulembeze n’omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga nga bayambibwako Special Forces Command (SFC).

Okusinziira ku nsonda mu Counter Terrorism, Kayihura yali yasigaza abaserikale ba poliisi babiri bokka ng’omu ye Mood Kayira eyeeyanjudde ku CMI n’omulala amannya Bukedde gaatasobodde kufuna, abalala yali yabaggya mu PPG.

Bwe yabafuna okumukuuma, yabalagira baweebwe yunifoomu za CT enzirugavu n’emmundu zaabwe ez’ebibomboola ze baava nazo mu PPG n’abalagira bazikyuse.

Bino byonna, byaliwo nga waakayita wiiki bbiri zokka nga Kaweesi amaze okutemulwa. Kinajjukirwa nti, Kayihura mu kiseera kye kimu, yagoba abantu mukaaga okuva mu ofiisi ye n’abasindika okuweereza poliisi mu bifo ebirala emirimu mu ofiisi Abakuumi ba Kayihura baboogezza ye n’agikwasa abalala.

Mu bantu Kayihura be yagoba mu ofiisi ye kuliko; eyali omuyambi we Jonathan Baroza ono ekifo kye yakiteekamu CP Abraham Sagal, Isaiah Igumira, David Sembera, Ambrose Rwanyonga, Immaculate Musimenta ne Emmanuel Ochamringa eyali akulira ebyokwerinda.

Abaserikale abeeyanjudde ku CMI baabakunyizza ku ngeri gye baali bakolamu emirimu gya mukama waabwe n’entambula ze. Okusinziira ku nsonda mu CMI, baababuuzizza okunnyonnyola ebyaliwo ku Lwokutaano nga March 17, 2017 olunaku Kaweesi lwe yatemulwa.

Kayihura ye yasooka okubuuzibwa engeri gye yafunamu amawulire g’okufa kwa Kaweesi, eyagamuwa n’ekitundu we yali mu kiseera ekyo.

Baagattako n’ekibuuzo annyonnyole abantu oba omuntu gwe yali naye we yafunira amawulire g’okuttibwa kwa Kaweesi.

Kigambibwa nti, waayita eddakiika ntono nnyo Kayihura n’atuuka mu kifo we battira Kaweesi, aba CMI beetaaga okumanya yasobola atya okukozesa obwangu okutuuka e Kulambiro.

Baddereeva basatu, eyali avuga mmotoka ya Kayihura n’ezabakuumi be zombi, buli omu yabuuziddwa obuwanvu obuli wakati w’ekitebe kya poliisi e Naggulu ne Kulambiro ew’omugenzi Kaweesi n’eddakiika ze basobola okuvugirawo.

“Baatuwadde obudde bwa njawulo bwe sisobola kukubuulira naye buli omu yatugambye kikye.” Ensonda bwe zaategeezezza.

Baabuuzizza n’ekifo we baasimbula okugenda e Kulambiro nga Kaweesi amaze okutemulwa. Bano era baabuuziddwa n’ebintu ebirala omuli entambula z’eyali mukama waabwe n’abantu be yasisinkananga, n’ebifo we yabasisinkananga.

N’abaserikale ba PPG, nabo beeyanjudde ne babuuzibwa wabula bano ebyabwe byabadde bitono engeri gye baakolera omukulu akaseera akatono.

Kayihura yakwatibwa kati wiiki nnamba eyiseewo. Baamuggya ku faamu ye ku kyalo Katebe mu ggombolola y’e Kashagama e Lyantonde ne bamuggalira mu kaduukulu k’amagye e Makindye.

Okuva lwe yakwatibwa, yagaana okukola sitatimenti wadde bamwokya kajogijogi w’ebibuuzo ku nsonga omuli eby’okutemula Kaweesi, Joan Kagezi, Mohammad Kiggundu, Bamaseeka, ebijambiya by’e Masaka, n’eggwanga lyonna, okutemula omugagga Wilberforce Wamala, ettemu ly’abakazi e Nansana ne Katabi. Bino byonna byaliwo mu kiseera nga Kayihura ye muduumizi wa poliisi era alina okunnyonnyola byatuukawo bitya n’atasobola kubisalira magezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walk 220x290

Batankanye enfa ya Bannayuganda...

POLIISI ebakanye n’okunoonyereza ku gimu ku mirambo gya Bannayuganda egyakomezeddwaawo okuva mu Buwarabu gye bafi...

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...