TOP
  • Home
  • Agawano
  • Minisita Kasolo agugumbudde abamalira obudde mu ntalo z'ebyobufuzi

Minisita Kasolo agugumbudde abamalira obudde mu ntalo z'ebyobufuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd June 2018

Minisita avunaanyizibwa ku bibiina by'obwegassi Haruna Kyeyune Kasolo abamalira obudde mu kulwana entalo z'eby'obufuzi ne balemererwa okubaako kye beekolera okutumbula embeera zaabwe.

Whatsappimage20180622at85306am 703x422

Bya Phiona Nanyomo       

Kasolo alumirizza nti bangi mu kifo ky'okwenyigira mu kukola emirimu ne beekulaakulanya ate badda mu kulwana ntalo za byabufuzi ezitalina kye zibongerako.

Agambye nti Bannakyotera balina okukimanya nti gavumenti bweba n'enkulaakulana gy'ereese mu bitundu byabwe nabo balina okulwana obwezizingirire okulaba nga baganyulwa mu nkulaakulana so ssi kugirwanyisa nkulaakulana.

Kasolo asinzidde kikuta mu disitulikiti ye kyotera mukutongoza okukola oluguudo lw'ekikuta-kabira okudda emitondo-kalisizo nga kuno kwakulembeddwamu Nankulu w'ekitongole ekivunanyizibwa ku nguudo mu ggwanga(UNRA) Allen Kagina.

Ye Kagina ategeezezza nga ekitongole bwekiti mu kaweefube w'okukola enguudo eziri mu mbeera embi okwetolola eggwanga lyonna kisobozese bannauganda okukola emirimu gyabwe nga tewali kibatataganya.

Kampuni ya ZUA yeyakwasiddwa ttenda yokukola oluguudo luno era lwakuwementa obuwumbi 4 .      

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...