TOP
  • Home
  • Agawano
  • Bp. Ssekamaanya akuutidde ab’e Bungereza okubeera obumu

Bp. Ssekamaanya akuutidde ab’e Bungereza okubeera obumu

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd June 2018

OMUSUMBA Mathias Ssekamaanya ayimbye Mmisa e Bungereza n’akuutira Bannayuganda ababeerayo okunyweza obumu.

Laba 703x422

Bp. Sekamaanya n’abamu ku Bannayuganda abali e Bungereza nga basala keeki.

Ssekamaanya eyali omusumba w’e Lugazi nga kati yawummula, yakyalidde Bannayuganda abeegattira mu kibiina kya Uganda Croydon Catholic Community mu Bungereza gy’agenda okumala omwezi mulamba.

Yayaniziriddwa ssentebe w’ekibiina kino, Robert Mpiima Mugambe eyamwanjulidde entegeka ey’okukulaakulanya ekibiina kyabwe muno nga mulimu n’okuyamba ekigo ekipya ekya Kamira ekisangibwa mu ssaza ly’e Kasana Luweero.

Mpiima era yayogedde ne we batuuse ku kugula ekizimbe kyabwe e London mu Bungereza.

Oluvannyuma yakulembeddemu Mmisa ku klezia ya St. Chad Catholic Church esangibwa e South Norwood mu South London mu Bungereza n’akuutira Bannayuganda okwegatta, okukolaganira awamu n’obutasosola mu mawanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda

Jip1 220x290

Abavubuka ba DP basatu bakwatiddwa...

Abavubuka ba DP basatu bakwatiddwa ku bya Bobi Wine

Kut2 220x290

Amagye gawadde Ssematimba ebiragiro...

Amagye gawadde Ssematimba ebiragiro

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu