TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulamuzi Mubiru atiisizza okugoba emisango egivunaanibwa Kazahura

Omulamuzi Mubiru atiisizza okugoba emisango egivunaanibwa Kazahura

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd June 2018

Omulamuzi Mubiru atiisizza okugoba emisango egivunaanibwa Kazahura

Be1 703x422

Robert Sempebwa Kazahura (mu ssaati y’obukuubo) nga yeekweka ebifaananyi mu kkooti e Nakawa

OMULAMUZI Stephen Mubiru owa kkooti Enkulu e Nakawa ayolekedde okugoba emisango egivunaanibwa Robert Sempebwa amanyiddwa nga Kazahura singa oludda oluwaabi olwa Gavumenti lulemwa okuleeta basibe banne ababiri bwe bavunaanibwa.

Kazahura avunaanibwa ne Kanyankole ng’amannya ge amatuufu ye Ronald Asiimwe ne Bob Kibirango wabula nga bano mu kkooti tebaabaddewo.

Omulamuzi bw’abuuzizza lwaki abasibe abalala Kazahura b’ali nabo ku fayiro tebaliiwo, omuwaabi wa Gavumenti, Florence Kataike agiri mu mitambo, mu kiwandiiko kyasindise mu kkooti ategeezezza nga kkooti bwe yayisa ebiragiro ebikwata abantu bano naye poliisi ekyalemeddwa okubakwata. Ayongedde n’ategeeza nti n’abantu abaabeeyimirira tebakomangawo mu kkooti okugitegeeza abantu bano gye bali.

Bwatyo n’asaba kkooti emwongereyo ku budde asobole okufuna abasibe bano oba abantu ababeeyimirira. Wabula Omulamuzi Mubiru bw’abuuzizza Kazahura ku byogeddwa omuwaabi wa Gavumenti, Kazahura agambye nti emisango gye bamuvunaana tagimanyi era kati baakamutambuza mu kkooti nnya ez’enjawulo naye ng’oludda luwa ensonga y’emu.

Omulamuzi awakanyizza ekyokwongerayo emisango mu lutuula lwa kkooti oluddako wabula n’agamba nti engeri gye yaakatandika okuwulira emisango mu lutuula luno, tasobola kugoba misango givunaanibwa Kazahura. Alabudde oludda oluwaabi nti singa balemwa okutandika okuwulira omusango guno agenda kugugoba.

Ayisizza ebiragiro ebikwata Kanyankole ne Kibirango baleetebwe mu kkooti n’okuyisa ebiragiro eri abantu ababeeyimirira okutuusa nga June, 26, 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo