TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti eragidde Nambooze aweeyo essimu ne kompyuta ye

Kkooti eragidde Nambooze aweeyo essimu ne kompyuta ye

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd June 2018

Kkooti eragidde Nambooze aweeyo essimu ne kompyuta ye

Nam1 703x422

Betty Nambooze

Omubaka wa Mukono Munisipaali, Betty Nambooze kkooti emulagidde okuwaayo essimu ne kompyuta ye eri poliisi ebyeyambise mu kubuuliriza kwayo. Ekiragiro ekiriko omukono gw’Omulamuzi Jamson K Karemani, kiragira Nambooze okuwaayo kompyuta, essimu n’ebintu ebirala by’akozesa mu mpuliziganya.

Omulamuzi Karemani ekiragiro yakiyisizza nga June 20, 2018 nga kiggwaako mu nnaku 14 zokka. Erias Lukwago, akulira bannamateeka ba Nambooze yategeezezza nti, ekiragiro kino kyabasobedde kubanga omuntu gwe baakiwadde mulwadde ali ku kitanda ng’ate musibe.

Yagambye nti tayinza kukkiriza Nambooze kufuna kiragiro kino mu mbeera gy’alimu. Lukwago yanokoddeyo ennyingo 27 mu Konsitityusoni ewa omuntu eddembe ku bintu bye okubikuuma nga tewali akkirizibwa kubikeberako nga tamukkirizza.

Ennyingo 27(1) egamba nti, tewali muntu ajja kukolwako bino: l Okumwaza mu ngeri emenya amateeka, okwaza amaka ge oba ebintu bye; oba abantu abalala okuyingira mu maka ge oba mu nnyumba ye.

l Tewali muntu ajja kuyingirirwa mu ddembe lye ng’omuntu mu maka ge, ebintu bye, mu mpuliziganya oba ebintu bye ebirala. Wabula omwogezi w’ekitongole ekibuuliriza ku misango mu poliisi, Vincent Ssekate yagambye nti ekiragiro kya kkooti baakiwadde Nambooze nga kiri eri ye okusalawo engeri gy’ayagala okuwaayo ebintu bye baamusabye.

Ayinza okubiwa munnamateeka we n’abibatuusaako. Mu kiseera kino Nambooze ali mu ddwaaliro e Kiruddu gy’ajjanjabirwa oluvannyuma lw’obulwadde okumutabukira ng’ali mu kaduukulu ka poliisi.

Wiiki ewedde poliisi yakutte Nambooze n’emuggalira mu kaduukulu e Naggalama ne bamuggulako omusango gw’okukozesa obubi kompyuta n’awandiika ku kufa kw’abadde omubaka wa Munisipaali ya Arua Ibrahim Abiriga eyakubwa amasasi nga June 8, 2018 okumpi n’amaka ge e Matugga nga mu mmotoka yalimu ne muganda we.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja