TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ennaku 100 eza Okoth Ochola ng’omuduumizi wa poliisi

Ennaku 100 eza Okoth Ochola ng’omuduumizi wa poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd June 2018

Ennaku 100 eza Okoth Ochola ng’omuduumizi wa poliisi

Kib2 703x422

Ochola ne Kayihura gye buvuddeko.

OLWALEERO lwe ziweze ennaku 100 bukya omuduumizi wa Poliisi, John Martins Okoth Ochola 59, akwasibwa ofiisi nga March 15, 2018.

Ochola yalondebwa okudda mu bigere bya Gen. Kale Kayihura mu nkyukakyuka Museveni ze yakola nga March 4, 2018 mwe yalondera ne munnamagye, Brig. Sabiiti Muzeeyi ku bumyuka bw’omuduumizi wa Polisi n’afuumuula ne Lt. Gen. Henry Tukumunde ku bwa minisita w’Obutebenkevu n’amusikiza Gen. Elly Tumwine.

Emirimu gye ng’omuduumizi wa Poliisi, Ochola yagitandika nga March 15, 2018, Gen. Kayihura lwe yamukwasa ofiisi ku mukolo ogwali ku kitebe kya Poliisi e Naggulu. Ng’ayingidde ofiisi, Ochola yatandikira ku kusazaamu enkyukakyuka Kayihura ze yali yaakasembayo okulangirira ku Lwokutaano ng’anaagobwa ku Ssande.

Mu nkyukakyuka Ochola ze yakola, essira yalissa ku kulonda baserikale okusinziira ku madaala kwe bali n’obumanyirivu bwe balina okwawukanakao ku Kayihura eyali agoberera obuwulize n’obumanyi.

Mu nkyukakyuka ze yalangirira, Ochola yakyusa boofiisa abasoba 200 ab’amayinja aga wagulu okwali okuzzaayo Abaasi Byakagaba, mu kitongole ekirwanyisa obutujju ky’alinamu obukugu ng’ono Kayihura yali amututte mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mafuta.

Ochola era yalagira Siraje Bakaleke okuva mu ofiisi addeko ebbali asobole okunoonyerezebwako ku bigambibwa nti yeekobaana n’abaserikale abalala ne babba ssente akawumbi kamu n’obukadde 400 ku Bakorea ba Yinvesita abaali bazze okusuubula zaabu.

Olwamala okubabakko ssente zaabwe, Bakaleke yagezaako okubatikka ku nnyonyi okubazzaayo ewaabwe, ekintu ekyatuusa ekitongole ekiketta munda mu ggwanga, ISO okumunoonyerezaako ne bofiisa abalala era abamu baakwatibwa.

 haban senfuka ngalaga ebiwundu bye yafunira e alufeenya oluvannyuma lwokutulugunyizibwa Shaban Ssenfuka ng’alaga ebiwundu bye yafunira e Nalufeenya oluvannyuma lw’okutulugunyizibwa.

 

OKUTEREEZZA CID Ng’akkalidde mu ofiisi, Ochola yasooka kuddiza akulira ekitongole kya bambega ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID, Grace Akullo obuyinza bwe obujjuvu obwali bwamuggyibwako Gen. Kayihura ng’ayita mu kutonda ebitongole ebya bambega ebyetengeredde okwali; Special Investigations Unit (SIU) ne Special Investigations Division (SID) nga bikolera ku biragiro bye baafunanga ku ye (Kayihura) mu kifo kya Akullo.

Ochola yayongera amaanyi mu kitongole kya CID bwe yakola enkyukakyuka ez’omuggundu bwe yaggyamu abaserikale abamu n’okuzza abalala Kayihura be yali yassa ku akatebe.

TTOOCI Abamu ku boofiisa Ochola be yazzaayo mu CID kuliko SCP Elly Womanya eyali amyuka akulira Interpol n’amuzzaayo mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID nga y’akulira ettabi erya Special Investigations Unit (SIU) ne Fred Enanga eyaliko omwogezi wa poliisi nga kati yaddiziddwayo mu CID nga yavunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu.

Ochola yalagira okugatta ofiisi n’ebitongole Gen Kayihura bye yali ataddewo ng’ekitongole ky’amafuta kye yalagira kidde wansi w’ekitongole ekirwanyisa obuzigu, Flying Squad ne Special Investigations Unit okukolera wansi w’ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, ekivunaanyizibwa okukuuma abakungu ekya VIPPU yakizza mu kitongole ekirwanyisa obutujju wamu n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku mafuta.

Ochola yazzizzaawo poliisi ennawunyi ng’eno Kayihura yagiggyawo emmotoka zonna nazikwasa abaduumuzi ba poliisi ez’enjawulo nga mu nteekateeka empya buli luguudo luliko emmotoka ennawunyi.

Ochola era yazzaawo n’amasimu ga Poliisi aga 999 agaali gaggyibwawo ng’abantu abalina obuzibu baasigala kukuba ku masimu g’abaserikale.

OKUGGALA NALUFENYA Ochola nga yaakayingira ofiisi yalagira okuggala ekkomera ly’e Nalufenya eryali ly’egulidde erinnya mu kutulugunya abasibe. Ochola okuggala Nalufenya, kyaddirira abantu abenjawulo naddala bannabyabufuzi n’abalwanirizi b’eddembe okulyemulugunyaakonti batulugunyizaayo abantu.

Nalufenya yali wansi wa Flying Squad n’ekitongole kya Special Operations ekyakulirwanga Nixon Agasirwe mu kiseera kino eyakwatibwa amagye. E Nalufenya waali wakuumibwayo abantu ababa bakwatiddwa mu misango eminene naddala egy’obutujju n’ettemu.

Abamu ku basibe be baggalirako e Nalufenya ye Jamil Mukulu eyali akulira ADF. Omusinga wa Rwenzururu, Charles Mumbere ne basajja be abaakwatira mu lubiri lwe e Kasese mu November 2016, abagambibwa okutta bakulembeze b’abasiraamu mu Busoga, abagambibwa okwenyigira mu kutta Kaweesi omwali ne Meeya we Kamwenge Geoffrey Byamukama eyatulugunyizibwa n’asimbayo(emagombe) n’ekitooke.

OKUYIMIRIZA ABABADDE BANYWA AMAFUTA GA POLIISI Ochola yalagidde buli abadde anywa amafuta ga Poliisi mu bukyamu okunoonyezebwa. Ekiragiro kino Ochola yakiwadde Akullo okunoonyereza naddala ku bantu ba bulijjo abasoba mu 200 abagambibwa nti bamaze ebbanga nga bafuna amafuta mu poliisi mu bukyamu ne bagifiiriza ssente ezisoba mu buwumbi nga 160 .

Ochola okuyisa ekiragiro kino, kyadiridde ababalirizi b’ebitabo bya gavumenti okufulumya lipoota ng’eraga nti waliwo abantu ba bulijjo abasoba mu 200 ababadde bafuna amafuta okuva mu poliisi.

Mu nteekateeka yeemu Ochola yaggyeewo kaadi abaserikale kwe babadde bafunira amafuta ku masundiro ag’enjawulo nga kino kyagendereddwaamu kukendeeza ku ssente poliisi z’esaasaanya n’okugagobako abantu abataali baserikale abaali bagafuna nga Ochola yalagidde wabeerewo okunoonyereza ku babadde bagafuna.

Okulabang’ebitongole ne ofiisi ez’enjawulo zikola emirimu gyazo Ochola yalagira buli muserikale akole emirimu gye naddala okuwuliriza ensonga eziruma abantu ekyakendeeza ku mujjuzo gw’abantu abaakeeeranga ku kitebe kya poliisi e Nagulu nga baagala okulaba omuduumuzi wa poliisi.

OKUBALA ABASERIKALE: Ochola yayisizza ekiragiro okuddamu okubala abaserikale ba Poliisi bonna mu ggwanga okuzuula oba bawera 43,000.Okubala abaserikale ba Poliisi kwatandise Mmande nga June18, 2018 ku bitebe bya poliisi byonna mu ggwanga nga kwakukulungula emyezi ebiri.

Ochola ayagala okuggya abaserikale ab’empewo ku lukalala lw’emisaala. Mu kuwaayo ofiisi, Gen Kayihura kati ali mu kkomera ly’amagye e Makindye yawa lipoota ng’alaga nti poliisi erimu abaserikale 43,000. Okubala abaserikale kwatandikidde mu Kampala ng’abaserikale abakolera mu bitongole eby’enjawulo baakubalibwa mu bitundu ne ku poliisi we bakolera.

Abaduumuzi ba poliisi ez’enjawulo balagiddwa obutategeka kubala kuno mu bifo bisukka mu bibiri mu bitundu byabwe.

OKUSOOMOOZEBWA Ochola yagenda okulondebwa ng’ebyokwerinda biri yegeyege. lObumenyi bw’amateeka okweyongera naddala ettemu, ekiwambabantu abamu ne battibwa. Kuno kwe kusoomoozebwa Ochola kw’akyalina okwahhanga.

lEttemu likyagenda mu maaso n’okuwamba abantu naddala abaana n’abawala ng’abazigu basaba ssente kyokka abamu era abamu abawambiddwa battiddwa.

We baamukwasiza ofiisi, Poliisi yali eziringitana n’okunoonyereza ku kuwambibwa n’okutemulwa mu ntiisa okw’omuwala, Susan Magara gwe batta wadde baali baweereddwa obukadde 700.

Magara 28, yawambibwa nga February 7, 2018 ne bamubuzaawo okumala ennaku 20 nga bwe bapeeka kitaawe John Fitzgerald Magara ensimbi okutuusa lwe baamutta omulambo gwe ne bagusuula e Kitiko okumpi n’e Kigo nga February 27, 2018.

Okuwamba abantu kwagenda mu maaso Ochola bwe yaddira Kayihura mu bigere ng’abamu ku bawambiddwa ne battibwa ye; muwala Brinah Nalule eyali omuyizi mu YMCA (omulambo gwe gwazuulibwa e Mutundwe mu Kabaawo zooni) ne Rose Nakisekka ng’abazigu baabawamba okuva mu paaka ya takisi enkadde ne bakubira bazadde baabwe nga basaba ssente kyokka ne babatta. Ochola bwe yabadde mu kukubaganya ebirowoozo ku byokwerinda nga June 11 2018 n’abakulira ebitongole ebyokwerinda ebirala, yagambye poliisi yaakafuna emisango 79 egy’okuwamba abantu nga 10 ku gyo abantu bafudde, basobodde okununula 15 abawambiddwa ate emirala nekizuula ng’abantu be beewamba.

Okusobola okugonjoola kino, Poliisi yakwatagana n’ebitongole by’okwerinda ebirala abaserikale ne bazingako omuzikiti gwa USAFI ne bakwatayo abantu ab’enjawulo oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti omu ku beenyigira mu kuwamba Magara nga yali yekukumye mwabo. Ku baakwatibwa mu muzigiti guno, 8 basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa.

Mu nnaku 100 era Ochola yafunye ekizibu abazigu ab’emmundu nga batambulira ku pikipiki bwe baakubye omubaka Ibrahim Abiriga amasasi agaamuttiddewo n’omukuumi we Saidi Kongo bwe baabadde badda ewuwe e Kawanda nga June 8 2018. Abazigu b’emmundu by’ebimu ku bintu ebyasoomooza Kayihura gwe yaddira mu bigere abazigu bwe baatandika okutta abantu omwali Bamasheikh okwali Abdul Karim Ssentamu, Mustapha Bahiga, Hassan Kirya n’abalala okuli Andrew Felix Kaweesi, eyali omumyuka wa Ssaabawaabi w’emisango gya gavumenti Joan Kagezi ne munnamagye Maj. Muhammad Kiggundu.

OKUZZAAWO EKITIIBWA N’OBWESIGE BWA POLIISI MU BANTU Ochola akyalina okusoomooza okw’amaanyi okufuna obwesige bwa Bannayuganda kubanga bangi, Poliisi baagiggyamu dda obwesige olw’ebikolobero ebibakoleddwaako abapoliisi. Abantu bangi abatayambibwa buli lwe beekubira enduulu ku Poliisi.

Mu nnaku 100 ze yaakamala mu ofiisi, tewali nnyo kiraga nti Ochola azzizzaawo ekitiibwa kya Poliisi mu bantu kubanga poliisi ekyalimu empulunguse z’abantu. Abantu bakyasibwa mubuduukulu bwa Poliisi okumala essaawa ezisukka mu 48, ekimenya amateeka n’abalala bakyabasasuza ssente okubayimbula ku kakalu ka Poliisi akamanyiddwa nti kaba ka bweerere. Poliisi ey’oku nguudo ekyalya enguzi n’emize emirala mingi.

ABAKUGU MU BYOKWERINDA KYE BAGAMBA Eyali amyuka omuduumuzi wa poliisi n’awummula, Julius Odwe yagambye nti abantu bangi bamutuukiridde nga bamubuuza ku nkola y’obukulembeze bwa poliisi obupya obukulirwa Ochola, wabula nti ye akyabwetegereza. Yagambye nti okubaako ky’ayogera ku bukulembeze buno wajja kumala kuyitawo ennaku 180 (gy’emyezi 6) okusobola okubuteeka ku minzaani okulaba oba bulina kye bukoze ekyenjawulo kuba ebintu bingi ebirina okutunuulirwa. Ochola ye yaddira Odwe ku kifo ky’omumyuka w’omuduumuzi wa poliisi mu 2011 nga Gen Kayihura ye mukama we.

Ye Charles Rwomushana eyakolerako mu Internal Security Organization (ISO) yagambye nti obukulembeze bwa poliisi obupya tebulina kye busobola kukyusa ng’ebintu ebikulu tebinatereezebwa.n Poliisi erina okwesigama ennyo ku by’ekikessi n’okubega kuba gwe musingi mu kutebenkeza eby’okwerinda ng’ekolaganira wamu n’ebitongole ebirala nga ISO.

Yategeezezza nti bino byonna byandibadde bisoboka singa ekitongole kya Special Branch weekiri wabula nga Kayihura yakiggala kuba kyandibadde kiyamba okuketta n’okukwata abo abateeberezebwa okubeera mu buzzi bw’emisango okusinga okugenda okuyoola abantu oluvannyuma abayimbulwa nti tebalina musango gwonna.

Akulira ekitongole kya poliisi ekitabagana n’omuntu wa bulijjo n’okugirungamya ku byobufuzi, Asan Kasingye yagambye nti mu nnaku 100, Ochola asobodde okukumaakuma abaserikale ne bakolera wamu ng’ekitole era asobodde okuwa ekyanya ofiisi n’ebitongole ebiri wansi we okukola emirimu oluvannyuma ne bamutwalira alipoota nga bayita mu mitendera.Kino kiyambye okuzzaamu abaserikale amaanyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...