TOP

Embaga ya Lt. Col. Akiiki ebadde ya bunkenke

By Musasi wa Bukedde

Added 24th June 2018

Embaga ya Lt. Col. Akiiki ebadde ya bunkenke

Sab1 703x422

Lt. Col Akiiki nga yaakamala okugattibwa ne mukyala we Mercy.

OLWAGATTIDDWA n’omukazi gw’abadde agugulanirako ne mujaasi munne okumala ebbanga, Lt. Col. Deo Akiiki amyuka omwogezi wa UPDF n’ategeeza nti oluva mu ‘Hane muunu’ agenda mu kkooti kumuloopa lwa kumwonoonera linnya.

Ku Lwokuna, Akiiki yagattiddwa mu bufumbo obutukuvu ne Mercy Kansiime ku Klezia ya Our Lady of Afrika e Mbuya. Abagole baagattiddwa Fr. Paulino Twesigye Mondo amyuka bwannamukulu w’ekigo kino. Akiiki ne Kansiime baasooka kugattibwa wa Diisi nga June 18, 2018 mu Kampala ne basalawo okugenda ne mu Klezia baddemu bagattibwe.

Embaga yaabwe weebereddewo, nga waliwo okusika omuguwa okw’amaanyi wakati wa Akiiki ne Maj. Gerald Bamwitirebye agamba nti ye bba wa Kansiime. Bamwitirebye ali wansi wa Akiiki eddaala limu mu magye.

Yaddukira mu kkooti enkulu ku Lwokuna nga June 21, 2018 ng’ayagala afune ekiragiro ekiyimiriza Klezia okugatta Akiiki ne Kansiime kyokka omuwandiisi wa kkooti enkulu n’amugoba olw’okuba baali baamala dda okugattibwa ewa Diisi.

Bamwitirebye yasooka kuyita mu kkampuni emu eyabannamateeka ne bawandiikira Klezia nga bagisaba obutagatta Akiiki ne Kansiime kyokka Klezia n’ebaddamu ng’ebagamba nti, kiragiro kya kkooti kyokka kye kisobola okuyimiriza Klezia okugatta Akiiki ne Kansiime kwe kugenda mu kkooti eyabagobye.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa ku mbaga okuva mu UPDF, Akiiki ne Kansiime baasazeewo okuwaawabira Bamwitirebye olw’okuboononera erinnya.

Mu kiwandiiko amagye gannyonnyodde nti, Diisi okukkiriza okugatta Akiiki ne Kansiime yamaze kukola kunoonyereza okwamaanyi ne kizuulibwa nti tewali bufumbo bwali bukoleddwa mu mateeka wakati wa Kansiime ne Bamwitirebye oluvannyuma ne baweebwa n’ebbaluwa eraga nti bonna tebalina nsonga ebalobera kufumbiriganwa.

Kigambibwa nti, Bamwitirebye yatiisatiisa Diisi n’abakulu mu Klezia ssinga bagezaako okugatta Akiiki ne Kansiime n’atakoma okwo, n’agenda mu mawulire nga tafunye lukusa kwe yagatta n’okukolokota bakama be n’abalangira obulyake.

Emisango gino waakugiwoleza mu kakiiko k’amagye akakwasisa empisa amale awerennembe n’eginaamuggulwako Akiiki ne Kansiime. Ekiwandiiko kyayanise ne gye nvudde wa Bamwitirebye atali mulungi eyamutuusa ne mu kkomera era ne kitegeezebwa nti, ebikolwa bye okuva emabega bibadde bivundu. Embaga yabaddeko abantu batono ddala abaayitiddwa mu Klezia olw’ebyokwerinda nga nabyo byabadde binywezeddwa.

Oluvannyuma baasembezza abagenyi baabwe ku Tree-Shade e Kololo. Fr. Twesigye yabakuutidde okwagalana olubeerera n’asabira ne Kansiime okuzaala abalongo ba mirundi esatu. Ono yabagambye nti, obufumbo tebubeera bwakukaka, bubeera bwa kyeyagalire nti ne Kaawa bwe yali atwala Adam teyamukaka bwatyo ne Adam okusiima Kaawa kwali kusalawo kwe kwa munda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi