TOP

Engeri gyebaapanga okussa abasiraamu mu nsonga za Kawessi

By Musasi wa Bukedde

Added 24th June 2018

Engeri gyebaapanga okussa abasiraamu mu nsonga za Kawessi

Pi1 703x422

Kaweesi

Felix Kaweesi bwe yali tannattibwa, waliwo pulaani eyakolebwa mu poliisi okubaako abantu be bassaako omusango. Wano kyasalibwawo nti amangu ddala nga Kaweesi attiddwa babeeko be bakwata naddala Abasiraamu abaali baludde nga bamulabula.

Baasalawo okuwaayiriza Abasiraamu kubanga Kaweesi yali yaakakulira okulumba Omuzigiti gw’Abatabbuliki e Nakasero era ng’aliko n’ebikwekweto ebirala omwakwatirwa Abasiraamu. Ekirala abayeekera ba ADF kumpi bonna abaali bakwatiddwa mu butemu baali Basiraamu.

Nga kyali kijja kuba kyangu eggwanga okukkiriza nti bano be batta Kaweesi. Kyokka era waliwo abatali Basiraamu abaayingizibwa mu kintu nga bano kuliko Maj. Galabuzi abazze bakwatibwa enfunda eziwera. Olw’okuba Galabuzi muserikale baakiraba ng’ajja okukozesebwa oluvannyuma ayimbulwe.

Waliwo n’abazze bakwatibwa mu bubbi n’obutemu abassibwa ku lukalala lw’abalina okukwatibwa bassibwe mu kkomera kyokka eby’okutta Kaweesi bwe bikkakkana bayimbulwe.

Bino bituukiddwaako bambega ba ISO ababuuliriza ku kutemula Kaweesi. Obujulizi baabuggye mu boofiisa ba poliisi naddala ab’omu kitongole kya Flying Squad abaakwatiddwa ku by’okutemula Kaweesi.

Ensonda zaategeezezza nti bonna abaakwatibwa baliko engeri gye bassibwako ebizibiti oba obujulizi bwe batasobola kwegaana. Abamu baatwalibwa e Kulambiro we battira Kaweesi olwo emirongooti gy’essimu ne gikwata amasimu gaabwe nga bali e Kulambiro.

Amasimu ago gaakozesebwa okugoogererako. Olwo ne bagatta amasimu agabakubiddwa nabo ge bakubye okulaga nti baali boogereganya ku bya Kaweesi.

Okupanga obujulizi Omu ku baakwatibwa alina makanika wa pikipiki e Kasangati ku lw’e Gayaza gy’akanikira pikipiki ye. Baakwata makanika ono ne bamutwala ku poliisi ya Kira Road ne pikipiki enkadde eyalagibwa ng’eyali ekozeseddwa mu kutemu Kaweesi.

Kyokka byonna byali bipange. Eyakwatibwa ye Yusuf Mugerwa n’atwalibwa ne pikipiki ssatu okuli ennamba UDL 144X, UDL 157U ne UBC 857F ne zikozesebwa ng’ebizibiti nti zaakozesebwa mu butemu.

Olw’okuba poliisi yamuzinda kiro, tebaamanya ng’emu ku pikipiki yali “nvundu” ng’emaze ekiseera ng’ekwamye. Bukedde yafulumya pikipiki eno ne wabaawo amaloboozi agagiwakanya.

Ensonda zaagambye nti waliwo ofiisa w’amagye ayitibwa Lt. Kagina alina obumanyirivu mu kukung’aanya obujulizi. Ono yaweebwa obuvunaanyizibwa bw’okwogera n’abaali bakwatiddwa okukakasa nga bye boogera bikwatagana. Ono yakaka abamu okukkiriza nti bamanyi ku by’okutta Kaweesi kibayambe okubayimbula.

 basiraamu abazze bavunaanibwa Abasiraamu abazze bavunaanibwa.

 

Amagye kino gaakimanya era Kagina n’avunaanibwa mu kkooti y’amagye eya Military Unit Discplinary Committee e Mbuya. Aba ISO baategeezezza nti abaserikale okuli Abel KitagendaMoses Kasibante, Martin Kimbowa, Herbert Muhangi owa Flying Squad, Richard Ndabwoine, Col. Ndahura Atwooki babayambye nnyo mu kubuuliriza kwabwe. Kyokka baagambye nti olw’ekiseera ekiwanvu ekiyiseewo, poliisi ekozesezza omukisa ogwo okubuzaabuza obujulizi ku bya Kaweesi.

Era abamu ku bofiisa b’amadaala aga waggulu okuli abaduumizi b’oku ntikko tewannabaawo bujulizi bubassa butereevu mu by’okutta Kaweesi. Kaweesi yattibwa March 17, 2017 e Kulambiro ne ddereeva we Dodfrey Mambewo n’omukuumi Kenneth Erau. Obujulizi poliisi bwe yali etegese okutwala mu kkooti kuliko lipooti y’emirongooti eraga nti mu budde obwo, abamu ku basibe baaliyo e Kulambiro. Nga kino bakyesigamya ku masimu ge beekubira.

KAYIhura bye yayog era Gen. Kale Kayihura bwe yali mu kuziika Kaweesi e Kitwekyanjovgubazi nti, abatemu abaali basse Kaweesi, abamu baali babakutte ng’omu yali asala nsalo kugenda Congo. Oluvannyuma n’ategeeza nti waliwo abaali bakwatiddwa nga batoloka okuyingira Kenya.

Mbega yagambye nti ebyayogerwa Kayihura bibuusibwabuusibwa kuba okutuuka ku buwanguzi obwo (okukwata abatemu) mu nnaku bbiri zokka oluvannyuma lw’ettemu kyetaagisa obukugu obwenjawulo.

Mbega n’agamba nti balowooza nti Kayihura yali akimanyiiko nti waliwo abajulizi abaali bapangiddwa. Era bye yayogera yali asinziira ku bajulizi abo okugumya eggwanga. Abaatwalibwa mu kkooti ku by’okufa kwa Kaweesi kuliko; Abdu Rashid Mbazira, Buyondo Muhammed, Aramazan Higenyi Noordin eyakazibwako Taata Abdallazack , Mugerwa Yusuf eyakazibwako Wilson, Bruhan Balyejusa ng’era yeeyita Masiga Jimmy Ogutu, Kyambadde, Jibril Kalyango, Abu Aisha, Yusuf Nyanzi Siraje aka Ssentamu Jimmy and Shafiq Kasujja.

Abamu ku bano, baayimbulwa ku kakalu ka kkooti ate abalala ne basindikibwa mu kkooti enkulu batandike okuwozesebwa. Abaasindikibwa mu kkooti kuliko; Abdul Rashid Mbaziira, Araman Higenyi, Yusuf Mugerwa, Bruhan Balyejusa, Joshua Kyambadde, Jibril Kalyango, Yusuf Nyanzi and Shafik Kasujja.

KIgambibwa nti bano, be baatwalibwa e Kulambiro olwo amasimu gaabwe ne gakwatibwa omulongooti era bano poliisi be yayogerako nti baakwatibwa bayingira Congo ne Kenya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...

Pana1 220x290

Engeri gye nnonda engoye ezinnyumira...

Bino yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO. “Bye nnyambala nfuba okulaba nga bigendera ku kikula ky’omubiri gwange....

Ta 220x290

Engeri gy’olabirira enviiri ezitaweza...

ABAKYALA n’abawala bafaayo okulabirira enviiri zaabwe, kubanga zikola kinene ku ndabika y’omukyala. Ku bakyala...

Sese 220x290

Karungi nzaalira omusika tweyanjule...

ALEX Divo ne Lailah Karungi ab’e Ndejje Lubugumu bamaze emyaka ena nga baagalana naye ng’omukwano gwabwe bagamba...