TOP

Ab’e Jinja bafunzizza owa Movit mu kakiiko

By Musasi wa Bukedde

Added 24th June 2018

Ab’e Jinja bafunzizza owa Movit mu kakiiko

Mo1 703x422

Birungi owa Movit

ABASUUBUZI b’e Jinja bafunzizza omugagga Simpson Birungi owa Movit, eyamenya ekizimbe kwe baali bakolera ne baboonoonera ebintu byabwe. Bakkiriziganyizza n’abaliyirira obukadde 600.

Abasuubuzi bano abeegattira mu kibiina kya Aridina Twegaite Traders Ass. mu July w’omwaka oguwedde beekubidde enduulu mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka, ne bategeeza Omulamuzi Catherine Bamugemereire nti Birungi ng’ayita mu kkampuni ye eya Birus Property Services yamenya ekizimbe n’abakomya.

Musajjamukulu Nelson Asirike, ng’awa obujulizi mu kakiiko omwaka oguwedde yatulika n’akaaba ng’ategeeza nti ekizimbe Birungi kye yamenya ekyali ku poloti 60, 62 Aridiah Street e Jinja kwaliko edduuka lye erya Jinja Book Shop kyokka kati yamukomya. Poloti eno mu kiseera kino kwe kuli ekizimbe kya Busoga Mall e Jinja.

Abasuubuzi bano baali bava mu famire 10 wabula abamu bagenze bafa era baakiikiriddwaab’ehhanda abasigaddewo. Abasuubuzi baakulemberwa ssentebe waabwe, Benedict Isiko ne Hajji Twaha Kirunda.

Abalala kuliko; Samuel Nkembo, Charles Nabwiyo, Judith Kaggwa, Jimmy Kirunda, Monica Babirye, Joshua Kaune ne Apiyo eyafa. Ensonga z’ekifo kino okutuuka mu Kakiiko, baasooka kwekubira nduulu mu palamenti eyalagira minisita, omugenzi Gen. Aronda Nyakayirima eyateekawo akakiiko ne kabuuliririza kyokka bebaalagira okubiteeka mu nkola ne babiremesa. Akakiiko k’Omulamuzi Bamugemereire kaalonze omuwandiisi waako, Dr. Douglas Singiza okutabaganya Birungi n’abasuubuzi.

Birungi mu kakiiko ku Lwokutaano yakiikiriddwa Emmy Tusasirane era baategeezezza omulamuzi nti bakkaanyizza ku famire zino 10 buli emu Birungi agiriyirire obukadde 60. Bamugemereire yategeezezza nti ng’akakiiko basobodde okutabaganya abantu bano basobole okuliyirirwa kyokka balina we bakoma tebayinza kugenda mu maaso kusalawo ku ani nnannyini kizimbe.

Wano we yategeerezza nti baakwongera okuwaayo byebasemba eri gavumenti n’amasiga gaayo gasobole okusalawo ku nsonga eno. Yeebazizza pulezidenti Museveni eyawa akakiiko obuyinza okunoonyereza n’okugonjoola ensonga nga zino kubanga singa teyabawa buyinza bwe balina tebandisobodde kutuuka wano okulaba nti ensonga ezimaze mu kakiiko kumpi omwaka mulamba basobodde okutabaganya abantu bano awatali kuwaliriza n’omu. Yagambye nti obukadde 600, Birungi yazitutteyo mu kakiiko era baakuziyisa mu mitendera okulaba nga zituuka ku bannannyinizo abatuufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...