TOP

Bakaleke agguddwaako emisango 12

By Musasi wa Bukedde

Added 24th June 2018

Bakaleke agguddwaako emisango 12

Si1 703x422

Bakaleke

EBINTU byonoonekedde omuserikale Siraje Bakaleke omuwaabi wa gavumenti bw’amugguddeko emisango 12 omuli ogw’okuwamba abantu n’alagira atwalibwe ku kkooti avunaanibwe.

Emisango egyagguddwa ku Bakaleke n’abantu abalala munaana kuliko; okweyambisa obubi ofiisi 3, okuwamba abantu, okwekobaana ne bazza omusango, okufuna ssente mu lukujjukujju n’emirala.

Omwogezi w’ekitongole ky’omuwaabi wa gavumenti, Jane Kajuga yakakasizza ng’omuwaabi wa gavumenti bwe yalagidde Bakaleke ne banne okuvunaanibwa mu kkooti oluvannyuma lw’okugyekebejja.

Bino we bijjidde ng’omuduumuzi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola alagidde Bakaleke okuva mu ofiisi mwe yali, evunaanyizibwa Bakaleke agguddwaako emisango 12 okusomesa eby’obufuzi mu poliisi addeko ebbali asobole okunoonyerezebwako ku misango egyali gimugguddwaako nga giwedde wabula nga mu kiseera kino omuwaabi wa gavumenti alagidde avunaanibwe.

Bakaleke eyaliko omuduumizi wa poliisi mu kitundu kya Kampala South bino webyabeererawo, avunaanibwa n’abaserikale abalala okuli; Isaac Munezero nga y’akulira ofiisi evunaanyizibwa ku by’ekikessi (Crime Intelligence) ku poliisi e Katwe, George Kayongo, Keneth Zirintusa, Patrick Ochen, Samuel Nabeeta n’abalala.

Kigambaibwa nti Bakaleke baakwata Abakorea okuli Park Seunghoon ne Jang Un abajja mu ggwanga okusuubula Zaabu nga babalanga okuyingira mu ggwanga mu bukyamu ne bagezaako okubatikka ku nnyonyi okubazzaayo oluvannyuma lw’okubakuumira mu kaduukulu okumala ennaku bbiri ne babaggyako ssente akawumbi kamu n’obukadde 400.

Oluvannyuma Abakorea bano baatuukirira Flying Squad n’etandikirawo okunoonyereza ne bakwata abasirikale basatu ne baggalirwa mu kaduukulu e Nalufeenya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bba wa Julie Angume talabiseeko...

JULIE Angume ebintu bimutabuseeko bbaawe omupya, Sam Sekajugo bw’atalabiseeko ku mukolo gwe ogw’okumwanjula mu...

Fanayo 220x290

Obukodyo mukaaga bwe nkozesa okulembeka...

OBUYIIYA bwa ssente ebiseera ebisinga kiva ku kusoma embeera gy’otambuliramu, kati mu kaseera nga kano ak’ennaku...

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.