TOP
  • Home
  • Agookya
  • Engeri Museveni gye yawa Gen. Kale Kayihura amaanyi

Engeri Museveni gye yawa Gen. Kale Kayihura amaanyi

By Musasi wa Bukedde

Added 25th June 2018

OMUKUGU mu kunoonyereza ku byafaayo n’ebyobufuzi alaze Pulezidenti Museveni gy’avudde ne Gen. Kale Kayihura. Emboozi eno yasoose kufulumira mu Sunday Vision.

Museveniandkayihura703422 703x422

Museveni ne Kayihura

AMAANYI, ettutumu n’obuganzi Gen. Edward Kale Kayihura by’abadde nabyo bangi balowooza nti abifunye mu myaka 13 gy’amaze ng’aduumira Poliisi!

Ekyo si kituufu, Kayihura obuganzi bwe eri Museveni bw’aviira ddala mu nsiko mu lutalo lw’ekiyeekera. Yali musajja muwulize, mugezi ekyenjawulo ate omumalirivu. Nga yaakeegatta ku lutalo, Kayihura yasooka kuganja lwa nsonga bbiri.

Esooka yali ya kitaawe John Kale eyalwana ennyo Uganda okufuna obwetwaze kyokka eby’embi n’afa ng’ekirooto kye tekinnatuukirira.

Yafiira mu kabenje k’ennyonyi nga August, 17 1960.

Yali ne basaabaze banne 33 mu nnyonyi y’ekika kya Illyushin 11- 18ccp 75705, eyali eva e Misiri ng’edda e Russia bwe yagwa mu kibira n’esaanawo.

Yagwa mu bitundu by’e Tarasovisch, Kiev mu Ukraine n’ekwata omuliro.

Obumalirivu bwa taata wa Kayihira bwakwata nnyo ku Museveni ng’alina essuubi nti ne mutabani we (Kayihura) ajja kuba atyo.

Ensonga eyookubiri yali ya Kayihura butafuuwa segereeti n’okugaaya enjaga! Emize egyo Museveni yali tagyagalira ddala.

Yatuuzanga enkiiko z’abayeekera be n’abalabula obuteesembereza njaga na ssegereeti.

Yadde Museveni yali takolagana na banywi ba njaga, bangi ku bayeekera baali bagikozesa era lumu yalabula okufiira ku muntu gw’anaasanga ng’agikozesa era abamu ku baali bagikozesa ne bafuguma! Ku bano kwaliko Herbert Itongwa, Drago Nyanzi n’abalala.

Mu misoni ezimu Museveni ze yamutumako kata emu agigulemu obulamu bwe yajja mu Kampala okubaako obubaka bw’akima ku munnabyabufuzi omu.

Bwe yamaliriza kwe kugulayo ekyennyanja era aba akifumba basajja ba Obote ne bakitegeera.

Baakuba ebikompola we yali afumbira n’asimattuka n’ebinuubule ku mikono by’akyalina n’okutuusa kati oluvannyuuma lw’ekisosonkole ky’essasi okumukuba. Yadduka ekiwummulo mu nsiko n’abiyitiramu mukamawe naye n’amukulisa!

AMUWA AMAANYI MU POLIISI

Ng’abayeekera bamaze okuwamba mu 1986, Museveni yatuma Kayihura mu bifo ebyenjawulo okutuusa lwe yamuwa okukulira Poliisi mu October wa 2005.

Yaddira Gen. Katumba Wamala mu bigere. Obukozi bwe yalina mu magye yagenda nabwo mu Poliisi ng’azuukuka ssaawa 12:30 nga bukya ate ne yeebaka mukaaga ez’ekiro.

Mu ofiisi ng’asooka kusisinkana Amos Ngabirano eyali avunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu Poliisi.

Bwe zaaweranga ssaawa bbiri ez’ekiro, Kayihura ng’atandika okukubira abantu abaali bamubegera ebigenda mu maaso mu ggwanga okubasisinkana. Yabasisinkananga kiro ng’akozesa essimu ya layini ya Africell.

Mu bano mwalingamu ne bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya Gavumenti.

Buli kye yasabanga okuva ewa Pulezidenti nga kimuweebwa era yatandikira ku nnyonyi.

Museveni yalagira eyali akulira amagye ebiseera ebyo Gen. Aronda Nyakayirima okumuwa ennyonyi ya Namukanga erimu ekiba ekya bbululu emwanguyize emirimu. Poliisi bwe yagula ennyonyi zaayo eno n’agizzaayo mu magye.

Ekiseera kyatuuka nga kifuuse kya lwatu nti Kayihura ewa Museveni takonkona olwo n’atandika naye okulagako abalala amaanyi g’alina.

ESSIMU EYAKANGA SSAABABALIRIZI WA GAVUMENTI

Lumu yaliko ssente ze yeetaaga kwe kuyita omuwandiisi omukulu ow’ekitongole kya Poliisi, Rogers Muhiirwa n’amubuuza lwaki tewali ssente.

Ono yamwanukula nti ensimbi ezaali zisuubirwa zaali zikwatiddwa nga Ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti John Muwanga akyayagala poliisi esooke erage bwe yakozesa ezaasooka.

Kayihura yakwatirawo mangu essimu ey’oku mmeeza n’akubira Muwanga n’amugamba nti ensimbi azeetaaga awatali kulwa kwonna n’aggyako essimu. Mu ddakiika 30 ensimbi zaali zimaze okutuuka ku Poliisi.

AMEGGA ARONDA NE TINYEFUZA (SEJJUSA)

Amaanyi ge yalina, Kayihura yamanyirawo nti aliko bangi abatandise okumupangira okubaako kye bakolawo okutema ebiwaawaatiro bye!

Era ekisanja kye ekyasooka bwe kyaggwaako mu October 2011, yamala ebbanga nga yeeraliikirira.

Yali afunye olugambo nti Gen. Aronda ne Sejjusa baali bapanga kugamba Pulezidenti alonde Brig. Silver Kayemba okudda mu kifo kya Kayihura.

Ate yali akyeralikirira ebyo ne wabaawo amuleetera olugambo olulala nti kati Museveni ategeka kuleeta Gen. David Muhoozi (kati akulira amagye) okudda mu kifo kye. Era lumu yali ku mukolo gwa gavumenti ogumu Muhoozi n’atuuka era aba amuyitako n’akuba abayambi be akaama nti … “Kale ensi eno nzibu, okimanyi nti oyo ayagala mulimu gwange!” bwe yakimala n’akontola n’atakula mu kiwalaata kye!

Ekirungi, mu 2011, Museveni yazza endagaano ya Kayihura obuggya era olwamala n’asalawo okulaga Aronda ani asinga amaanyi.

Yasooka n’azuula olunaku lwennyini Aronda lwe yali ategeseeko olukiiko lw’ebyokwerinda e Bundibugyo.

(Aronda ye yali minisita w’ensonga z’omunda nga ye bboosi wa Kayihura). Kayihura luno lwe yalondera ddala naye n’ategeka omukolo gw’ebyokwerinda e Kasese nga kuno yayiyitirako ba ‘Crime Preventers’.

Mu kwongera okulaga Aronda amaanyi, Kayihura yagendera mu nnyonyi ate Aronda yavuga mmotoka! Amaanyi ga Kayihura tegaakoma ku banne mu NRM wabula n’abali ku ludda oluvuganya.

Era bannabyabufuzi bangi abaali baagala okulaba Museveni mu nkukutu nga bayitira wa Kayihura ku ttendekero e Kabalye erisangibwa e Masindi.

Ono gye yakoleranga entegeka ez’okubasisinkanya Pulezidenti mu maka ga Museveni e Kisozi n’e Rwakitura.

Yali abawadde amagezi nga balina kwambala nga Basiraamu nga beezingiridde ku mitwe okwebuzaabuza.

MUSEVENI OKUGOBA MBABAZI YASOOKA KUBUULIRA KAYIHURA

Gen. Kale Kayihura y’omu ku baasooka okumanya nti Amama Mbabazi agenda kugobwa.

Lumu Museveni yali ava okuziika bisigala by’eyali minisita Erinayo Oryema eyattibwa Amin nga September 18, 2014 mu disitulikiti y’e Nwoya, yayita Kayihura mu mmotoka ye n’amugamba basisinkane e Nakasero enkeera.

Eno yasangawo eyali minisita w’ebyobulamu Dr. Ruhakana Rugunda era olwamulaba Kayihura n’agambirawo banne nti kati Rugunda y’addako okufuuka Katikkiro wa Uganda. ebya Mbabazi bikomye.

Era waayita akaseera katono Museveni n’agoba Mbabazi n’amusikiza Rugunda.

AMUGGYAKO ABAKUUMI

Pulezidenti yasinziira New York mu Amerika n’akubira Kayihura essimu n’amulagira anyweze ebyokwerinda ssinga Mbabazi asalawo okukola effujjo olw’okumugoba.

Amangu ago Kayihura yatuuza olukiiko olw’amangu e Naggulu nga lwalimu Brig. Leopold Kyanda, Lt. Gen. Charles Angina ne Erias Kasirabo eyali akulira abakuumi b’abakulu (VVIP).

Olukiiko okuggwa ng’abakuumi ba Mbabazi e Kololo bamuggyiddwaako era nga waliwo n’abajaasi 120 okuva mu bbaalakisi y’e Makindye eya Miritale ne bayiibwa.

ANYUMIRWA NNYO OLUYIMBA LWA JUDITH BABIRYE

Kale Kayihura buli lwe yamalirizanga misoni neggwa bulungi, yasookeranga ku Serena Hotel oba ekifo ky’emmere y’Abachina ekya Nanjing n’awummulamu.

Bwe yavanga eno ng’asibira mu maka ge e Muyenga n’alagira abayambi be okumussizaako akayimba ka Judith Babirye aka ‘NDI SURVIVOR SIMALA GAGENDA’ n’azina amazina okugamala mu kiwato nga bw’awanika ebikonde waggulu n’okuluma omumwa gwa wansi okulaga essanyu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’