TOP
  • Home
  • Agookya
  • Amagye gakutte abaserikale abalala 2 ku by'okutta Kaweesi

Amagye gakutte abaserikale abalala 2 ku by'okutta Kaweesi

By Stuart Yiga

Added 25th June 2018

AMAGYE n’ekitiongole kya CMI nga bali ne ISO bakutte abaserikale ba Poliisi abalala babiri ku by’okuttibwa kwe yali omwogezi wa Poliisi AIGP Andrew Felix Kaweesi.

Kaweesi703422 703x422

Abaakwatiddwa kuliko eyali omukuumi wa SSP Nixon Agasirwe Karuhaga, ayitibwa Herbert Ahaisibwe wamu ne Wilson Ategeka.

Kigambibwa nti Ahaisibwe y’omu ku baserikale Nixon be yali akozesa okuluka misoni enkambwe era nga okukwatibwa kwe bambega balowooza nti kwakubongera amaanyi mu kuzuula abatta Kaweesi n’okuwamba ssaako okukukusa Abanyarwanda abanoonyi b’obubudamu ko n’okubatta.

Ensonda zategeezezza Bukedde nti, amagye olwakwata Nixon, olwo musajja we eyali amukuuma Ahaisibwe, n’asigala ng’addukanya bizinensi ze ez’ekyama, era nga gye buvuddeko yasangiddwa ng’anoonyeza ebimu ku by’obugagga bye akatale sso nga bibadde bikyanoonyerezebwaako.

Ahaisibwe yakwatiddwa abaserikale ba ISO akawungeezi ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde wamu ne munne ayitibwa Wilson Ategeka.

Kigambibwa nti Ategeka abadde amanyiddwa nnyo mu kukutula diiru za zzaabu nga yeeyambisa emmundu era nga lumu yakwatibwaako n’atwalibwa ne mu kkomera e Luzira kyokka oluvannyuma n’ateebwa mu ngeri egambabibwa okuba empange.

Ensonda wabula ziraga nti engeri gy’aludde ng’akola ne Nixon, yandikozesebwa ng’omujuliri okulumiriza eyali mukamawe.

Bano beegasse ku baserikale abalala abazze bakwatibwa ku misango okuli ogw’okutta AIGP Andrew Felix Kaweesi wamu n’okubuzaawo Abanyarwanda abanoonyi b’obubudamu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...