TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abasomesa n'abasawo basazizzaamu akeediimo: Babongezza omusaala

Abasomesa n'abasawo basazizzaamu akeediimo: Babongezza omusaala

By GODFREY LUKANGA

Added 25th June 2018

EKITONGOLE omwegattira ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abakozi mu ggwanga kirangiridde ng’abasawo n’abasomesa bwe basazizzaamu okwekalakaasa bwe babadde bategese oluvannyuma lw’okukola endagaano ne gavumenti ne bakkiriziganya okwongeza omusaala okutandika n’omwezi gwa July omwaka guno.

Unato 703x422

Omuwandiisi w’ekitongole kya ‘National Organisation of Trade Unions (NOTU) Christopher Peter Werikhe ng'ayogera mu lukung'aana lwa bannamawulire. EKIF: GODFREY LUKANGA

Omuwandiisi w’ekitongole kya ‘National Organisation of Trade Unions (NOTU) Christopher Peter Werikhe agambye nti gavumenti yakkiriza okwongeza omusaala gw’abasomesa ba saayansi aba ssiniya okuva ku 700,000/= okutuuka ku 1,400,000/= buli mwezi, abasomesa abalala aba siiniya bayongezeddwa okuva ku 500,000/= okutuuka ku 700,000/= ne badokita baakusasulwanga obukadde busatu buli mwezi.

“Endagaano gye twataddeko ne gavumenti emikono mu kiri ky’Olukutaano, erambika engeri abakozi ba gavumenti bonna 350,000 engeri emisaala gyabwe gye gigenda okwongezebwamu mu bbanga ery’emyaka etaano. Tusuubira nti mu myaka etaano omukozi wa gavumenti asookerako abasulwa 160,000/= buli mwezi ajja kuba asasulwa 1,000,000/=” Werikhe bwe yategeezezza.

Werikhe yagambye nti balina essuubi nti bye bakkanyizaako ne gavumenti mu ndagaano ejja ku biteeka mu nkola kubanga baayise mu mitendera emituufu nga bakolaganye na bakugu mu minisitule y’abakozi ba gavumenti abaakulembeddwamu Dr. John Mitala nti kati basigazizza kukaanya ku kwongeza ku nsako y’abakozi.

Yagambye nti ensako y’abakozi erina okwongezebwa kubanga eriwo ntono nnyo naawa eky’okulabirako ky’ensako y’emmere y’abasawo eya 66,000/= buli mwezi gye yagambye nti ntono nnyo kubanga omuntu tayinza kulya 2,000/= olunnaku.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...