TOP
  • Home
  • Agawano
  • Bamukutte lwa kusibira baana be mu nnyumba

Bamukutte lwa kusibira baana be mu nnyumba

By Moses Lemisa

Added 25th June 2018

TAATA asibira abaana be mu nnyumba n'agenda ku mulimu abatuuze bamulonkomye ku poliisi n'akwatibwa n'aggalirwa.

Siba1 703x422

Kimezze ng'ali ku Poliisi n'abaana be

Isma Kimezze ,30, ow’omu  Dobbi zooni mu muluka gwa Makerere III  ng'atunda byennyanja mu katale ka Kizito ku Kaleerwe y'akwatiddwa poliisi y’oku Kaleerwe oluvannyuma lw’abatuuze okumulonkoomayo bw'akudde ng'asibira abaana be; Amina Nakamate (8) ne Ajarah Nansereko (4)  mu nju.

Poliisi ng'eyambibwako Paul Mukwaya, ssentebe w’ekitundu  baanoonye  Kimezze ku mulimu n’abakulemberamu w'apangisa ne bamulagira okuggulira abaana.

Abatuuze baategeezezza nti  abaana  balina kuba ku ssomero naye tebamanyi lwaki kitaabwe abasibira mu nju nga bagamba nti amasannyalaze gasobola okukwata omuliro ne bafiira mu nnyumba oba si ekyo n’okufa ekiziyiro.

Kimezze ng’ali ku poliisi ategeezezza nti si muze gwe kusibira baana mu nju wabula kyavudde ku nnyaabwe kugenda mu kyalo n'alaba nga talina gw'ayinza kubalekera  kuba ekiwamba baana kisusse so nga n'omulimu gwe gumwetaagisa okukeera ku ssaawa 11 ez’oku makya n’asalawo okubasibiramu nga talina gwe yeebuuzizzaako.

  baana abaabadde baggalidwa nga babagulidde Abaana abaabadde baggalidwa nga babagulidde

 

“Afande abaana bange mbaagala naye  maama waabwe alina omulwadde mu kyalo kye kyavuddeko okubasibiramu nga sirina gwe mbalekera ng’ate mbeera eriwo mu ggwanga mbi naye ng’abaana era basoma, ” Kimezze bwe yategeezezza abaserikale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...