TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kansala atuula ku kanso ya Lubaga afudde kibwatukira

Kansala atuula ku kanso ya Lubaga afudde kibwatukira

By Vivien Nakitende

Added 25th June 2018

Kansala atuula ku kasno ya Lubaga afudde kibwatukira

Kas1 703x422

Kansala eyafudde

KANSALA omukyala ow'omuluka gw'e Najjanankumbi I mu munisipaali y'e Lubaga, afudde mu ngeri ey’ekibwatukira n’atiisa ba kansala banne abayise kanso ey'amangu okumukungubagira ne baleta ekiteeso ky'okuteekawo obujjanjabi bw'obwereere eri abakozi ba ka kanso ne ba Kanslaa bonna.

Lilian Makula Naluyima DP 35, afudde ku lw'okutaano akawungeezi nga yakatuusibwa mu ddwaaliro e Nsambya gye yaddusiddwa oluvannyuma lw'okulumbibwa entunnunsi ez'amaanyi n'afuna obuzibu mu kussa.

Proscovia Mbabazi mukulu w'omugenzi agambye nti, omugenzi yalumbibwa obulwadde bw'entunnunsi ez'okumukumu ng'omutima gumupakuka ng'aliko kyeyeekanze ku ssande naye nga tali mu mbeera mbi, y’agendako mu ddwaaliro lya  Mpummudde Clinic e Zana ew'omusawo we atera okumujjanjaba, naamuwa eddagala.

Ku Lwokutaano ssaawa munaana ez'emisana , yategeeza nyina  Betty Ssemakula nti yeewulira bubi nnyo, nyina kwekudduka ateekeko olugoye olutukula bagende mu ddwaaliro wabula  agenda okukomawo mu ddiiro yasanga agudde wansi kwekuyita omusawo we eyajja naasanga ng'embeera mbi nebamuddusa mu ddwaaliro e Nsambya gyeyafiiridde nga bakamutuusa.

Enfa ya Makula etiisizza ba kansala banne , mu lutuula lwebayise okumukungubagira nebaleeta ekiteeso ky’okufunanga obujjajabi bw’obwereere ng’ebitongole ebirala, ekireeteddwa kansala Diriisa Kasalirwe,  nga basobola okukeberwa okumanya endwadde ezibaluma wadde ssi balwadde bameanye wbwebayimiridde ekisembedwa ba kansala bonna.

 Olutuula lwa kanso lwetabiddwaamu bannabyabufuzi ab’enjawulo naddala ba kansala mu munisipaali ettaano ezikola Kampala Omul; Lubaga, Makindye, Kawempe, Nakawa n'amasekkati ga Kampala nga bakulembeddwaamu Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago, meeya wa Lubaga Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, ba nna DP, ab'enganda nab'emikwano. 

Omugenzi yasoose kusabirwa mu kkanisa ya St.Paul e Najjanankumbi,  okusaba okwetabiddwaamu.

Minisita wa Kampala Betty Olive Namisango Kamya nabakungu abalala abaamutenderezza okuba n'ebyobufuzi ebitaliimu ntalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.