TOP
  • Home
  • Agookya
  • Ekiri mu kkomera gye baasibidde Kayihura: Asula wafunda nnyo

Ekiri mu kkomera gye baasibidde Kayihura: Asula wafunda nnyo

By Musasi wa Bukedde

Added 26th June 2018

GEN. Kale Kayihura awezezza ennaku 14 ng’aggaliddwa mu kkomera ly’amagye e Makindye gye baasibira n’abamu ku basajja be nga: Nixon Agasirwe, Joel Aguma, Abdallah Kitatta n’abalala.

Kayi1 703x422

Gen. Kale Kayihura

Ekkomera ly’e Makindye, Gen. Kayihura 62, gye baamusibidde okuva nga June13, amagye bwe gaamukimye ku faamu ye e Lyantonde nga talinnya, lye limu ku makomera amakakali ennyo era ebyafaayo byalyo okuviira ddala mu biseera bya Iddi Amin bitiisa.

Ensonda mu byokwerinda zitegeezezza Bukedde nti Gen. Kayihura atandise okukaluubirirwa obulamu olw’obukwakkulizo n’amateeka amakakali bannamagye abaddukanya ekkomera lino bye baamutaddeko.

ASULA WAFUNDA NNYO

Okwawukanako n’abasibe abalala nga Kitatta, Nixon ne boofiisa ba poliisi abalala, Gen. Kayihura asula mu ngeri y’amaka kubanga ekisenge kye yaweereddwa okusulamu kifunda nnyo nga tekisobola kugyamu kitanda ekya mukaaga ku mukaaga.

Ekisenge kya Kayihura ky’asulamu kyakolebwa nga kirina okubaamu obutanda bubiri era kitwalibwa nti kisenge kya kitiibwa bw’okigeraageranya ku buduukulu bwa ba Kitatta obufunda okufa obufi nga kyenkana omusibe talina na we yeekyusiza.

Omu ku bantu abaalambudde ku Gen. Kayihura baategeezezza nti akasenge ke kaliko obugazi bwa ffuuti nga munaana ate mu bukiika kali ffuuti nnya n’ekitundu.

Kayihura kye yakola, kwe kwawuzaamu akasenge kano ebitundu bibiri, ekimu ne kikola ng’ekisenge omuli ekitanda, ate ekifo ekyasigalawo n’assaawo engeri y’omukeeka w’awummulira ng’akooye ekitanda.

Ku kisenge kye, kwakookerwako engeri y’akanaabiro akalimu ne ttayiro nga mwe muli ne kaabuyonjo era byonna biggwera omwo.

Enjawulo ku kisenge kye ku buduukulu bw’abasibe abalala nga Kitatta ne Nixon, ye (Kayihura) afuna ku kitangaala era alinamu ne ntimbe kyokka basibe banne bo omusana bafunako nga bafulumye ku ssaawa 12:00 okumala eddakiika 30 zokka ne babazza munda.

Ekifo Kayihura w’alabira abagenyi (aba Famire ne balooya) waliwo entebe ssatu ng’ebbiri, buli emu etuulamu omuntu omu ate ey’okusatu ya mitto ebiri ng’etuuza abantu babiri.

Mu kasenge ako mulimu firiigi ng’erimu amazzi ag’okunywa agali mu ccupa ‘mineral water’ era ku kisenge waggulu wa firiigi we wali ttivvi ey’ekika kya Samsung era ebbanga lyonna ttivvi eno ebeera eraga omukutu ogwa CNN gwokka.

Wabula wabweru w’ekisenge wakwatiridde abaserikale aba miritale abatakkiriza muntu yenna kuyita okumpi okuggyako abo abakkiriziddwa bokka omuli abalongoosa, aba famile ne bannamateeka.

Kayihura yaggyibwako amasimu ge gonna okuva lwe yakwatibwa wabula ensonda zaategeezezza nti Kayihura yaweebwa essimu ey’oku mmeeza gy’alina okukozesa mu kufuna amasimu so ssi kukuba.

Buli essimu lw’evuga, ng’aba miritale basembera okuwulira by’ayogera ku ssimu kubanga etteeka bwe lityo bwe liragira.

Bw’aba ayagala okwogerako n’aba Famire ye oba balooya be, Gen. Kayihura ateekwa okusooka kusaba akulira enkambi y’amagye e Makindye, Col. William Bainomugisha bw’amukkiriza ng’akuba essimu kyokka bw’agaana nga Gen. Kayihura akkakkana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA