TOP
  • Home
  • Agawano
  • Kasodde adduse ku famire ye: Alese Nnaalongo mu kazigo n’abaana

Kasodde adduse ku famire ye: Alese Nnaalongo mu kazigo n’abaana

By Ali Kizza

Added 26th June 2018

NNAALONGO w’omuyimbi era kazannyirizi Billy Katumba amanyiddwa nga Kasodde ali mu kulaajana oluvannyuma lwa bba Kasodde okumuddukako n’amuleka mu kazigo n’abaana ate nga n’amaka ge babadde bazimba ayagala kugatunda.

Duka 703x422

Kasodde ne famire ye.

Allen Namirembe 29, yeekubidde enduulu oluvannyuma lw’okumala ebbanga erisoba mu myezi mukaaga nga bba yamuleka mu kazigo e Kabojja mu Nsangi mwe bamugoba nga ne kyaliisa abaana takiraba.

Namirembe annyonnyola Ssaalongo yava e Safaali n’akomawo awaka mu budde bw’akawungeezi era olwatuuka yahhamba mugoleere ekkanzu ye olwamala n’akwata ensawo n’apakiramu ekkanzu n’engoye endala.

Saakifaako nga ndowooza alabika aliko gy’agenda okukola nga bulijjo.

Olwamala okupakira ensawo n’andagira okwambaza abaana ababiri olwamala n’afuluma enju n’agenda era olwo lwe nasemba okumulabako.

Bwe waayitawo wiiki emu kwe kumukubira essimu nga mutegeeza nti tetulina kyakulya kwe kunsindikira 9,000/- nga tekuli na ziggyayo. Bwe namutegeeza nti ssente ntono yahhamba kimu talina ssente n’aggyako essimu. Okuva olwo naddamu okukuba ku ssimu ye kyokka nga bulikiseera zindaga nti eri bbize.

“Nkikoze okumala ebbanga era kati mmanyi kimu nti ennamba yange yagisiba. Wano nasalawo kunoonya nalamu bange bamunfunire naye era baalemwa.” Yandekera abalongo ab’emyaka 3 ne mukulu waabwe Kigongo ow’emyaka 6.

Omwana Kigongo takyasoma kubanga yaleka tamusasulidde fiizi era mu kiseera kino emmere gye mbaliisa nsabiriza nsabirize.

OKUTUNDA AMAKA

Namirembe agamba twagula ettaka e Maya ku bugazi bwa ffuuti 100 ku 50 mu 2010. Twatandika okuzimba, ennyumba eyakoma ku ‘woolopuleeti’ n’eyimirira.

Wabula ng’omukyala nateteenkenya ne ntuuka okugenda ewa kitange ne munnyonnyola nti enju etulemeredde era n’akwata ssente ne tusereka.

Kino Ssaalongo yakisanyukira wabula ekyanneewuunyisizza kwe kufuna amawulire nti enju agitunda.

SSENGA ANNYONNYOLA

Ssenga wa Namirembe, Omumbejja Maria Kaleeya, yategeezezza nti Ssaalongo bamumanyi bulungi kubanga yajja n’akyala mu bassenga wadde bwe yasuubiza okugenda ewa taata teyakikola, kati emyaka musanvu.

“Kyensaba omwami waffe, atuyambe aleke kutunda maka g’abaana ate era akomewo alabirire abaana kubanga muwala wange talina mulimu gwonna kale afunye okukaluubirizibwa okulabirira abaana.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...