TOP

Gav't ewadde kkampuni z'amafuta ebiragiro

By Muwanga Kakooza

Added 26th June 2018

GAVUMENTI eragidde amakampuni g’abagwiira gonna agagenda okwenyigira mu by’okusima amafuta okutandika okutendeka Bannayuganda mu mulimu guno mu bbanga lya wiiki bbiri nabo basobole okwefunira ku mirimu mu by’okusima amafuta.

Opondo31 703x422

Ofwono Opondo

Uganda esuubira okutandika okusima amafuta gaayo mu 2021 kyokka waliwo okutya nti Bannayuganda bayinza obutaganyulwa nnyo olw’obutaba na bukugu mu by’amafuta.

Wano gavumenti wesinzidde okulagira amakkampuni agaawereddwa omulimu gw’okutandika okusima amafuta gatandike okutendeka Bannayuganda abagwiira baleme kubamalako mirimu.

Omwaka 2020 we gunaatuukira amakampuni agali mu by’okusima, okulongoosa n’okutunda amafuta gagenda kukakibwa okuitandika okukozesa Bannayuganda.

Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo bino abitegeezezza bannamawulire mu Kampala ng’annyonnyola ku byavudde mu olukiiko lwa baminisita olwatudde e Ntebe nga lukubirizibwa Pulezidenti Museveni.

Olukiiko lwayisizza enkola egenda okugoberera mu by’okusima amafuta ng’egenderera okulaba nga Bannayuganda tebalekebwa bbali mu nsonga zino.

Ofwono  yategeezezza nti kizuuliddwa nti abaganyulwa mu mirimu egimu bagwiira. N’agamba nti amakkampuni g’abagwiira agamu gajja n’abakozi baago be bawa ensimbi z’emisaala n’ensako ennyingi  kwe bagatta n’okuleeta  ebikozesebwa okuva mu mawanga gaabwe.

Yagambye nti mu nkola eyayisiddwa gavumenti kino kigenda kukoma.

Yategeezezza nti omwaka 2020 we gunaatuukira ng’amakampuni agali mu by’okunoonyereza, okusima n’okulongoosa amafuta gagenda kukakibwa okutandika okukozesa Bannayuganda.

Uganda bw’eneeba etandise okulongoosa amafuta, esuubira okutandikira ku kufulumya amafuta ga galoni emitwalo esatu buli lunaku. Kyokka ng’ebipipa ebirala ebyemafuta agatali malongoose ebiwera emitwalo esatu  buli lunaku bigenda kutundibwanga bweru.

Eddongoserezo ly’amafuta bwe linaggwa obulungi olwo Uganda tegenda kuddamu kutunda mafuta gatali malongoose gonna bweru, ejja kuba efulumya amafuta amalongoose ga bipipa emitwalo mukaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala

Langa 220x290

Baganda ba Bashir nabo babakutte...

Bannamagye abaawambye obuyinza e Sudan bakutte baganda ba Omar al-Bashir babiri abagambibwa nti b’abadde akozesa...

Namirembe1omulabiriziluwalirakityongakulembeddeabakrisitaayookutambuzakkubolyamusalabaa 220x290

Tekinologiya aleme kubeerabiza...

Tekinologiya aleme kubeerabiza Katonda - Bp. Kityo Luwalira

Katwe5 220x290

Dokita w’eddwaaliro lya IHK talabikako...

DOKITA mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala (IHK) abuze mu ngeri etategeerekeka ekivuddeko akasattiro...