TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Taata w'omuyimbi Chris Evans agudde mu kabuyonjo n'afiiramu

Taata w'omuyimbi Chris Evans agudde mu kabuyonjo n'afiiramu

By Musasi wa Bukedde

Added 26th June 2018

TAATA w’omuyimbi Chris Evans Kaweesi agudde mu kaabuyonjo n'afiiramu oluvannyuma lw'okumalamu ebbanga ng'alaajana okuyambibwa ne wataba ayamba!

Tata 703x422

Kitaawe wa Chris Evans omuto eyafudde

Bya MARY ANTHONY NANTAMBI 

Benard Ssonko (70) taata wa Chris Evans omutto abadde omutuze w'e Kajjansi mu zooni ya Nakigalala y'agudde mu kaabuyonjo y'ewaka we bw'adde agenze okweyamba.

Sam Lutwama ng’ono ye ssentebe w’ekitundu kino agamba nti ekireetedde kaabuyonjo eno okuggwayo ye nnamutikwa w’enkuba eyatonnye okumala ennaku bbiri  ekyareetedde amazzi okuyingira mu seminti n'anafuwa.

Pasco Muyingo  mulirwana w’omugenzi Ssonko agamba nti ku ssaawa 4:30 ez'oku makya ng'enkuba ekedde yagenzeeko mu maka g’omugenzi wabula yamusanze munakuwavu kubanga wirubalo ye yabadde ebbiddwa abantu abatannamanyikibwa era olwamaze okumutegeeza ekiriwo n'amugamba k'asooke agendeko mu kaabuyonjo kubanga yabadde teyeewulira bulungi.

Muyingo ayongeddeko nti yabadde ku bodaboda ye nga yesigamye yazzeemu okuwulira nga Ssonko alaajana nga bwaasaba okumuyamba kubanga yabadde aguddeyo.

Yalagidde omwana n'agenda okusaba abatuze baleete eddaala n’omuguwa basobole okuggya Ssonko mu kaabuyonjo.

Ebyembi eddala n’omuguwa byabuze mu kadde ako , baagenze okubifuna nga n'ekiseminti kya kaabuyonjo kyonna kiguddemu ne kimubuutikira bw'atyo n'afiiramu.

Nga wayise ebbanga poliisi y'e Kajjansi yazze n'ennyulula omulambo ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago gye gwaggyiddwa omugenzi n'aziikibwa n'aziikibwa e Makandwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala

Langa 220x290

Baganda ba Bashir nabo babakutte...

Bannamagye abaawambye obuyinza e Sudan bakutte baganda ba Omar al-Bashir babiri abagambibwa nti b’abadde akozesa...

Namirembe1omulabiriziluwalirakityongakulembeddeabakrisitaayookutambuzakkubolyamusalabaa 220x290

Tekinologiya aleme kubeerabiza...

Tekinologiya aleme kubeerabiza Katonda - Bp. Kityo Luwalira

Katwe5 220x290

Dokita w’eddwaaliro lya IHK talabikako...

DOKITA mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala (IHK) abuze mu ngeri etategeerekeka ekivuddeko akasattiro...