TOP
  • Home
  • Agawano
  • Judith Babirye yeewangulidde mubaka munne: Okwanjula kwengedde

Judith Babirye yeewangulidde mubaka munne: Okwanjula kwengedde

By Musasi wa Bukedde

Added 27th June 2018

JUDITH Babirye bwe yayimba “Maria guma….okuze abaana bo…” yali tategeeza kufa buyinike! Ennaku gye yalabira mu ddya eryasooka, asazeewo agisibe ku mpagi ayingire eddya eryokubiri.

Yita 703x422

Judith Babirye ng’alina by’ategeeza mubaka munne Paul Musoke. Mu katono ye kkaadi.

Babirye yeewangulidde mubaka munne Paul Musoke Ssebulime era bombi bava mu disitulikiti yeemu ey’e Buikwe.

Babirye ye mubaka omukyala owa disitulikiti eno ate Musoke ye mubaka wa Buikwe North mu Palamenti era mu njogera enyangu, Konsitituwensi ya Musoke eri munda mu ya Babirye ekyongera okubagatta.

Babirye yasooka kuteekayo mpapula mu kkooti ng’ayagala ebaawukanye mu butongole ne Niiwo era omusajja n’asooka akisimbira ekkuuli.

Bamaze ebbanga nga battunka mu kkooti e Makindye nga Babirye ayagala omulamuzi abaawukanye nga yeesigama ku nsonga nyingi omuli ebbuba ly’omusajja erisusse n’okumukubanga enkya n’eggulo.

Obutakkaanya baabufuna mu November wa 2009 ne baawukana era Niiwo yamala omwaka mulamba nga yeegayirira Babirye badding’ane, wabula omuyimbi w’ennyimba z’eddiini n’akomba kw’erima!

Abamu baamunenya nti teyandibadde muntu eyayimba ennyimba nga Maria ezikubiriza abakazi okunywerera mu ddya ne bwe libeeramu ebizibu, ate n’anoba! Wabula abamuli ku lusegere be bokka be yayanukulanga nti, “Okunywerera mu ddya tekitegeeza kulifi iramu ng’olaba!”

Mu luyimba olwo, olunyiriri luli lumu lwokka Babirye lwe yanyweza olugamba nti; “Ebisumbuwa mu ddya bingi bibaamu, naye olugifuluma ennyumba abaana obaziika” kubanga omwana gwe yazaala mu Niiwo bwe yali afuluma eddya, yavaayo naye era y’amulabirira.

ENGERI BABIRYE GYE YEEWANGULIDDE MUBAKA MUNNE

Olwatandika ng’oluvuuvuumo nti Babirye afunye omusajja omulala, lwafuuse ensonga nga Babirye afulumizza kkaadi eziyita abantu mu kwanjula.

Enteekateeka z’emikolo zigenda mu maaso era okwanjula kutegekeddwa nga July 28, 2018 era abantu bangi abayitiddwa naddala ababaka ba Palamenti.

Babirye ne Musoke baatandika okukwatagana mu 2013 kyokka enkwatagana yeeyongera mu 2015 ng’okunoonya akalulu k’obubaka bwa Palamenti kutandise. Abamu bwe baafunye kkaadi ezibayita mu kwanjula, baatandikiddewo okubyogera nti “Ehhh, obufumbo bwe twalowoozanga nti bwa byabufuzi, buvuddemu obufumbo bwennyini!” Olwokuba bombi baali bawangudde kkaadi ya NRM mu kamyufu, baasalawo akalulu bakanoonye babiri era olumu emmotoka baatambuliranga mu emu.

Bwe baatuuka mu Palamenti mu May wa 2016 nga bamaze n’okulayira, oyinza okugamba nti Babirye ne Musoke baalayirira obutakoma ku kukuuma ssemateeka wa ggwanga wabula baagattako n’okukuuma ssemateeka w’omukwano gwabwe ogwali gutandise okusimba emirandira.

Bwe bakkalira mu Palamenti era baateekebwa ku kakiiko ke kamu aka National Economy akakubirizibwa Syda Bumba (Nakaseke North) ekyayongera okubanywereza awamu.

KKAADI TEZIRAGA KIFO

Wadde abantu bangi kkaadi z’emikolo zaabatuuseeko, wabula teziriiko mannya ga musajja.

Kino abamu tebaakitutte nga nsonga kubanga mu kwanjula, osobola okusalawo omusajja bamulabire awo; wabula ekikyabatabudde kwe kuba nga kkaadi teziriiko kifo emikolo we ginaabeera.

Wadde amannya g’omusajja oluvannyuma gaategeerekese, wabula ekifo tebannaba kukitegeera era obwedda abamwekubako, abategeeza kimu nti; “Bannange temufaayo, tujja kubaweereza obubaka obubategeeza ekifo kye tunaaba tukkaanyizzaako.”

Ekyewuunyisa waliwo omubaka ataayagadde kumwatuukiriza mannya eyagambye nti wadde Babirye yamulonda okubeera ku kakiiko akateekateeka omukolo gwe naye tamuyitangako mu lukiiko.

“Ekinneewuunyisa mpulira nti waliwo enkiiko ezituula nga za kyama; naye tomanya ayinza okumpita mu nkiiko ezinaasembayo” Omubaka bwe yagambye. Babirye 41, yamanyika nnyo mu 2006 olw’oluyimba lwe Yesu Beera nange” olwayagalwa ennyo.

Yasooka kugaana kuyimba mu bivvulu ebitali bya ddiini era mu 2006 yagaana okutwala engule eyamuweebwa eya PAM Awards ng’agamba nti byonna byali bikontana n’Obulokole.

Alina ddiguli mu by’obulambuzi gye yafunira e Makerere. Ettutumu mu kuyimba kye kimu ku byamusobozesa okuwangula Dorothy Mpiima eyali akiikirira ekitundu ekyo mu palamenti.

PAUL MUSOKE SEBULIME Y’ANI?

Yali ssentebe wa Njeru Town Council okuva mu 2002 okutuuka mu 2016 lwe yeesimba ku bubaka bwa Palamenti.

Ebiwandiiko ebitongole ebimukwatako bye yateeka mu Palamenti biraga nti talina mukazi (Single). Embeera y’emu ne Babirye gye yalaga era bombi baasangiddwa mu bwetaavu.

Emisomo egya waggulu yagisoma bukulu kuba dipulooma gye yasooka okufuna mu Offi ce Management okuva e Bungereza yagifuna mu 2002.

Alina ddiguli ya Business Administration okuva mu Ndejje University eya 2005 ne ddiguli eyookubiri mu Development Studies okuva mu Kyambago University.

Kuno kwagatta ne satifi keeti mu kuvuga ennyonyi gye yafuna mu 2010.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kim1 220x290

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero...

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero okussa essira ku masomo agalina akatale

Det22 220x290

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior...

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior 6 ne mutabani ne basibagana mu bubonero.

Nom1 220x290

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka...

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka ku mukolo gw'okutuuza omulabirizi

Grave1 220x290

Abaffamire ya Nkoyooyo batabuse...

ABA FFAMIRE y’eyali Ssaabalabi­rizi w’ekkanisa ya Uganda, omu­genzi Bp. Livingstone MpalanyiNkoyoyo baguddemu ekikang­abwa...

Sit24 220x290

Abawala babuutikidde abalenzi mu...

Abawala babuutikidde abalenzi mu bya senior 6