TOP
  • Home
  • Agookya
  • Ebipya ku Kaweesi: Makanika eyalaba nga bamutta baamunoonya ne bamusalako omutwe

Ebipya ku Kaweesi: Makanika eyalaba nga bamutta baamunoonya ne bamusalako omutwe

By Musasi wa Bukedde

Added 27th June 2018

Okumpi ne we battira Andrew Felix Kaweesi, waaliwo emmotoka eyali efiiridde ku kkubo nga bamakanika babiri bagikanika. Ebyaliwo byonna baabiraba era ne bakuba ebifaananyi ebyakwatiramu n’abatemu.

Pamba 703x422

Omugenzi Andrew Felix Kaweesi. Ku ddyo ye muvubuka eyattibwa.

Okumpi ne we battira Andrew Felix Kaweesi, waaliwo emmotoka eyali efiiridde ku kkubo nga bamakanika babiri bagikanika.

Ebyaliwo byonna baabiraba era ne bakuba ebifaananyi ebyakwatiramu n’abatemu.

Wabula oluvannyuma baali badduka baveewo, abatemu ne babalaba kyokka ne batasobola kubakwata.

Bamakanika bano baalondoolwa era omu n’asalibwako omutwe, omulambo gwe ne bagusuula e Masaka.

Obujulizi buno bwazuuliddwa bambega ba ISO ne CMI abeefunyiridde okuzuula ekituufu ku nfa ya Kaweesi. Kaweesi yatemulwa nga March 17, 2017 e Kulambiro okumpi n’amaka ge.

Yatemulwa ne ddereeva we Godfrey Mambewa n’omukuumi we Kenneth Erau. Bamakanika okuli eyakazibwako erya Mukwasi baali bakolera ku galagi emu e Kabowa - Ndeeba.

Waliwo kasitoma eyakuba essimu ku galagi ku Lwokuna nga March 16, ekiro ng’ayita bamakanika kubanga emmotoka ye Toyota Harrier yali efiiridde ku kkubo e Kulambiro.

Baakeera ku Lwokutaano, Kaweesi lwe yattibwa, okukanika emmotoka eyo. Bano baalaba buli kintu okuva ku muserikale wa poliisi agambibwa okuba Abel Kitagenda (yakwatibwa) eyavuga pipikipi okugenda ku geeti ewa Kaweesi n’alabibwa ng’ayogera n’abaserikale.

Baakozesa essimu ne bakuba ebifaananyi, era abatemu oluvannyuma baalaba bamakanika kyokka ne batasobola kubakwata.

Ebintu byaboonoonekera luvannyuma lwa poliisi kussaawo kirabo kya bukadde 100 eri oyo anaawa amawulire amatuufu agatuusa poliisi ku kukwata abatemu.

Abavubuka beetwala ku kitebe kya poliisi e Naguru era baasobola okulaba omu ku boofiisa.

Ofiisa yalagira omuyambi we ayitibwa Silas abatwale mu woteeri emu baweebwe obukuumi. Kyokka bamakanika byabasobera abaserikale bwe baatandika okubatulugunya nga babuuza gye baggye obujulizi.

Baabaggyako essimu zaabwe okuli ebifaananyi. Makanika omu Mukwasi yafuna omwagaanya w’atolokera n’agenda yeekukuma mu kyalo e Mbale.

Wabula we yaddukira yali amaze okuwa abaserikale byonna ebimukwatako okuli ne gy’akolera (Kabowa), gy’asula e Kawaala – Kasubi ne gy’ava e Mbale.

Abaserikale baamunoonya okutuuka e Mbale mu Bugisu gye baamuggya. Okuddayo okuwuliza Mukwasi ng’attiddwa omulambo gwe ne gusuulibwa e Masaka.

Gwasangibwa gusaliddwaako omutwe. Munne (amannya galekeddwa) yatulugunyizibwa nnyo kyokka ng’akyaliyo mulamu.

ISO NE CMI BAFUNA EBIFAANANYI

Amagye gaayazizza amaka g’omu ku baserikale abaakwatiddwa ku by’okutemula Kaweesi.

Mu bye baasanzeeyo kwabaddeko essimu bbiri okuli eya Mukwasi ne munne. Ku ssimu kuno munne wa Mukwasi yabadde amaze okutegeeza bambega nti kuliko ebifaananyi ebyakubwa abatemu nga batta Kaweesi ne byonna ebyaliwo.

Kyokka ebifaananyi byali byasangulwako. Bambega baatutte essimu ne bakozesa tekinologiya okukomyawo byonna ebyali ku ssimu.

Ebifaananyi byonna ne baddamu okubifuna. Kyategeezeddwa nti ebifaananyi byalaze abamu ku baserikale abaakwatibwa kyokka birimu n’abantu abalala abatannakwatibwa.

Munne wa Mukwasi ali mu mikono gy’abebyokwerinda ajja kukozesebwa ng’omu ku bajulizi mu musango guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...

Buget 220x290

Palamenti eyisizza bajeti ya 2019/20...

PALAMENTI eyisizza bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2019/2020 nga ya Tuliliyooni 40 (Bwe buwumbi emitwalo...