TOP
  • Home
  • Agawano
  • Omusuubuzi bamutemye ne bamuttirawo e Kireka

Omusuubuzi bamutemye ne bamuttirawo e Kireka

By Musasi wa Bukedde

Added 27th June 2018

OMUSUUBUZI w’amatooke mu katale k’ebalimi e Kireka, Wycliffe Mugume (Kidaida) 28, nga mutuuze w’e Kireka Zooni A, abazigu bamuteeze ne bamutemaatema ebiso ku mutwe ebimuttiddewo.

Ssa 703x422

Omugenzi Mugume

Omulambo gwe gusangiddwa nga gwevuunise mu kitaba ky’omusaayi we baamutemedde nga baagusuddeko ejjambiya gye baamutemesezza. Era asangiddwa n’essimu eriko akatooki akaaka ke yabadde akozesa okumumulisa ng’atambula.

Mugume abadde asuubula matooke g’emyeera okuva e Itendero mu Bushenyi n’aggireeta mu katale k’abalimi e Kireka naye n’azisuubuza abantu era we baamutidde, abadde yeeyuna mmotoka kutikkula mmere ye ebadde etuuse mu katale.

“Azuukuse ssaawa 11:30 n’agenda okutikkula ensawo z’amatooke ku mmotoka mu katale k’e Kireka nga bulijjo, naye bwe bukedde, nga ndaba abantu bajja badduka ne bambikira nti baze bamusse era ali mu kitaba ky’omusaayi,” Judith Kyompiire mukyala wa Mugume bw’annyonnyola.

Mugume asangiddwa n’ekisago ekyamaanyi ku nkoona ekiteeberezebwa okuba nti bamutemyewo jjambiya, mu bulago nga bamusaze ne bamukutula eddokooli kyokka nga n’omumwa baguyuzizza.

Muliraanwa we ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza nti yawulidde omuntu aleekaana omulundi gumu teyazzeemu kwogera, nga waabaddewo n’akavuvungano akaamaanyi ng’abantu batambulatambula wabweru. Kimubuuseeko okukeera ng’alaba omulambo mu kitaba ky’omusaayi.

Sperito Lubwama omu ku baasoose okudduukirira agamba nti, olwamaze okumutta, omulambo gwe ne bagusuulako ejjambiya ebadde empagale obulungi.

Poliisi y’e Kireka ezze n’eggyawo omulambo n’egutwala mu ggwanika e Mulago, n’ejjambiya n’etwalibwa ku poliisi okubayambako mu kunoonyereza ne baggulawo omusango gw’obutemu ku fayiro nnamba CRB.216/2018.

Alex Mubangizi ssentebe w’akatale kano, yagambye nti ku Mmande, Mugume yakola era abadde atandise okwezimba okuva lwe yatandika okusuubula emmere naye kimwewuunyisizza okumubikira essimu nti bamusse.

Mugume agenda kuziikibwa Itendero e Mbarara Bushenyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup