TOP
  • Home
  • Amawulire
  • leero mu mboozi yaffe ey'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'enniimu mu nteekateeka y'ekizadde n'okulwanyisa endwadde z'ekikaba

leero mu mboozi yaffe ey'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'enniimu mu nteekateeka y'ekizadde n'okulwanyisa endwadde z'ekikaba

By Musasi wa Bukedde

Added 28th June 2018

leero mu mboozi yaffe ey'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'enniimu mu nteekateeka y'ekizadde n'okulwanyisa endwadde z'ekikaba

Kab1 703x422

ekirunButto akamuddwa mu nniimu.

BW’OYOGERA ku nniimu, abamu balowooza ku nniimu ebaako ebibala ebifaanana emicungwa. Wabula njogera ku nniimu nga omuti guno gwaleetebwa kuno Abayindi mu biseera by’okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka era ewaabwe baguyita ‘Omuti ogw’ebyamagero’ era Abaswayiri bagwogerako ng’omuti ogujjanjaba endwadde 40.

Kanjogere ku nsigo z’omuti guno, ze tukamudde butto akozesebwa ku bintu eby’enjawulo okuli ensolo, ebimera n’abantu anti alimu ekirungo ekitta obuwuka. Omuti guno wadde Bannayuganda baali tabajjumbidde kugusimba, naye mu gye 90 baagusimba nga bamaze okukizuula nti gugoba ensiri.

Guyamba ku bantu abalina omusujja, amatondo 5 mu mazzi agabuguma gakumala. Ayamba ku bantu abafunye yinfekesoni, naddala ku bakyala abatera okuzifuna mu kaabuyonjo encaafu.

Butto ono ayamba ku kabotoongo n’enziku nga omunywa ku mazzi agabuguma. Abalwadde ba ssukaali abayambako obutalinnya n’obutakka ekisukkiridde.

 Ku balunzi b’enkoko, zimanyi okufuna yinfekisoni olw’okuziriisa emmere encaafu osobola okuziteera amatondo 20 mu liita 20 ez’amazzi naddala abalunda enkoko ez’ennyama. Mulungi mu kunyiriza olususu, era kkampuni nnyingi ezikozesa butto ono mu bizigo ebinyiriza olususu. lOsobola okumuyumunguza mu kamwa kuba atta obuwuka obulwaza amannyo, era eddagala lingi ery’amannyo lirimu ekirunButtogo kino.

Butto w’enniimu ayamba mu nteekateeka y’ezadde ey’obutonde. Buli mulundi gwe weegatta n’omusajja oteekayo amatondo 10 nga mugenda mu kikolwa ne bwe mumaliriza era oteekeyo 10 gano gakwata enkwaso z’omusajja ate talina buzibu bwonna ku mukyala oba omwami. Kyokka bw’oba omunywedde ate talina w’akwataganira na kukuziyiza kuzaala, ate olwo omugaso gwe gukyuka, era tomunywa n’olowooza nti ajja kukuyamba.

Alimu ekirungo kya Nimbecidine, kino kitta ebiwuka oteeka obusaanikira 10 mu liita 20 n’ofuuyira ebirime.

 nniimu eriko ensigo zino zikamulwamu butto Enniimu eriko ensigo, zino zikamulwamu butto.

 

Osobola okumukozesa ku nte n’omusiiga ente n’okufuuyira n’agoba enkwa. lAkola ku mabwa n’ebigere ebivunda mu mpataanya. lAbantu abavaamu omusaayi mu kamwa nga basenya abayamba ng’omuyumunguza mu kamwa.

Akola ku bantu abagwa emmeeme, kuba baba beesiba olubuto ng’ekyenda bwe kivaayo kiremererwa okuddayo.

 

Akola ku biguuna, situka, ebisente, olukuku n’ebigenge ayamba okubiwonya. lOsobola okumukozesa okutta ebiwuka mu lubuto ate akola n’ebirala. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.