TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abagambibwa okutta maama wa Ddiifiri Batte bakwatiddwa

Abagambibwa okutta maama wa Ddiifiri Batte bakwatiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 28th June 2018

Abagambibwa okutta maama wa Ddiifiri Batte bakwatiddwa

Lup1 703x422

Lubuulwa ne Tino ku poliisi. Mu katono wansi ye mugenzi Ziribaggwa.

ABAAKWATIDDWA ku by’okutta maama wa ddiifiri wa FUFA, Dennis Batte, bagasimbaganye ku poliisi ne beerumiriza. Buli omu alaze munne nga bwe yali omusaale mu kutemula omugenzi. “Nze wadde bankutte kituufu nalimu mu nnyumba y’omugenzi (Tereza Ziribaggwa (70), mwe nali nanobera, wabula bwe zaali ziwera ssaawa nga 6:00 ekiro ne mpulira abakonkona ku luggi era mukadde n’abaggulirawo,” bwatyo Dina Tino eyali yanobera ewa Ziribaggwa bwe yategeezezza poliisi. Tino okunnyonnyola bino yabadde ku poliisi ku Lwokusatu nga bagasimbaganye n’omutemi w’embizzi eyali tava wa Ziribaggwa.

Yali kasitoma we mu bbaala ye okumala ebbanga. Ssaalongo Denis Lubuulwa ye yakwatiddwa ku Lwokubiri ekiro mu bitundu by’e Kamwokya gye yabadde addukidde. Yayongeddeko nti, “Lubuulwa ne banne okuli Mayanja ne Mando baayingira mu nnyumba ne bankwata ne bansiba akandooya era ne ndaba Lubuulwa ng’akaka omukadde omukwano ku mpaka nga banne basaakaanya.

Oluvannyuma Lubulwa yaggyayo ejjambiya ng’emasamasa n’atema omugenzi buli we yasanga.Yamuggyamu amaaso, n’amutemako omukono n’ebirala era nze nga nkubayo limu ne nzizaawo omutwe kuba nali mmanyi nti nze nzirako.

Nga bamalirizza obutemu bwabwe baakwata ebintu by’omugenzi okwali ensawo ye ey’omu ngalo n’emifaliso n’ebintu ebirala ne bafuluma mu nnyumba. Bandagira mbagoberere, bwe nnatuuka ku bbuca y’embizzi eya Ssaalongo, n’ampa 60,000/- mu mpeke, nampitira ne boda eyansuula e Busega gye nalinnyira takisi ne bandagira ekyalo nkyamuke kubanga baali baakunkwata.

Nange mu kutya nakkiriza era ne ng’enda ne nzirukira ewa muganda wange Betty Anyayiti e Kamwokya. Poliisi y’e Kyengera ng’ekulembeddwaamu akulira bambega baayo Winifred Nakatudde gye baansanze ne bankwata.

Wabula ebigambo bya Tino byatabudde Lubuulwa n’agamba nti ono omukyala ye mutemu kubanga amaze ebbanga nga yanobera mu nju ya Ziribaggwa era nga tayagala kufuluma. “Ye oba si ggwe mutemu lwaki nnyabo abantu b’oku kyalo gwe gwe baakeera okulaba ng’ofuluma n’omufaliso gwa Ziribaggwa n’ebintu bye ebirala era lwaki babikwatidde wuwo?” Lubuulwa bwe yamubuuzizza.

Wano Tino yayongedde n’abuulira poliisi nti ku nsonga ezimu z’ateebereza okuvaako okutemulwa kwa Ziribaggwa, omukadde ono yali yawola Ssaalongo ssente ze emitwalo 20 (200,000/-) agule embizzi era ebbanga lyali Bya H. NKALUBO ESSANYU libugaanye abawagizi b’omubaka Betty Nambooze Bakireke poliisi bw’emukkirizza okutwalibwa e Buyindi ajjanjabwe era kati bba Henry Bakireke yatandise dda okukola ku nteekateeka ezimulinnyisa ennyonyi.

Bakireke yategeezezza nti bagenda kusooka kumutwalako wa dokita waabwe e Bugoloobi asooke amukebere buto n’okumwetegereza oluvannyuma bamwongereyo e Buyindi.

Yagambye nti ekiseera ky’okutwala Nambooze e Buyindi kyayitako dda kyokka poliisi ebadde yamulemera. Eggulo poliisi yakkirizza Nambooze okutwalibwa mu ddwaaliro ku kakalu ka poliisi oluvannyuma lw’ebitongole ebyenjawulo omuli Palamenti, akakiiko k’eddembe ly’obuntu, abasawo ne minisita w’ebyobulamu okusemba atwalibwe.

Ebbaluwa ya minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng yategeezezza sipiika Rebecca Kadaga okwanguya enteekateeka y’okukola ku byetaagisa okutwala Nambooze kubanga abasawo baakakasizza nti embeera gy’alimu yetaaga kuddamu kukeberebwa dokita eyamulongoosa. Omwogezi wa poliisi ku kitebe kya bambega e Kibuli Vincent Ssekate yagambye nti bamutadde ku kakalu ka poliisi atwalibwe mu ddwaaliro.

“Tumuwadde okutuuka nga July 29, 2018 lwe tumusuubira okuddamu okweyanjula . Ffe tugenda kugenda mu maaso n’okunoonyereza ku misango gye okutuusa lw’anadda,” Ssekate bwe yagambye .

Bino we bijjidde nga babaka banne, okuli Ibrahim Ssemujju Nganda, Allan Ssewanyana , Muyanja Ssenyonga ne Moses Kasibante baabadde balabudde nti ku Lwokuna (leero) bagenda kukunga bannaabwe bagumbe ku ddwaaliro e Kiruddu okutuusa ng’ayimbuddwa.

Okusalawo kino poliisi yasoose kubalemesa kumuggyayo. Oluvanyuma lw’akakalu ka poliisi, embeera y’ebyokwerinda ku ddwaaliro e Kiruddu ekkakkanye abaserikale ne bakendeeza ku biragiro bye babadde bawa abayingirayo.

Ku Lwokubiri, abaserikale baabadde tebakkiriza muntu ayingira mu ddwaaliro ng’ensawo teyaziddwa ate n’emmotoka zatuusizza ekiseera ne zigaanibwayo. Lwakuna June 28, 2018Poliisi ekkirizzaliyiseewo e nga tamusasula.

Bano oluvannyuma baapondoose ne bakkiriza okutemula Ziribaggwa ne boogera ne bannaabwe abalala gye bali, era Mayanja n’akwatibwa. Akulira bambega Nakatudde yategeezezza nti bwe baafunye amawulire nti Tino yabaddewo mu nnyumba nga Ziribaggwa attibwa ne batandika okulumika ssimu ye okukkakkana nga bamukutte era abayambye okutegeera abaakola obutemu era bagguddwaako dda omusango ku fayiiro nnamba CRB136/2018.

Abalala abaakwatiddwa kuliko bba wa Tino ayitibwa Stanely Owulo ne Peter Mutyaba ateeberezebwa okuba nga y’abadde muganzi w’omugenzi. Tino poliisi okumukwata e Kamwokya gye yabadde, yabadde amaze n’okufuna omusajja omulala gwe yabadde agenda okufumbirwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....