TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olutalo lwa Justine Nameere ne Faridah Nakazibwe luzzeemu

Olutalo lwa Justine Nameere ne Faridah Nakazibwe luzzeemu

By Musasi wa Bukedde

Added 29th June 2018

Olutalo lwa Justine Nameere ne Faridah Nakazibwe luzzeemu

Don1 703x422

Faridah Nakazibwe ku kkono ate Justine Nameere ku ddyo

OLUTALO wakati w’abakozi ba ttivvi Faridah Nakazibwe ne Justine Nameere lukyalanda. Nameere asabye kkooti enkulu esazeemu olugendo lwa Nakazibwe mu Amerika. Mu kusaba kwe, Nameere agamba nti ategeddeko nti Nakazibwe bw’agenda mu Amerika tagenda kudda ekitegeeza nti omusango gwe yamuwawaabira okumulebula ajja kuba agwepenye.

Gye buvuddeko Nakazibwe yafunye ddiiru y’okubeera MC mu lukuhhaana lwa ‘The Uganda festival’ mu Amerika olw’okubeerawo wakati wa September 30 - October 3, 2018 ku Gaylord National Resort Hotel mu Washington DC. Nameere agamba nti okuggyako Nakazibwe okukola ku ttivvi (NTV), talina mulimu mulala. Nga mu mbeera eno alina okuleka omusingo ogw’amaanyi mu kkooti ogunaamuwaliriza okukomawo mu Uganda.

Olutalo lwa bano baalutandikira ku Facebook, Nakazibwe bwe yateekako ekiwandiiko ng’agamba nti akooye Nameere okumusojjanga ng’aweereza bba (Omar Ssali) obubaka obumuggya ku mulamwa gw’obufumbo bwabwe.

Nakazibwe alumiriza Nameere okukozesa amannya agatali gage (Jojo Bella) ku Facebook n’aweereza bba obubaka obumwonoona n’ekigendererwa eky’okutta obufumbo bwe. Era ekimu ku biwandiiko kyalimu amannya g’abasajja abagambibwa nti baganzi ba Nakazibwe. Nameere mu kwewozaako naye yasooka ne yeeyambisa Facebook ne yeegaana ebimwogerwako Nakazibwe ng’agamba nti ono kalebule yennyini.

Nameere agamba nti poliisi ya Kira yaakayita Nakazibwe enfunda bbiri aleete obujulizi bw’alina babunoonyerezeeko gye buva ne balooya be ne bamuwandiikira kyokka Nakazibwe yagaana okugenda ku poliisi yadde okuddamu balooya.

Kino kyawaliriza Nameere okutwala Nakazibwe mu kkooti amuliyirire ssente obukadde 500 olw’okumwonoonera erinnya ng’amusibako nga bw’amwonoonera obufumbo bwe kyokka nga ye (Nameere) mukyala mufumbo alina n’abaana. Ku musango gwe yatwalayo, Nameere kwe yasinzidde okusaba kkooti eyimirize olugendo lwa Nakazibwe mu America kubanga ayinza okubulirayo n’atadd

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...