TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri heedimasita wa Kyabakadde gy’afiiridde mu buliri

Engeri heedimasita wa Kyabakadde gy’afiiridde mu buliri

By Musasi wa Bukedde

Added 29th June 2018

Engeri heedimasita wa Kyabakadde gy’afiiridde mu buliri

Web1 703x422

Kalooli Kiwanuka (ku ddyo) ku mukolo ogumu ku St. Cyprian Kyabakadde. Wakati ye Fr. Ignatious Kibowa ssentebe w’olukiiko olukulembera essomero.

HEEDIMASITA w’essomero lya Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga erya St. Cyprian High School Kyabakadde bamusanze afiiridde mu buliri. Nga bulijjo Kalooli Kiwanuka yasiibudde mukyala we ng’ava mu maka ge e Namugongo okugenda e Kyabakadde ku ssomero okukola.

Bwe zaaweze essaawa nga 4a:00 ez’oku makya g’Olwokusatu, n’ategeeza banne nga bwe yabadde ayagala okuwummulako. Yagenze mu nnyumba y’omukulu w’essomero entongole esangibwa ku ssomero awummule.

Omumyuka we Patrick Katuramu agamba nti baagenze okulaba nga tadda ne balowooza nti oboolyawo yafulumye kyokka omuserikale ku geeti n’abategeeza nti okuva lwe yayingidde mu nju, tannaba kuvaamu. Olwo zaabadde ziweze essaawa 10:00 ez’olweggulo.

Baasazeewo okunoonya omuvubuka atera okubeerawo ne bamulagira atuukeyo alabe ky’aliko. Katuramu yagambye nti ng’omuvubuka atuuse mu nnyumba, yasanze Kiwanuka agudde wansi w’ekitanda nga tanyega kwe kuyita abasomesa. Baagenze okumutuukako nga yafudde dda, n’okunnyogoga ng’annyogoga.

Emiranga n’ebiwoobe bye byazzeeko ne bayita abasawo okuva mu ddwaaliro e Naggalama ne poliisi ne baggyawo omulambo ne bagutwala mu ggwanika e Mulago. Kiwanuka yasomera ku Uganda Martyrs SS Namugongo, n’asomesaayo n’afuulibwa omumyuka wa heedimasita wa St. Francis Ndeeba gye yava okugenda e Kyabakadde. Yeesimbawo ku bubaka bwa palamenti bwa Kyaddondo East mu 2001 n’awangulwa.

Waakuziikibwa ku Lwokutaano (leero) ku ssaawa 10:00 e Kira oluvannyuma lwa Mmisa eneesomwa ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo ku ssaawa 8:00. Alese nnamwandu n’abaana ng’omukulu ali mu P7 e Namagunga Girls.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.

Bada 220x290

Gavumenti etandika Lwamukaaga okugaba...

GAVUMENTI efulumizza pulaani y’okugabira abanaku emmere Pulezidenti Musevi gye yasuubizza oluvannyuma lw’okuyisa...

Mwe 220x290

Abaakava e Dubai babaggye Matugga...

WABADDEWO akasattiro e Matugga abasawo b’ebyobulamu okuva mu Munisipaali y’e Nansana bwe bazinzeeko abantu ababadde...