TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amagye gakutte abasirikale abalala babiri ku by'okutta Kaweesi

Amagye gakutte abasirikale abalala babiri ku by'okutta Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 29th June 2018

Amagye gakutte abasirikale abalala babiri ku by'okutta Kaweesi

Bib1 703x422

Ahimbisibwe ku ddyo ne Mutyaba ku kkono

Amagye gongedde okukwata abaserikale babiri aba Flying Squad nga kigambibwa nti balina kye bamanyi ku kutemula Andrew Felix Kaweesi. Omuserikale Hassan Mutyaba yakwatiddwa ku Lwokusatu.

Kigambibwa nti aggaliddwa mu kifo kya ISO e Bukedde Lwakutaano June 29, 2018 Amawulire 4 Bakutte abalala 2 ku bya Kaweesi Kyengera. Amagye era gaakutte ne Chris Ahimbisibwe omu ku basajja Muhangi be yali asinga okwesiga naddala mu by’okunoonyereza ku misango gy’okuwamba n’obutemu ng’akolera mu ofiisi ekola emirimu egy’ekikugu (technical).

Bano bawezezza omuwendo gw’abaserikale ba Flying Squad mukaaga abaakakwatibwa. Abalala ye, mukama waabwe Herbert Muhangi, Abel Kitagenda, Martin Kimbowa ne Moses Kasibante. Mutyaba yakwatiddwa mbega wa ISO eyategerekeseeko erya Kakerenge. Kyabadde tekinnategeerekeka ngeri gye yeenyigira mu kutemula Kaweesi kubanga tabadde ku lukalala lw’abanoonyezebwa.

Kyategeezeddwa nti Ahimbisibwe abadde yava mu Kampala n’adda mu kyalo e Bushenyi gye baamuggye. Ensonda zaategeezezza nti eyali omuyambi omukulu owa Kayihura agambibwa nti amanyi bingi ku kutemula Kaweesi, Assistant Commissioner of Police (ACP) Jonathan Baroza akyababuze.

Kigambibwa nti bambega abaagenda mu Algeria okumunona baasanga obuzibu, abeebyokwerinda bwe baakola ekisoboka okubalemesa okumukomyawo. Bambega baakomawo, kyokka ne kitegeezebwa nti Baroza yabadde avudde mu Algeri n’agenda e Turkey. Wabula bambega baagambye nti baakozesezza enkolagana ya Uganda ne Turkey okumufuna nga kurabika ne mu Turkey taliiyo.

Baroza bamulumiriza okuba ne ky’amanyi ku by’okutemula Kaweesi. Kyokka gye bvuvuddeko yasinziira mu Algeria gy’akolera n’ategeeza nga bw’atalina ky’amanyi ku butemu obwo.

Baroza yali nnyo ku lusegere lwa Kayihura era bakimuteekako ngti yatuma abasajja babiri mu kifo awattirwa Kaweesi e Kulambiro we baabakwatira nga bayoola omusaayi.

Baroza ye yali omuyambi wa Kayihura omukulu era nga kiteeberezebwa nti alina bingi by’amanyi ebiyinza okubayamba mu kubuuliriza kwe baliko. Mu kiseera Kayihura bwe yali e Turkey ne wabalukawo okulwanagana wakati w’amagye, Poliisi n’abaserikale b’Omusinga we Rwenzururu, Wesley Mumbeere, Kayihura yasinziira e bweru n’alonda Baroza okubeera omukwanaganya w’ebikwekweto e Kasese.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...