TOP

Abali ku gw'okutta Magara bakaayidde Poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 29th June 2018

Abali ku gw'okutta Magara bakaayidde Poliisi

Yip1 703x422

Ssali (mu kakobe) ng’aliko by’ategeeza omulamuzi.

ABASIRAAMU abaakwatibwa ku by’okutta Susan Magara batadde akazito ku poliisi ebalage bakyala baabwe gye bakuumirwa bukya bakwatibwa. Bakulembeddwaamu Muzamiru Ssali eyagambye omulamuzi nti: “Oweekitiibwa nsaba poliisi etubuulire gy’ekuumidde bakyala baffe ne bannyinaffe kubanga awaka tebaliiyo ate ne mu kkomera tebaliiyo.

Poliisi bwe yazinda omuzikiti gwa USAFI yakwatiramu abooluganda baffe n’abaana naye tetuddangamu kubawuliza. Ebintu byaffe okuli emmotoka n’ebintu ebikalu byonna poliisi yabiwamba era kati ebikozesa mu bukyamu.

Ssebo omulamuzi njagala poliisi etutegeeze kati omuzikiti gwaffe yagwezza kubanga yakuba ekkubo mu lugya lw’omuzikiti, tetumanyi oba n’ekifo kyennyini oba nakyo yakyezza”, Ssali mu bwennyamivu bwe yategeezezza omulamuzi.

Ssali yazzeemu okulumiriza poliisi nti yabateeka ku mudumu gw’emmundu n’okubakuba ng’ebakaka okukola sitatimenti nga bakkirizza emisango ate n’obujjanjabi teyabawa!Ssali avunaanibwa ne banne okuli Musa Abas Buwembo, Yusuf Lubega, Miiro Kato, Hussein Wasswa omutembeeyi.

Hajara Nakandi omusomesa, Ismail Bukenya ne Imaam w’omuzikiti gwa USAFI Mahad Kasaliita, baakomezeddwaawo eggulo mu kkooti ya Buganda Road okumanya okunoonyereza we kutuuse mu musango gwabwe. Bano baakwatibwa nga April 27, 2018, poliisi n’ebitongole ebikessi bwe byazinda omuzikiti gwa USAFI.

Ku mulundi guno abawawaabirWa tebaabadde ne balooya kyokka nga mu lutuula lwa kkooti olwayita balooya abasiraamu abeegattira mu kibiina kya “Uganda Moslem Association” beeyama okubawolereza era ne bategeeza nga bwe bagenda okuggula ku Gavumenti omusango olw’okutulugunya abasibe.

Wabula omulamuzi Robert Mukanza yabawadde amagezi bafune looya anaasobola okukola obulungi ku kwemulugunya kwabwe. Omulamuzi era yayongezzaayo ekibaluwa ekikwata Partick Kasaija (Pato) ali mu South Africa wadde ng’oludda oluwaabi terwategeezezza wa we lutuuse ne kaweefube w’okumukomyawo.

Kasaija nga waaluganda ku mugenzi Magara, kigambibwa nti ye yaluka olukwe lw’okumuwamba ng’alumika n’ebyali awaka ng’abitegeeza abatemu kigambibwa ne ssente obukadde 700 ezaasasulwa abatemu ye yasinga okugenda n’ekitundu ekinene.

Magara yawambibwa nga February 10, 2018, abatemu ne bamutta nga February 27, 2018 omulambo gwe ne bagusuula e Kigo ku lw’e Ntebe. Omusango guddamu nga July 12, 2018.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke

Lab2 220x290

Ssaalongo avunaaniddwa kutta mukazi...

Ssaalongo avunaaniddwa kutta mukazi we lwa ssente 40,000/-

Jip2 220x290

Oluvudde e Luzira n’addamu Sitalinyebwa...

Oluvudde e Luzira n’addamu Sitalinyebwa ne Mugalu ku okubba