TOP
  • Home
  • Agookya
  • Bambega ba ISO bazzeeyo we battira Kaweesi: Bazudde obujulizi obulala

Bambega ba ISO bazzeeyo we battira Kaweesi: Bazudde obujulizi obulala

By Musasi wa Bukedde

Added 30th June 2018

BAMBEGA ba ISO n’amagye bazzeeyo mu kifo we battira Kaweesi e Kulambiro ne bazuula obujulizi obulala obwongera okuluma abaserikale ba poliisi be baakutte mu by’okutta eyali omwogezi wa poliisi ne banne babiri.

95214152ugandapolice2 703x422

Abaserikale nga baggya musaayi we battira Kaweesi olunaku lwennyini lwe yattibwa

Ku Lwokuna okuva ku ssaawa 9:00 ez’emisana, bambega b’ekitongole ekiketta munda mu ggwanga (ISO) ne bambega b’ekitongole ky’amagye (CMI) baabadde mu kwekenneenya ekifo we battira Andrew Felix Kaweesi era baamazeewo essaawa ezisukka mu nnya nga bakung’aanya obujulizi.

Mu kugenda e Kulambiro we battira Kaweesi, aba ISO baatutte omu ku bajulizi be balina n’abamu ku basibe okubalaga engeri obutemu gye bwategekebwa ne gye bwakolebwamu.

Omu ku bambega mu ISO yategeezezza Bukedde nti kye baakoze kwe kuddamu okusiiga ekifaananyi ky’ebyaliwo mu butemu n’engeri gye bwakolebwamu mu lungereza kye bayita “Scene reconstruction”.

Mbega ono ataayagadde kwatuukirizibwa yagambye nti oluvannyuma lw’okufuna abajulizi abawera n’okukwata abateeberezebwa okwenyigira mu butemu; baakirabye nga kyetaagisa okubazza mu kifo omusango we baaguddiza babasiigire ekifaananyi ky’ebyo ebyaliwo.

Yagasseeko nti bye baabaggyeemu kati bali mu kubigeraageranya n’ebyo bye baatadde mu siteetimenti ezaabaggyiddwaako ezaayingiziddwa mu fayiro ey’enjawulo ey’okutta Kaweesi ne banne okuli eyali omukuumi we Kenneth Erau ne ddereeva we Godfrey Mambewa. Battibwa ku Lwokutaano nga March 17, 2017 ku ssaawa nga 3:30 ez’oku makya.

Mu bye bagasse ne bikwatagana z’entambula z’abatemu n’oludda gye baava n’engeri gye baayimiriza Kaweesi, oluvannyuma ne bamukuba amasasi.

BAASEMBAYO KUTTA DDEREEVA WA KAWEESI

Okwawukanako n’ebyasooka okukung’aanyizibwa poliisi nga biraga nti abatemu baasooka kukuba mipiira, okunoonyereza kwa ISO kwalaze nti emipiira baagikuba luvannyuma okubuzaabuza abanoonyereza nga basiiga ekifaananyi ekiraga nti enzita efaanana eya Maj. Mohammed Kiggundu.

Mu kukuba omupiira amasasi era baali bagezaako okugootaanya obujulizi obwandisonze ku baaluka olukwe ne baluyingizaamu ne ddereeva eyayimiriza emmotoka; mpozzi n’okuggyawo akakwate ku bujulizi obulaga nti omuntu Kaweesi gwe yali amanyidde ddala, ye yayimiriza emmotoka era ne ddereeva n’ayimirira wakati mu kkubo; olwo amasasi ne gatandika.

Obujulizi bwe bakung’aanyizza bulaga nti amasasi gaatandikira ku mukuumi wa Kaweesi, olwo ate abalala abaali bazze ku luggi lwa Kaweesi nabo ne batandika okukuba era obujulizi bwe baggyeeyo bulaga nti ddereeva ye yasembayo okuttibwa.

Kino kyali kirukiddwa bulungi okutandikira ku mukuumi kubanga abatemu baali bakitegeddeko nti Kaweesi ali mu kwekengera era nga yali awadde omukuumi we ebiragiro eby’okubeera obulindaala singa baba balumbiddwa. Okukola obulumbaganyi emisana kyayamba abatemu kubanga omukuumi wamu ne Kaweesi yennyini baali tebasuubira bulumbaganyi bwonna misana era omukuumi baamugwako nga n’emmundu emuli wala; era amasasi ne bagamukuba ng’agezaako okugiggyayo abang’ange.

“Bino byebimu ku bintu ebitono ebibadde bikyabulayo okumaliriza fayiro ya Kaweesi ekibinja ekyokubiri ffe kye twakutte kigende mu kkooti.” Ensonda mu ISO bwe zaategeezezza.

Kaweesi we baamukubira amasasi, weesudde mmita ntono nnyo okuva amaka ga Kaweesi we gali era bambega basookedde ku maka ga Kaweesi awagambibwa nti omu ku bateeberezebwa okubeera mu lukwe Abel Kitagenda, we yasookera ku ssaawa nga 2:00 ez’oku makya n’akolera omu ku bakuuma amaka ga Kaweesi akabonero ng’amulaga nti obudde. Kigambibwa nti, Kitagenda yasitula omukono gwa kkono mu bbanga n’akozesa olumu ku ngalo ku mukono ogwa ddyo n’alukuba mu kiseke awasibirwa essaawa ng’alaga omu ku bakuuma amaka ga Kaweesi nti, “obudde bwali bugenze”. Omukuumi kigambibwa nti, yamuddamu ng’amugumya nti byonna bijja kuba bulungi.

ABAALI ABA KUUMI BA KAWEE SI BABUUL IRIZIBWAKO;

Kaweesi, awaka yalinawo abakuumi babiri okuli eyategeerekekako erya Kayitare n’omulala. Bano kigambibwa nti, omu ku bbo yandiba nga yamanya ku lukwe lw’okutta mukama we era omu ku batemu alowoozebwa nti yali Kitagenda, gwe yakolera akabonero.

Okusinziira ku nsonda mu ISO, abakuumi ba Kaweesi nabo baabafunye babayambeko mu kunoonyereza. Kino kiddiridde okuddayo e Kulambiro ne beetegereza engeri olukwe gye lwalukibwa ne bwe baalutuukiriza.

“Twagala batunnyonnyole lwaki omu ku batemu yali abagamba okukuuma obudde.” Ensonda bwe zaategeezezza.

MMOTOKA EYAL I EKANIKIBWA, ANI YA GIBUZAAWO!!

Mu kiseera we baakubira Kaweesi amasasi, waaliwo emmotoka kika kya Toyota Harrier eyaliko ennamba z’e Kenya eyali ekanikibwa omuvubuka eyategerekekako erya Mukwasi (yattibwa oluvannyuma wansi) ne munne ali mu mikono gy’abeebyokwerinda. Mmotoka ono, poliisi yagitwala ng’ekimu ku bizibiti mu musango guno.

Nnanyini mmotoka yakanda kulaajana nti emmotoka yali yafudde ggulolimu terina kakwate ku butemu nga mpaawo amuwuliriza.

Okusinziira ku nsonda mu ISO, abatemu bwe baamanya nti nnannyini mmotoka eyali munnansi wa Kenya ayinza okubalandukirako, kwe kutandika okumuyigga bamutte.

Ono bwe yamanya nti bapanze okumutta ate nga n’olukwe lulimu boofiisa ba poliisi, yadduka n’addayo e Kenya eby’emmotoka n’abivaako.

Munnakenya okudduka yali amaze okutegeezebwa nti makanika Mukwasi, abatemu baali bamulondodde ne bamusalako omutwe mu ngeri ey’entiisa era ne bamulabula nti bw’anaasigala mu Uganda ayinza okugoberera Mukwasi.

Mu kiseera kino emmotoka temanyiddwako mayitire ne mu bitabo bya poliisi ku bizibiti bye baazuula mu kifo we battira Kaweesi teyawandiikibwamu.

“Twakwataganye ne nnannyini mmotoka naatuwereza ebiwandiiko byayo, twagala bannyonnyole (abaakwatiddwa) emmotoka gye baagiteeka.” Ensonda bwe zaategeezezza.

Okukwata boofiisa ba poliisi n’okubafunako obujulizi ku bya Kaweesi, amagye gasooka kukwata omuserikale wa Flying Squad, Abel Kitagenda era mu kiseera we battira Kaweesi, Kitagenda ye yali akulira Flying Squad mu Kampala North ng’atuula Kawempe.

Oluvannyuma baakwata boofiisa abalala okuli Herbert Muhangi eyali aduumira Flying Squad mu ggwanga.

Abalala abaakwatibwa kuliko, Moses Kasibante, Martin Kimbowa agambibwa nti ye yavuga emu ku pikipiki z’abatemu, Col. Ndahura Atwoki ne Richard Ndabwoine eyali akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango obwekuusa ku yintanenti ne kompyuta.

Bamakanika ababiri olwawulira nti poliisi yali etaddewo obukadde 100 eri ayinza okugiwa amawulire ku batemu, baasalawo okugenda ku kitebe kya poliisi e Naggulu baweeyo amawulire.

Bano ssente baali beekakasa nti bagenda kuzirya era ne balaba n’omu ku bakulu n’abakwasa omuserikale Silas abawe obukuumi wabula kyababuukako ate bwe byabakyukira ne batandika okubatulugunya. Silas yabatwala mu wooteeri emu e Nakulabye gye baabatulugunyiriza.

Nti abaabatulugunyanga baabakwatanga ne bateeka amazzi mu bbaafu ne bateeka waya ku bbaatule ne bazisuula mu mazzi.

Amasannyalaze ga bbaatule, gaabakubanga nga gayita mu bigere era byonna ne bizimba n’okusiriira.

Mukwasi bwe yafuna omwagaanya, yeemulula n’adduka kyokka munne ne bamusigaza.

Okusinziira ku nsonda okuva mu CMI, omuntu bw’omukubya amasannyalaze nga gayita mu bigere, gagenda butereevu ne gatuuka ku bwongo era bwe kitwala ebbanga, omuntu awunga ne yeerabira buli kimu.

Kigambibwa nti kino nakyo kyakolwa mu bugenderevu okutta obujulizi bw’abavubuka bano era Mukwasi bwe yadduka baamulondoola ne bakakasa nti attibwa.

“Silas ne banne be yali nabo balina okunnyonnyola lwaki baatulugunya abajulizi abakulu mu musango guno, omu n’atuuka n’okuttibwa,” ensonda bwe zaategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda