TOP
  • Home
  • Agookya
  • Bba wa Sharita omupya yaakanjulwa abakyala basatu

Bba wa Sharita omupya yaakanjulwa abakyala basatu

By Martin Ndijjo

Added 1st July 2018

OMUSAJJA Sharita gwe yafunye yaakanjulwa abakazi abalala basatu! Nga tannaba kufuna Sharita, yasoose kugugulana n’omu ku bakyala be ng’omukazi amulumiriza okubeera omufere.

Bana 703x422

Omulangira Kayondo Musanje ne Pasita Joy Kihuguru ku mukolo gwabwe ogw’okwanjula. Ku ddyo, Nisha ne Kayondo mu biseera byabwe ebyeddembe.

Musajja ayogera mpolampola era mu kweyanjula amannya agasengeka bw’ati: Omulangira Noah Kayondo Musanje omutuuze e Chicago mu Amerika.

Wadde yeeyanjula ng’Omulangira, mu Pasipooti ye akozesa mannya ga Noah Bukenya.

Joy Kihuguru y’omu ku bakyala abaayanjula Kayondo mu bazadde era omukolo gw’okwanjula baagukola nga December 23, 2015 e Makerere mu Kampala.

Joy naye yali akola ku ttivvi wabula kati Paasita mu Kkanisa eyitibwa Soaring with Eagles Ministries mu Kampala.

Joy agamba nti Kayondo takoma ku kubeera mufere wa laavu wabula n’ensimbi azifera era agamba nti baagenze okwawukana ng’ensimbi Kayondo z’amuliddeko mpitirivu.

Yalabudde Sharita nti okwewala obutejjusa mu maaso, talina kwesembereza musajja ono ku ssente kubanga “asobola okukuteekamu akakadde kamu, naye ng’abala kukunyaga obukadde 50”.

Sharita okufuna Kayondo yamala kwawukana ne bba ow’empeta Richard Jude Mutaawe mu 2016 era omukazi n’agenda mu kkooti e Nakawa ng’asaba ebaawukanye era emuwe n’olukusa olusigaza abaana.

Eyali amanyiddwa ennyo nga Sharita Mutaawe aweereza pulogulaamu z’okwanjula n’embaga ku Ttivvi, awo n’akyuka ne yeggyako erya Mutaawe n’addayo ku mannya ge aga Sharita Namusoke Mazzimawanvu.

Sharita yakyazizza Kayondo ewa Ssenga we e Nalubabwe mu Mukono era oluvannyuma ne bagendako e Dubai okuwummulako.

Sharita oluvannyuma yatadde obubaka ku mukutu gwa Facebook nga yeebaza Katonda olw’okufuna omwami omutuufu, wabula ebifaananyi ebiraga ‘feesi’ y’omusajja teyabitaddeko.

Yagambye nti omusajja we ayagala amukuume nga wa kyama okutuusa ku kwanjula okusuubirwa okubeerawo ku nkomerero y’omwezi guno. Tekimanyiddwa oba Sharita yategeddeko nti ye mukazi owookuna okwanjula Kayondo mu bazadde.

Nga Kayondo tannaba kwanjulwa Joy, waliwo abakazi abalala babiri abaamwanjula nga kuno kuliko abeera mu Uganda n’omulala ali e Chicago mu Amerika.

Nisha Katusabe ye mukazi Kayondo gwe yasooka, oluvannyuma n’ayanjulwa Aisha Katalema.

Bano bombi akyabalina era Nisha abeera mu Uganda ate Aisha ali mu Amerika.

Wabula kigambibwa nti ng’oggyeeko abakazi abaamwanjula, waliwo abakazi abalala b’abadde acanga okuli Dorris enzaalwa y’e Malawi wabula ng’abeera mu Amerika kw’ossa n’omuwala omulala eyeeyita Dianne Dean era ono yatadde n’obubaka ku Facebook nga yeekokkola Kayondo era ng’amaliriza akolima nti kasita naye azadde abaana abawala nabo balibayisa mu mbeera yeemu gy’ayisaamu abawala omuli ne b’atuuse okuzaala.

Joy mu kwogera ne Bukedde yagambye nti Kayondo yasooka kumutuukirira ng’amugamba nti alina ettaka lye yaguze kyokka lirimu ebizibu era ayagala amutwaleyo balisabire wabula gye byakkira ng’amusabye okumuwasa.

Ng’emikolo gy’okwanjula gituuse, nti Kayondo yatandika okussaawo obukwakkulizo era Joy okwewala okuswala, n’akwata obukadde 8 n’aziweereza Kayondo zikole ku bya tiketi.

Yagenda mu maaso n’okumufera ensimbi okutuusa lwe baayawukana. Wabula mu maloboozi Kayondo ge yatadde ku yintaneti yagambye nti yaweerezanga Joy ssente nyingi era ng’azissa mu mirimu gy’ekkanisa wabula nga talaga nsaasaanya nnambulukufu era baafuna obutakkaanya oluvannyuma ne baawukana.

Joy agamba nti ekyasinga okumutabula, ye Kayondo okumutegeeza nti talina mukazi yenna mu bulamu bwe ate oluvannyuma n’akizuula nti alina abakazi abalala babiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...

Ssengalogo 220x290

Lwaki saagala kwegatta?

NNINA ekizibu saagala kwegatta na musajja yenna. Mu kusooka nnali ntya siriimu naye kaati ntya abasajja saagala...

Ssengalogo 220x290

Mukyala muto alumba omukulu

SSENGA nnina bakyala ababiri, naye omukyala omuto alina ekizibu nti ayagala nnyo okulumba munne ate nga nabagamba...