Omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire yakakasizza eky’amagye okusimba Atwoki mu kkooti esookerwako eya Unit Disciplinary Committee (UDC) wabula teyasobodde kulambulula bisingawo ku musango gwamuvunaaniddwa.
Omusango ogwamugguddwaako, gukontana n’ennyingo 166 ey’etteeka erifuga amagye erya 2005. Ensonda okuva e Mbuya zaategeezezza nti, Atwoki alina emisango emirala egigenda okwongerwa ku fayiro ye oluvannyuma.
Atwoki yakwatibwa aba CMI wiiki bbiri eziyise okuva e Masindi gye yali yasindikibwa n’atwalibwa e Mbuya gye baamuggya okumutwala e Makindye gy’abadde akuumirwa.
Yakwatibwa oluvannyuma lw’okukwata eyali mukama we mu poliisi, Gen. Kale Kayihura ku bigambibwa nti, balina kye bamanyi ku by’okuttibwa kw’eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi.
Kaweesi, yattibwa March 17, 2017 e Kulambiro n’omukuumi we Kenneth Erau awamu ne ddereeva Godfrey Mambewa.
Atwoki ku Lwokutaano yasimbiddwa mu maaso ga Col. Tom Kabuye ssentebe wa UDC eyamusomedde omusango oluvannyuma n’amusindika mu nkambi y’amagye e Makindye gy’aba aggalirwa okutuusa nga July 13, 2018.
Okutwalibwa mu kkooti, kiddiridde omulamuzi wa kkooti enkulu, Musa Ssekaana okuyisa ekiragiro okuyimbula Atwoki oba okumutwala mu kkooti mu bwangu.
Kino kyaddirira muka Atwoki, Sarah Ndahura okwekubira omulanga mu kkooti ku ngeri bba gye yali yakwatibwamu n’aggalirwa mu kifo we batabakkiriza kutuuka ng’ayita mu looya waabwe Evans Ochieng.
Abalala abaakwatibwa mu misango gye gimu ne Atwoki kuliko Herbert Muhangi eyali omuduumizi wa Flying Squad, Richard Ndabwoine eyali akulira okunoonyereza ku misango egizzibwa ku yintanenti.
Abalala ye Martin Kimbowa agambibwa nti ye yavuga emu ku pikipiki ezaatambuza abatemu, Moses Kasibante, Abel Kitagenda eyasooka okukwatibwa, ono yali muduumizi wa Flying Squad mu Kampala North, Hassan Mutyaba ne Chris Ahimbisibwe.
Kigambibwa nti, Atwoki ye yayiiya buli kintu kye baawa abajulizi mu gwa Kaweesi kye balina okwogera mu kkooti n’abasibe abaali bakooye okutulugunyizibwa, ye yabawa ebyokwogera singa baba batuuse mu maaso g’omulamuzi.
Owa Poliisi akwatiddwa n'essimu ya Felix Kaweesi