TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ebipya ku batta Kaweesi: ISO ezudde bye baayogera ku ssimu

Ebipya ku batta Kaweesi: ISO ezudde bye baayogera ku ssimu

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2018

ABATEMU bwe baamala okukuba Andrew Felix Kaweesi amasasi, omu ku bbo aliko essimu gye yakuba n’agamba “Afande omulimu guwedde”. Afande awulikika ng’ayanukula mu Lungereza: ‘you mean Kaweesi is done-thank you’ (ky’otegeeza Kaweesi awedde-weebale).

Kaweesi703422 703x422

Omugenzi Kaweesi

Amaloboozi gano gazuuliddwa bambega ba ISO ne CMI abanoonyereza ku kutemula Kaweesi okwaliwo nga March 17, 2017 e Kulambiro okumpi n’amaka ge. Kaweesi yattibwa ne ddereeva we Godfrey Mambewa n’omukummi we Kenneth Erau.

Aba ISO, obujulizi bwe baakazuula kuliko okulondoola amasimu agaakubwa ku lunaku Kaweesi lwe yatemulwa.

Obujulizi bulaga ng’abamu ku bofi isa ba poliisi baliko amasimu ge baakuba eggulo limu ku Lwokuna olwo Kaweesi n’attibwa ku Lwokutaano. Era waliwo amasimu boofiisa ge baayogererako n’abaserikale okuli aba Flying Squad.

Ku lunaku Kaweesi lwe yattibwa, obujulizi bulaga nga bofi isa baayogera n’abagambibwa okuba abatemu era obujulizi bulaga nga beekubira emirundi 31.

Kyokka ebyayogerwa ku masimu gano tebinnazuuka- ISO esinze kufuna nnamba z’amasimu n’olukalala lw’amasimu agaakubwa. Kyokka amaloboozi ge balina basinze kugaggya ku ssimu ya Kaweesi yennyini.

Mu kimu ku bintu ebikulu abatemu bye baabuusa amaaso nga bonoona obujulizi, tebajjukira kutunula ku ssimu ya Kaweesi.

Yakubwa amasasi ng’agyogererako kyokka yasigala kweri okutuusa lwe yaggwaako omuliro.

Bwetyo yakwata amaloboozi g’ebyaliwo ng’attibwa ate abatemu baagenda nayo n’egenda ng’emirongooti gigisoma.

Emirongooti giraga nti essimu yali yatambuzibwa okuva e Kulambiro ne bagenda nayo e Kisaasi we baava okuyita e Kyanja ne bagwa e Kitetikka ku lw’e Gayaza we bookera embuzi.

Bwe baava awo baavuga boolekedde Kampala ne bayita e Mpererwe, Kanyanya we baawetera okuyita ku ssomero lya Quality ne ku Bahai e Kikaaya ne bagguka ku nkulungo ya Kisaasi Bukoto ne basala ne baddayo e Kulambiro.

Essimu ya Kaweesi era yakwata amaloboozi g’abatemu mu kiseera kye baamala nga batambula nayo.

Essimu yakwata amaloboozi okuli ery’omutemu ng’ayogera ne gwe yayita Afande ng’amubuulira misoni bw’egenze.

Essimu era eraga amaloboozi g’aboogera Oluganda n’Oluswayiri nga bagamba amasasi ge mukubye tegamala mubongere amalala.

Kino kirabika kye kyavaako Kaweesi ne banne okubakuba amasasi 153. Amaloboozi gakwatagana n’obujulizi bw’abavubuka bamakanika babiri abaali mu mmotoka eyali efi iridde ku kkubo okumpi ne we battira Kaweesi. Bano baakuba ebifaananyi bya byonna ebyaliwo era ebifaananyi ebyakwatibwa ku ssimu biraga abatemu.

Abavubuka bano baatwala obujulizi ku kitebe kya poliisi e Naguru oluvannyuma lwa Gen. Kale Kayihura okussaawo ekirabo kya bukadde 100 eri oyo yenna anaawa amawulire okukwata abatemu.

Kyokka abavubuka poliisi yabeefuulira n’ebatulugunya. Omu ali mu mikono gya ISO ng’omujulizi ate omulala Mukwasi yasalwako obulago omulambo ne gusuulibwa e Masaka.

Amaloboozi gassa abamu ku banene mu poliisi mu kattu okunnyonnyola engeri gye baakwatamu ebintu bya Kaweesi.

Okugeza SSP Nixon Agasirwe eyali akulira ebikwekweto bya poliisi (Special Operations) emirongooti gimulaga nga yali ayogerera Ntinda kyokka nga yali ateekeddwa kubeera mu ttendekero ly’abaserikale e Bwebajja.

Oluvannyuma lw’eddakiika 45, nga Kaweesi attiddwa yali amaze okutuuka awaali obutemu.

Ofiisa omulala ACP Jonathan Baroza eyali omuyambi wa Kayihura kyewuunyisa engeri gye yeenyigira mu buli kintu.

Abakugu abakung’aanya n’okwekenneenya ebizibiti aba Forensic Experts bwe baatuuka awattiddwa Kaweesi, olwo Baroza naye yali yatuuse dda ng’ayambadde ebyambalo by’abakugu abo era ne yeenyigira mu buli kintu kye baakola nga naye alinga omukugu.

Baroza bwe waayita wiiki ssatu nga Kaweesi amaze okutemulwa, eyali mukama we mu kiseera ekyo, Gen. Kale Kayihura yamusindika ku kitebe kya Uganda mu Algeria.

Yali atandise okusongebwamu olunwe nti yandiba nga yalina ky’amanyi ku kutemulwa kwa Kaweesi.

Okunoonyereza okupya bwe kwatandika, Baroza y’omu ku bantu abaasooka okulowoozebwako okukwatibwa bakole sitatimenti ne bambega ba CMI ne basindikibwa mu Algiers gye yali abeera bamukomyewo kuno kyokka baasanga adduse.

Kigambibwa nti, yaddukira Turkey. Bambega bakola buli ekisoboka okumukwata akomezebwewo kuno avunaanibwe ne banne.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Twala3 220x290

Aba UPDF balaze ebifo bye baakasuuza...

AMAGYE ga UPDF galaze ebifo ebyali eby’omutawaana bye baakasuuza abakambwe ba Al Shabab, gye baasinziiranga okulumba...

Unity 220x290

Ab’e Buvuma batutte NFA mu kkooti...

ABATUUZE abasoba mu 300 okuva mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Buwooya mu disitulikiti y’e Buvuma batutte...

Kalekayihuraindeepthoughts 220x290

Abaserikale batulugunya batya abantu...

AMERIKA olwatadde ekkoligo ku Kayihura, n’atandikirawo okulaajana nti: Baagala kunzita, baagala kunsaanyaawo….....

Nyiiga 220x290

Poliisi esuuzizza ababbi ente gye...

ABASERIKALE ba poliisi ennawunyi basuuzizza ababbi mmotoka y’ekika kya Ipsum nnamba UAT 194J mwe baabadde batambuliza...

Noda 220x290

Mmotoka ya Kitatta nayo eri ku...

ABDALLAH Kitatta we yabeerera omuyima wa Bodaboda 2010, alina abantu naddala aba bodaboda be yanyiiza ne be yakoleranga...