TOP
  • Home
  • Agawano
  • Okujjuza ekifo kya Abiriga kwa August 15

Okujjuza ekifo kya Abiriga kwa August 15

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2018

AKAKIIKO k’ebyokulonda kataddewo olunaku lwa August 15 okulonderako okujjuza ekifo ky’omubaka wa munisipaali ya Arua.

Abirigayellow703422 703x422

Omugenzi Abiriga

Kino kiddiridde eyali omubaka wa munisipaali eno mu Palamenti, Ibrahim Abiriga okutemulwa ku ntandikwa y’omwezi guno.

Akulira akakiiko k’ebyokulonda, omulamuzi Simon Byabakama yasinzidde mu lukuhhaana lwa bannamawulire ku Lwokuna ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda e Kampala n’alambulula enteekateeka zino.

Byabakama yategeezezza nti okuva nga July 5 okutuuka nga July 9, wagenda kubaawo okwekenneenya enkalala z’abalonzi n’okuzizza obuggya n’okuwandiisa abalonzi abapya.

Yategeezezza nti nga July 9 lwa kuwandiisa abagenda okwetaba mu kulonda.

Nga July 11 okutuuka 12, akakiiko kagenda kuteekawo abakungu okwekenneenya enkalala z’abalonzi olwo zitimbibwe ku kitebe ky’akulira eby’okulonda mu disituliti ye Arua ne ku kitebe kya munisipaali ye Arua nga kino kyakukomekkerezebwa nga July 17.

Akakiiko kagenda kuteekawo okutendeka abagenda okukulemberamu okulondesa nga July 16 okutuuka 17 olwo nga July 18 okutuuka 27, enkalala z’abalonzi zitwalibwe mu buli kifo awagenda okulondebwa mu munisipaali.

Okwewandiisa kw’abagenda okuvuganya ku kifo kino kwa nga July 19 ne 20 olwo akakiiko keekebejje empapula z’abeesimbyewo okutuusa nga July 23 omwaka guno olwo okunoonya akalulu kutandike nga July 23 okutuuka August 13.

Okulonda kwa August 15 omwaka guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye