TOP

Ensonga za Kayihura zizzeemu akasattiro

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd July 2018

Ensonga za Kayihura zizzeemu akasattiro

Ka1 703x422

Kayihura

AKASATTIRO keeyongedde mu bya Gen Kale Kayihura. Wadde enteekateeka z’okumuggulako emisango zigenda mu maaso, waliwo n’abamulwanirira okuva mu kkomera oba okumuggya e Makindye akuumirwe mu maka ge e Muyenga.

Abalala bakola ekisoboka okulaba ng’azzibwa e Kololo, mu kifo kya bofiisa b’amagye ab’amaddaala aga waggulu. Eno amagye gye gaakuumira Henry Tumukunde mu kiseera we yassibwako emisango gy’okusaasaanya amawulire ag’obulabe eri ebyokwerinda kw’eggwanga.

Kayihura yakwatibwa omwezi oguwedde n’aggalirwa mu nkambi y’amagye e Makindye. Ensonda zaategeezezza nti amagye we gaakwatira Kayihura gaali gamaze okukwata basajja be nga kyali kirowoozebwa nti emisango gyabwe gitwaliramu ne Kayihura.

Abaakwatibwa kuliko abavunaanibwa okubaako kye bamanyi ku kutemula Andrew Felix Kaweesi. Bano kuliko ACP Herbert Muhangi, Abbey Kitagenda, Chris Ahimbisibwe, Moses Kasiba ne Martin Kimbowa.

Ate abaakwatibwa ku bya Abanyarwanda kuliko SPC Faisal Katende, SSP Richard Ndaboine, SSP Nixon Agasirwe, SSP Joel Aguma, ASP Magada, SP Jafar Magyezi abadde aduumira Poliisi e Mbarara) ne IP Peter Ayebare.

Kyokka waliwo bofiisa abaakwatibwa ku bigambibwa nti baakwata abanoonyi b’obubudamu Abanyarwanda ne babaddiza Paul Kagame era abamu ne battibwa. Bano baggulwako emisango mu kkooti y’amagye, nga kigambibwa nti baakolera ku biragiro bya Kayihura.

Kyokka ensonda zaagambye nti Kayihura abadde mukalubo nnyo mu nsonga zino era ebintu ebisinga ebimubuuzibwa ajuliza bofiisa abaakwatibwa be baba bannyonnyola bye baakola kubanga ebyo bwe baba babimanyi baabikola ku lwabwe.

Kigambibwa nti abawi b’amagezi ba Kayihura era be baasalawo okweggyako balooya ba Caleb Alaka kubanga baali bamaze okupangisibwa okuwolereza basajja ba Kayihura okuli Nixon Agasirwe abali ku gw’okuzzaayo abanoonyi b’obubudamu e Rwanda.

Balooya abo baali batandise okussaawo embeera ewaliriza okwanguyaako Kayihura okumuvunaana mu kkooti y’amagye. Kyokka abawi b’amagezi eri Kayihura ne bawabula nti Balooya abo, Caleb Alaka balina okubazza ku bbali kubanga bawolereza Nixon Agasirwe, ate ng’obujulizi bwe baagala okukozesa okulumiriza Kayihura buva mu misango gya Agasirwe.

Gye buvuddeko, muka Kayihura, Angella Kayihura yavaayo ne yegaana bannamateeka ba Caleb Alaka ne Evans Ochieng nti tebabamanyi. Era wano Angella kwe kutegeeza nti, bannamateeka ba Associated Advocates (KAA) abakulirwa eyaliko omuwaabi w’emisango gya Gavumenti, Peter Kabatsi, be bawoloreza Kayihura. Kayihura yakwatibwa June,13, 2018. Amagye gaamunona mu nnyonyi e Lyan nga gakulirwa Lt. Gen. Wilson Mbadi.

Kigambibwa nti waliwo n’ebikonge ebituukiridde Museveni nga bimusaba asonyiwe Kayihura olw’emirimu gy’azze akola okuli okunafuya abooludda oluvuganya n’okukulira ttiimu eteri ntongole eyakola ennyo mu kalulu ka 2016. Kyategeezeddwa nti waliwo n’abawakanya okupapira ensonga za Rwanda nga bagamba nti emisango bwe ginaatandika ensi yonna ejja kussa amaaso ku Uganda ekiyinza okuleetawo obuzibu wakati w’enkolagana y’amawanga gombi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu