TOP

Bba wa Sharita omupya awanze omuliro

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd July 2018

Bba wa Sharita omupya awanze omuliro

Fuk1 703x422

Sharita Mazzimawanvu

OMUSAJJA omupya Sharita Mazzimawanvu gwe yafunye addiza abakazi be yasooka okwanjula omuliro. Omulangira Noah Kayondo Musanje mu kiseera kino ng’ali Chicago mu Amerika gy’abeera alabudde abakazi be yaleseewo okumwesonyiwa n’obutayingira laavu ye empya.

Bano abawadde amagezi nti baddembe nabo okufuna ababeezi abalala mu kifo ky’okumwonoonera erinnya. “Abantu abamu ne bw’omukyawa takkiriza nti ddala laavu eweddewo era alwana waakiri okukwonoonera erinnya nga bano kye baliko kati. Nze sibalingiriza gye bali n’abasajja be balina kati nze bwemba nga nange nafuna omuntu wange buzibu ki obuliwo?

Kye baba bakola bakyuseemu mu mpisa zaabwe bajja kufuna abasajja awatali ekyo baakusigala nga bakaaba.” Kayondo yagasseeko nti “bagamba nti ndi mubi bwe kiba nga ddala bwe kiri nga bweboogera ate lwaki bakyankaabira n’okunsaba mbaddiremu?”

Okukakasa kino Kayondo yatulaze obubaka bw’oku ssimu abamu ku bakyala bano bwe bazze bamuweereza nga bamwegayirira okubaddiramu abalala nga bamutegeeza nga bbo bwe bakyamwagala kyokka Kayondo yagambye nti ebyabo byafuuka bikadde era obwedda aboogerako nga ba ‘EX’. Kayondo Bukedde gwe yayogedde naye ku ssimu okuvaayo bwati kiddiridde abakazi be yasooka okwagala nga tannaba kufuna Sharita aweereza pulogulaamu y’emikolo n’embaga ku Delta Tv era omukozi ku Super FM okumulumiriza okubeera omufere. Pasita Joy Kihuguru owa ‘Soaring with Eagles Ministries’ y’asinga okwekokkola omulangira Kayondo.

Yagambye nti teyakoma kumufera laavu wabula n’ensimbi era yagambye nti baagenze okwawukana ng’ensimbi Kayondo z’amuliddeko mpitirivu. Wabula Kayondo ku nsonga ya Kihuguru yagambye nti tamwagalangako okuggyako Kihuguru okumwegwanyiza era ku mu-kolo gw’okwanjula yamuyita nga mukwano gwe ajje amubeererewo mu kifo ky’omulenzi we abeera e Bungereza eyalemererwa okujja. “Nze Kihuguru yampita kuyimirirawo mu kifo ky’omulenzi we ataasobola kujja kumwanjula y’ensonga lwaki omukolo guno saateekamu yadde ennusu era y’ensonga lwaki namugamba okuggyayo ebifaananyi byange eby’omukolo bye yali atadde ku Facebook ye.

Yagasseeko nti teyandibadde Kihuguru kumuvuma kubanga ng’eyali omugoberezi we mu busumba (obuweereza) bw’akolera ku Facebook, buli mwezi yamuwagiranga ne 200,000/- oluvannyuma lwa Kihuguru okumutegeeza nti talina mulimu. Nga tannayanjulwa Kihuguru nga December 23, 2015 e Makerere mu Kampala, yasooka kwanjulwa Nisha Katushabe (Nisha Nansereko).

Alina omukyala mu Amerika, Aisha Katalema Bukenya (Bukenya lye linnya Kayondo lye yasooka okweyita) kyokka ono kigambibwa nti bali mu kkooti ebaawukanye). Abalala kuliko Dorris naye abeera mu Amerika enzaalwa y’e Malawi n’omulala ayitibwa Dianne Dean eyateeka obubaka ku Facebooknga yeekokkola Kayondo.

Ku Lwomukaaga waliwo ebifaananyi by’omuwala omulala eyategeereekeseeko erya Patricia ng’ali ne Kayondo ebyasaasaanye ku mukutu gwa facebook, wabula Kayondo bwe yabuuziddwa ku muwala ono yagambye nti ajja kuvaayo essaawa yonna atangaaze ku bimwogerwako.

Ate ku Sharita yasoose butaagala kubaako kyamwogerako ng’agamba nti tulinde ekiseera ekituufu, kyokka oluvannyuma yagambye nti “Sharita talina buzibu era ali mu ‘kiraasi’ yiye.

SHARITA NE BBA OMUPYA BEESISINKANA KU FACEBOOK

Omu ku mikwano gya Sharita ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza nti Kayondo yasooka kulaba bifaananyi bya Sharita ku Facebook y’omu ku bannyina era ono gwe yayitamu okumumupangira.

Baamala ekiseera nga bawuliziganya ku Facebook n’emikutu emirala oluvannyuma Kayondo ng’azze mu Kampala baasisinkana. Sharita yamuwa akwakwakkulizo ka kukyala mu kabadde be olwo akakase nti amwagala, Kayondo kye yakoze emyezi ebiri Nisha emabega.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...