TOP

Omukugu awabudde ku bubenje mu Uganda

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd July 2018

MUNNAYUGANDA omukugu mu kunoonyereza ku buzzi bw’emisango ng’asinziira Bungereza, Richard Musaazi agambye nti essaala tezigenda kumalawo kutokomoka kw’obulamu bwa Bannayuganda mu bubenje n’awa gavumenti amagezi okutema empenda ezitegeerekeka okubulwanyisa.

Musaazijpgphoto 703x422

Richard Musaazi

Okwogera bino kiddiridde minisitule y’ebyetambula mu Uganda okutegeeza nga Bannayuganda  ababalirirwa mu 9,500 be baafiira mu bubenje wakati w’omwaka 2015 ne 2017.

Musaazi yategeezezza engeri gye watali lipooti eva wa Katonda eraga nti obubenje bukoleddwaako, kibi okwesiba ku ssaala zokkka ng’abantu balowooza nti ze zigenda okubumalawo. obubenje.

Yagambye nti ebimu ku bintu ebivaako obubenje mu Uganda bimanyiddwa bulungi nga kuliko ebidduka ebiri mu mbeera embi, baddereeva abavuga nga batamidde n’okuvuga endiima, obukoowu  kyokka ng’obusinga buva ku nsobi ezikolebwa baddereeva n’abantu ababubeeramu.

Yategeezezza  nti ng’oggyeeko abantu okuyamba, okwekubagiza okubaawo mu kiseera obubenje we bugwiirawo ne poliisi okwogera, tewali kinene kikoleddwa kubulwanyisa.

Yasabye abasabaze okutandika okutabukira baddereeva abavuga mu ngeri eyinza okuteeka obulamu bwabwe mu matigga.

Musaazi era yategeezezza nti Gavumenti erina okulwanyisa baddereeva ab’ekibogwe abavuga mmotoka olw’obutayita mitendera mituufu nga batendekebwa ne baweebwa pamiti nga tebasaanidde, abantu abavuga mmotoka nga balwadde naddala amaaso n’okukubiriza abatambuza ebigere okuba abegendereza.

Obuzibu obulala buva ku nguudo mbi ezitaliiko bubonero bulagirira bagoba n’ezimu ezijjudde ebinnya.

Yawadde amagezi wabeewo enkyukakyuka mu ntendeka y’aba ddereeva n’engeri pamiti ze zigabibwamu.

Yategeezezza nti wadde abaserikale ba ttulafiki bangi ku nguudo, kino  tekiyambye kukendeeza bubenje kuba abasinga essira balissa ku ‘’kulya nguzi’’ mu kifo ky’okukaka baddereeva okutuukiriza amateeka g’ebiduuka.

‘’Ky’ekiseera omuwendo gw’abaserikale abali ku nguudo gulage omugaso gwabwe ng’obubenje era n’abakozesa enguudo ng’abatambuza ebigere,abavuga obugaali  n’abalala bavunaanibwe olw’ebikolwa ebivaako obubenje.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.