TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri ebbula ly'abasomesa gye likosezza eby'enjigiriza

Engeri ebbula ly'abasomesa gye likosezza eby'enjigiriza

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd July 2018

Engeri ebbula ly'abasomesa gye likosezza eby'enjigiriza

Sub1 703x422

Abayizi nga basoma.

EBIMU ku bizibu ebisumbuwa amasomero ga siniya ensangi zino bwe butaba na basomesa bamala mu masomo ga ssaayansi n’Olungereza. Amasomero ka gabe ga gavumenti oba ga bwannannyini naddala ag’omu byalo ge gasinga okusanga obuzibu bw’abasomesa abatono.

Mu masomero ga Gavumenti mulimu abaweebwa abasomesa abataweza wadde kimu kya kuna ku be baba beetaaga, kye bagamba nti kigootaanyizza ebyenjigiriza mu masomero gaabwe.

Beesanga nti abo abaliwo bababinika eby’okukola bingi ne bakoowa ne balemererwa okusomesa bulungi.Ebizibu ebireetebwa ebbula ly’abasomesa Samuel Busuulwa, munnabyanjigiriza eyakulirako essomero lya King’s College Budo yagambye nti obuzibu buno businga kuva ku Gavumenti kuteekawo omuwendo gw’abasomesa ku mutendera gwa O’Level mu siniya nga balina okusomesa amasomo agatakka wansi wa 24 wiiki, ate ab’omutendera gwa Haaya balina kusomesa agatakka wansi wa 18 wiiki.

Kitegeeza bano baba baweereeddwa obudde obumala okutegekeramu ebisomesebwa n’okusomesa obulungi abayizi. Naye ssinga baba batono, kitegeeza bajja kubinikibwa emirimu mingi baleme okufuna obudde okukwata ku buli muyizi n’okukeberako mu bitabo byabwe okulaba engeri gye bayizeemu.

Abayizi okugwa, olw’okuba abasomesa bano bakozesebwa nnyo bakoowa ne beesanga nga tebatuukirizza bulungi mirimu gyabwe. Omujjuzo gw’abayizi mu bibiina; kubanga tewaliiwo basomesa bamala kizibu amasomero okwawuzaamu abayizi mu bibiina kubanga tewali basomesa bamala kubasomesa nakyo kitaataaganya ensoma y’abayizi.

Omutindo okukendeera; Abayizi mu masomero agataliimu basomesa bamala n’abamasomero agalina abasomesa abajjuvu kuba bano tebafuna bulungi kye balina kufuna. Enkulaakulana ekendeera; olw’okuba ssente ezandikoze ku kukulaakulanya amasomero gagenda kupangisa basomesa.

Geesanga nga tegongedde ku nkulaakulana yaago. Basomesa muwawa kubanga batono ate nga bafuba okusomesa okumalayo bye balina okusomesa mu budde kale ne batafaayo nnyo ku kutegeera kw’abayizi. Mu masomero agamu tebafaayo kunoonya basomesa balina bakugu kubanga tebalina ssente.

kino kireetera abayizi okwesomesa ekivaako oluusi okugwa ebigezo. Busuulwa yagambye nti enkola y’obukiiko bwa PTA esaana eddewo mu masomero. Bano bayamba ku bizibu by’amasomero ng’ebyo ne gavumenti netakaluubirirwa. Wabula kiri nti gavumenti efuba, naye teyinza kumalawo bizibu by’amasomero byonna.

Ekirungi wadde yali egaanyi obukiiko bwa PTA, naye yamala n’ekolamu ennongoosereza nti, PTA by’eyagala okukola birina kusookanga kugenda mu kakiiko k’essomero akafuzi aka Board of Governors (B.O.G), ate nayo bw’emala okubiyisa ne bitwalibwa mu minisitule y’ebyenjigiriza okuluhhamizibwa. kale busaana buzzibwemu amaanyi bwakuyamba kinene.

Abasomesa kye boogera Hajji Sulaiman Kafeero, akulira essomero lya Bukandula Mixed SS e Gomba; Nnina abayizi bangi nga nneetaaga abasomesa 46 okulaba nti ddala nzigumidde mu by’ensomesa.

wabula ku bano gavumenti yampaako abasomesa 13 b’esasulira, naye ku bano tekuli musomesa wa lungereza. Nnina okwefubako okunoonya abasomesa 33 okunnyikiza ebyensomesa mu ssomero, embeera eno ssi nnyangu kuba abazadde eno mu byalo bamanyi nti gavumenti ekola ku buli kimu, kizibu okubasaba ssente nti za kunoonyayo basomesa be tutalina.

Buli ttaamu nsaasaanya 17,500,000/- okupangisa abasomesa abannyambako okusomesa abayizi ku ezo obukadde 20 ezisasulirwa abayizi gavumenti, zino ze ssente ezimpeebwa ku buli muyizi ate nga nazo baazikendeeza, omuyizi eyali afuna 41,000/- mu 2007, kati bamusasulira 35,000/-.

Twesanga nti ssente ezandikoze ku nkulaakulana y’essomero ate tuzizza mu kupangisa basomesa kuba be tulina tebamala. Tusaba gavumenti etwongere Ebizibu ebiva ku bbula ly’abasomesa abasomesa kuba tubeetaaga ate gye bali eyo bangi kyetaagisa gavumenti kubayita n’ebawa emirimu.

Abakungu mu byenjigiriza Frances Atima, amyuka kaminsona mu kitongole kya Directorate of Education Standards mu minisitule y’ebyenjigiriza agamba; Minisitule tukimanyi nti waliwo ebbula ly’abasomesa mu masomero ga Gavumenti era tulwana okukimalawo.

Gavumenti etegese okuyingiza abasomesa abapya mu masomero gonna mu ggwanga okutandika n’omwaka gw’ebyensimbi 2018/2019. Amasomero gabeere magumu ekizibu kikolebwako. Twawandiikira dda akakiiko ka palamenti ne minisitule y’ebyensimbi okutunula mu nsonga eno, kuba okwongera omuwendo gw’abasomesa kyetaagisa ssente, naye tulinde omwaka gw’ebyensimbi ogujja.

Connie Galiwango, omubaka omukyala owa Mbale, akulira akakiiko k’ebyenjigiriza mu palamenti yagambye nti ekyasinga okuleetawo obuzibu wabaddewo okuyimiriza enteekateeka y’okwongera abasomesa mu masomero ga gavumenti okumala emyaka egiwera, naye ensonga eno tugikutte kannaabwala. Bwe baaleeta ekiteeso ky’okwongeza abasomesa ba ssaayansi omusaala twakiwakanya kuba babadde baakabongeza ne tusalawo ssente ezo twongere okufunayo abasomesa abalala naddala mu masomero ga siniya ge tugenda okutandika nago.

Tugenda kuleeta abasomesa ba ssaayansi 1,900, nab’olungereza 1,100 kuba be babadde ab’ebbula, abasomesa mu ggwanga weebali lwakuba tubadde tetubanoonya. Tugenda kwongera amasomero 100 aga siniya, nga buli ggombolola (sub county) erimu essomero lya gavumenti, nago tugenda kuteekayo abasomesa 2,100. Ssente ezinaaba zisigaddewo ku ezo ze baali bagenda okwongeza abasomesa ba ssaayansi, buli musomesa ayongezebweko ebitundu 20 ku 100 ku musaala.

Wajja kubaawo ekirango mu mawulire okuyita abasomesa bano era omwaka ogujja amasomero gagenda kwongezebwa abasomesa, tugenda kuleeta abasomesa abasukka mu 5,000 mu siniya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...