
Mariach mu katono ate wansi y'emmotoka ye eggyiddwako nnamba puleeti ng'eri ku poliisi ya OLd Kampala
MUKISEERA kino bannakatemba n'abantu ab'enjawulo bamaze okuba nga batuuka ku polisi ya Old Kampala okusobola okulaba nga baggyayo munnakatemba Charles Kasozi amanyiddwa ennyo nga MC Mariach.

Mariach yakwatiddwa olunaku lw'eggulo n'atwaliba ku Poliisi ya Old kubigambibwa okukuba Omusirikale wa poliisi y'ebidduka n'amuyuza essaati oba yunifoomu.
Wadde ng'abantu bazze mu bungi ku poliisi ya old Kampala omuli n'omukulembeze wabayimbi ne bannakatemba Andrew Beno Kibuuka naye poliisi Mariach ekyamulemedde.