TOP

Enguumi kata emuwogole oluba

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd July 2018

Enguumi kata emuwogole oluba

Konde 703x422

Faisal Kirunda owa Busoga Boxing Club (ku ddyo) katono awogole Abdul Kamya owa Kololo High Boxing Club oluba bwe yamukubye eng’uumi musosolandaggu. Bano baabadde mu mpaka za ‘National Boxing Intermediates’ e Katwe ku Ssande.

Kiraabu ya Lukanga yawangudde empaka z'ebikonde eza ‘National Boxing Intermediates’ oluvannyuma lw'okusinga endala obubonero ku mitendera egy'enjawulo ku fayinolo eyabumbujjdde ku kisaawe kya Katwe - Katale Zooni.

Okuva empaka lwe zaatandika, Police ezze ereebya kiraabu endala era wadde yasitukidde mu kikopo kya bakafulu (Elites), tekyagyeyimiridde.

Lukanga yamazeeko nga ye kyampiyoni bwe yakuhhaanyizza obubonero 46. Ku mutendera gw’abato, Lukanga yaziwangudde n’obubonero 24 n'eddirirwa Sparks Boxing Academy ku 17.

Mu bavubuka, Lukanga yakutte kyakubiri ku bubonero 15 nga yaddiridde Kololo High (31). Mu bakulu Lukanga yafunye obubonero 4 sso nga Police yawangulidde ku 14.

Mu bakazi, Lukanga yawangudde n'obubonero 6. Nnannyini kiraabu ya Lukanga, Samuel 'Don King' Lukanga yagambye waakwongera okussa ssente mu ttiimu ye ng'agula abazannyi eyongere okufufumya endala.

Fayinolo yeetabiddwaako omubaka wa Palamenti owa Makindye West, Allan Ssewanyana, amyuka omudumizi wa poliisi, Andrew Sorowen ne pulezidenti w’ekibiina ky'ebikonde mu ggwanga, Moses Muhangi abaweze okukwatira awamu bazze ebikonde ku maapu.

Abazannyi 169 okuva mu kiraabu 30 be beetabyemu mu mpaka ezaawedde ku Ssande.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?

Kita 220x290

Ebya Kitatta bijulidde

Kino kitegeeza Kitatta wakubeera mu kkomera okumala okumala ebbanga eritamanyiddwa okutuusa abakulu lwe banakomawo...