TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya Sharita bibi; Omusajja gweyafunye omupya yecanze

Ebya Sharita bibi; Omusajja gweyafunye omupya yecanze

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd July 2018

Ebya Sharita bibi; Omusajja gweyafunye omupya yecanze

Sha1 703x422

Sharita Mazzi mawanvu

OMUSAJJA wa Sharita omupya yeecanze. Agaanye ebya Sharita okumwanjula ng’agamba nti alina mukyala we gw’atayinza kugattako mukazi mulala. Omulangira Noah Kayondo Musanje obwedda ayogera mu ddoboozi ekkangufu agamba nti wadde Sharita amumanyi era baamukwano, si mukyala we era tayinza kumwanjula kubanga alina mukyala we ayitibwa Patricia Ndagire bwe baagalana kati.

Musanje okwogera bwati kiddiridde Sharita okuvaayo wiiki ewedde n’alaga ebifaananyi by’omukolo kwe yakyalizza omusajja we omupya era n’ategeeza nga bwe bazzaako okwanjula. Sharita teyalaze ffeesi ya musajja kyokka oluvannyuma kyazuuliddwa nti ye Mulangira Noah Kayondo Musanje ow’e Chicago mu Amerika.

Wadde Kayondo akkirizza nti yakyadde, awakanyiza ebyogerwa Sharita nti omukolo gwabadde wa ssenga we e Nalubabwe mu Mukono n’agamba nti omukolo gwe yabaddeko, gwabadde wa mwannyina wa Sharita e Nalya okumpi n’e Ntinda.

Kayondo era yeeganyi eby’okugenda e Dubai ne Sharita okuwummulako oluvannyuma lw’omukolo gw’okukyala n’ategeeza nti e Dubai yabaddeyo na Patricia. “Shanita simulinako buzibu naye olw’okuba ensonga ze ye yazitandise n’ateekayo n’ebifaananyi ku Face book era njagala azeeyogerere.

Ekisinga obukulu nkugambye nti mukyala wange mu kiseera kino ye Patricia ate bwe njagala omuntu njagala omu era tumala kwawukana okufuna omulala kati ebyogerwa nti nabadde ne Sharita e Dubai sibimanyi.

Kye mwagala okugamba nabaddeyo n’abakyala ba mirundi ebiri?, Sharita alina obukakafu nti nabadde naye? ” Kayondo era akyukidde abakyala abalala abamulumiriza okubeera naye mu laavu n’okumwanjula okuli; Pasita Joy Kihuguru owa ‘Soaring with Eagles Ministries’ ne Nisha Katushabe nabo n’abasaba nti alina obukakafu oba satifi keti egiggyeyo agirage mu kifo ky’okumwesibako n’okumwonoonera erinnya nti tayisa sikaati. “Mu bulamu naakanjulwa omukyala omu Aisha Bukenya mu 2000. Mu 2008 ng’obufumbo bwange bugootanye nasisinkana Nisha ono yantwala ewa taata we mulabeko bye bifaananyi by’alaga so si kwanjula.

Joy Kihuguru yali aneegwanyiza naye nagaana okumwagala kati bwe busungu bw’anninako n’okutuuka okumpita omufere kyokka nga nze gwe nandiyise omufere kubanga namuwanga ssente zange.” Bwe yabuuziddwa ku ky’ebifaananyi ebyamukubwa ku mukolo gwa Kihuguru ogw’okwanjula nga bakumba mu December wa 2015, Kayondo yagambynti kaali katego ka Kihuguru eyamuyita nga mukwano gwe okumubeererawo mu kifo ky’eyali omulenzi we ataasobola kujja ku mukolo kyokka Kihuguru alumiriza nti baali mu laavu nga baayawukana luvannyuma.

Kayondo yagasseeko nti “Nze omukazi gwe sigendangako naye mu Namboole yadde okunywegera simubala nga mukyala wange kale; Kihuguru, Nisha, Dorris ne Sharita si bakazi bange.”

LWAKI SHARITA YAFULUMIZA EBIFAANANYI BY’OMUKOLO NGA WAYISE EMYEZI EBIRI? Sharita twagezezzaako okumutuukirira nga tuyita ku ssimu kyokka ono yagaanye okwogera naffe era obwedda bw’agikwata ng’abaako gw’agiwa atugambe nti akyalina by’akola ajja kutuddira.

Kyokka omu ku mikwano gya Sharita ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza nti oluvannyuma lwa Kayondo okusooka okukakasa Sharita nti talinaayo mukazi mulala yafunamu okwekengera nti yandiba ng’amulimba era wano kwe kumuwa akakwakkulizo k’okukyala mu bazadde be akakase nti ddala amwagala.

Nga Kayondo amaze okukyala yagaana Sharita okufulumya ebifaananyi nga bali bombi era y’ensonga lwaki Sharita yafulumizza bibye byokka kyokka wadde yabadde akikoze bwati, yasobeddwa bwe yakizudde nti omusajja alina omukyala omulala. Embeera y’emu bwe yali ne ku Pasita Joy Kihuguru bwe yafulumya ebifaananyi by’okwanjula ng’ali ne Kayondo amale afune obubaka n’amasimu agamutegeeza ng’omusajja bw’alina abakazi abalala. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...