TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omuwala Faaza gwe yazaalamu bamufuumudde mu nju lwa bbanja

Omuwala Faaza gwe yazaalamu bamufuumudde mu nju lwa bbanja

By Stuart Yiga

Added 3rd July 2018

OMUWALA Maureen Kisaakye, alumiriza Faaza Robert Ssemwogerere ow’omu kigo ky’e Ntinda okumuzaalamu omwana asobeddwa oluvannyuma lw’okugobwa mu nnyumba mw’abadde asula ne mukwano gwe Harriet Nakitto.

Nakitto 703x422

Bukedde yasangirizza Kisaakye ne mukwano gwe Nakitto, abadde amusuza nga bafulumya ebintu okuva mu kazigo mwe babadde basula nga buli mwezi babadde basasula emitwalo 15.

Nakitto yategeezezza nti, landiroodi abadde abamanyidde ku nnaku yaabwe Wycliff Turyamuheza, gye buvuddeko yatunda ekizimbe kwe babadde basula n’akiguza Apollo Begumisa.

“Begumisa yatuwandiikidde ebbaluwa ng’atuyita okumusisinkana ewa ssentebe w’ekyalo era olwatuseeyo yatukozesezza akakalu buli omu okumusasula nga ssente z’obupangisa obutasukka nnaku za mwezi ssatu, buli mwezi era ssente olwatulemye okusasula n’atugamba tumuviire,” bw’atyo Harriet Nakitto bwe yategeezezza.

Nakitto ayongerako nti, baali bayawula mu muzigo mwe babadde basula ne bakolamu engeri y’akaduuka mwe bassa firiigi ne ccakalacakala omulala basobole okweyimirizaawo naye oluvannyuma akaduuka kaagwa nga buli kasente ke bafuna kagenda mu kulabirira mwana wa faaza.

 

Nakitto agamba nti yali akola gwa bufumbi mu kigo ky’e Kigoowa gye yamanyira Kisaakye, eyali aleeteddwa bwanamukulu w’ekigo, Rev. Fr. Edward Sekalembe, okumuyambako ku mirimu.

Kisaakye yategeezezza Bukedde nti, “bukyanga Minisita Florence Nakiwala Kiyingi, ayingira mu nsonga zaabwe n’okutuusa kati faaza abadde tatuwa wadde nga yali yeeyama okubutuwa omuli n’okutusasulira ennyumba mwe tusula,”.

 

“Abantu Faaza be yateekako ng’abakuza b’omwana okuli Fred Yiga ne Justine Namatovu baakwatagana n’abakungu okuva mu ofiisi ya Minisita ne batuleetera empapula ne bandagira nziseeko omukono.

Nasooka kugaana nga nziraba ng’engingirire kyokka bantabukira nga bang’amba nti, bwe mba saagala kussa mukono ku mpapula, eby’okuyamba omwana n’obuyambi obw’engeri yonna tebajja kubumpa.

Kino kyampaliriza okussaako omukono ku mpapula. Ssaamanya kye zaali zitegeeza” Kisaakye bw’anyonnyola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...