TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bofiisa abaakwatibwa ku by'okutta Kaweesi byongedde okuboonoonekera

Bofiisa abaakwatibwa ku by'okutta Kaweesi byongedde okuboonoonekera

By Musasi wa Bukedde

Added 4th July 2018

Bofiisa abaakwatibwa ku by'okutta Kaweesi byongedde okuboonoonekera

Deb1 703x422

Felix Kaweesi

BOOFIISA ba poliisi abaakwatibwa ku by’okutemulwa kw’eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi, byongedde okuboonoonekera. Amagye gatutte emmundu nnya (4) ezigambibwa nti kuliko ze baakozesa okutta Kaweesi ew’omukugu wa Gavumenti e Wandegeya okuzeekebejja.

Zaatwaliddwa ku Government Analytical Laboratories (GAL), amasasi agaggyibwa mu mirambo n’agaali gawagamidde mu bbaati ly’emmotoka n’ebisosonkole ebyakuhhaanyzibwa we battira Kaweesi nga March 17, 2017 e Kkulambiro.

Amagye gaagala okuzuula emmundu entuufu ezaakozesebwa mu kutta Kaweesi nga basinziira ku bisosonkole ebyalondebwa n’okukebera oba kuliko ebinkumu byonna abatemu bye baalekako.

Emmundu ezaatwaliddwaayo kuliko emu ey’ekika kya M4 eyaggyibwa mu maka ga Herbert Muhangi eyali omuduumizi wa Flying Squad ate endala ebbiri, baazizuula zikukuliddwa mu kinnya wamu n’eyekika kya Uzi gun ate endala, baagiggya mu maka g’omu ku basibe. Okusinziira ku nsonda mu ISO, ekitongtole ekiketta munda mu ggwanga ekyazuukusa fayiro ya Kaweesi, fayiro ya boofiisa abagambibwa nti be batta Kaweesi yaggwa dda wabula bakyabuzaako obuntu butono nnyo omuli lipooti y’omukugu wa Gavumenti ekwata ku mmundu.

Mu kunoonyereza okwasooka, poliisi yatwala emmundu ezigambibwa nti ze zaakozesebwa mu kutta Kaweesi ew’omukugu waGavumenti, emmotoka, ebisosonkole by’amasasi n’amasasi agaggyibwa mu mirambo ogwa Kaweesi, Godfrey Mambewa eyali ddereeva ne Kenneth Erau eyali omukuumi era ne baweebwa lipooti eraga nti ze zatta. Kyokka mu kunoonyereza okupya okukolebwa CMI ne ISO, emmundu endala zaatwaliddwaayo n’ebisosonkole poliisi bye yali yatereka.

Tekimanyiddwa oba ng’ebisosonkole ebyatwaliddwa nga ddala bye bituufu ebyaggyibwa mu kifo Kaweesi we baamuttira kubanga, kaweefube mungi abadde akolebwa okutta fayiro yaKaweesi. ISO yakutte omusajja agambibwa nti yabadde asindikiddwa okubba fayiro ya Kaweesi n’ebizibiti byonna. Enfunda eziwerako, ebizibiti ku musango gwa Kaweesi bizze bibbibwa okuva mu ofiisi ez’enjawulo.

Waliwo abasajja abaakwatibwa gye buvuddeko nga bano kigambibwa nti, baamenya ku GAL ne babba kompyuta omwali ebikwata ku by’okutemula Kaweesi. Mu 2017 gunaatera okuggwaako, waliwo abazigu abaamenya ofiisi za ISO ku Mawanda Road ne babba fayiro z’ebyali byakuh−haanyizibwa ku bya Kaweesi ate emyezi ng’ebiri emabega, waliwo abaayingira mu kifo abakugu ba poliisi abakuhhaanya n’okwekebejja ebizibiti (Forensics) we baatereka mmotoka ya Kaweesi ne babbamu ebimu ku bizibiti ebyaterekebwamu.

EYAPANGA OBUJULIZI AKKIRIZZA EMISANGO Ku Mmande Col. Atwooki Ndahura omu ku baakwatibwa yabadde alina okulabikako mu maaso g’omulamuzi, Musa Ssekaana eyayisa ekiragiro eri omuduumizi w’ekitongole ky’amagye ekikessi (CMI) okutwala Ndahura mu kkooti nga July 2, 2018.

Kyokka mu kkooti Ndahura teyatwaliddwa, Ssaabawolereza wa Gavumenti yatutte ekiwandiiko ekyavudde mu magye nga kiraga nti, Ndahura yabadde akkirizza emisango egyamugguddwaako ng’alinze kibonerezo kigenda kumuweebwa. Ndahura yaggulwako omusango gw’okulemesa etteeka okukola omulimu gwalyo we yabeerera Dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikessi.

Kigambibwa nti, ye yapangaobujulizi ku bannansi ba Rwanda abaatikkibwa ne bazzibwa e Rwanda nga n’omusango ogwatwalibwa mu kkooti y’amagye oguvunaanibwa boofiisa ba poliisi Nixon Agasirwe, Joel Aguma n’abalala tegunnasalibwa. Era waliwo ebigambibwa nti, y’omu ku baapanga obujulizi ku basibe abaakwatibwa ku bya Kaweesi era oludda oluwaabi kwe lubadde lugenda okwesigama mu kubawozesa.

Kyazuulibwa nti, waliwo boofiisa ba poliisi n’abajaasi okuva mu CMI abaapanga obujulizi ku basibe. Bano era baategeka n’abajulizi ne babawa ebyokwogera nga batuuse mu kkooti. Amagye bwe gaakizuula, gaasooka ne gakwata Lt. Kagina n’asimbibwa mu kkooti y’amagye esookerwako Unit Disciplinary Committee (UDC) n’asindikibwa mu kkomera ly’amagye e Makindye.

Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yategeeza Bukedde nti, abatta Kaweesi December wa 2017 yagenda okutuuka yali amaze okubategeera nga ekisigadde kiseera buseera okubakwata era bonna abalina balindiridde kutwalibwa mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...