TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya Sharita biranze; Mukyala wa Kayongo amukudaalidde!

Ebya Sharita biranze; Mukyala wa Kayongo amukudaalidde!

By Musasi wa Bukedde

Added 4th July 2018

Ebya Sharita biranze; Mukyala wa Kayongo amukudaalidde!

Lop1 703x422

Sharita

PATRICIA Ndagire, mukyala w’Omulangira Noah Kayondo Musanje eyakyadde ewa Sharita Mazzi Mawavu gye buvuddeko asekeredde Sharita okwagala okumupasulako omusajja n’amuwa amagezi afune omusajja omulala.

Ndagire gwe twasanze e Lubowa ku Lwokubiri yagambye nti ebya laavu ya Sharita ne Kayondo yabitegeeredde mu mawulire nga Sharita amaze okufulumya ebifaananyi by’omukolo gw’okukyala.

Kyokka Ndagire yagambye nti wadde ekikolwa kya bba kyamunyiizizza, yamusonyiye oluvannyuma lw’okutuula ne boogera. “Siri Musiraamu nti nsobola okukkiriza okufumba ne muggya wange era kino ekyabaddewo kyanneewuunyisizza nnyo naye ekirungi omusajja yasazeewo nti nze mukyala we omutuufu abalala bali ku byabwe.” Ndagire yagambye nti ebbanga ery’emyaka esatu ly’amaze ne Kayondo tawulirangako nti alina omukyala omulala okuggyako abo be yayawukana nabo.

Era wano w’asinzidde okugamba nti, “Kayondo nkimanyi si malayika obutakola nsobi era wadde alina ebibi naye ebirungi by’akola bye bisinga obungi. Musajja mukozi muwulize ate alina laavu era afaayo” Ndagire obwedda ayogeza amaanyi yatuuse ne ku mbeera egamba nti “Sharita gwamusinze.

Bw’akimanya nti muninkini wa Kayondo ow’ebbaali (Side-dish) era omusajja amuyambye n’akyala ate kati kiki ekyamuggyisizzaayo ebifaananyi okuggyako okwagala obutaala? Omusajja akulabira mu nkukutu era ng’akugaana n’okulaga ebifaananyi bye mwekubizza ddala oyo abeera wuwo era akwagala? Ndowoooza Sharita ekyo yandibaddde yakirabirawo. Okukyala tekulina makulu era akyayinza n’okukyala ew’omulala kasita tamwanjula oba okumukuba embaga.”

ALABUDDE PASITA JOY KIHUGULU Ndagire obwedda ayogera nga bw’alaga n’obubaka bw’oku ssimu bw’agamba nti buzze busindikibwa abakazi abeegwanyiza bba yayogedde ne ku Pasita Joy Kihuguru owa ‘Soaring with Eagles Ministries’ agugulana ne Kayondo mu kiseera kino olwa laavu.

Ono amusabye okuleekeraawo okulaalaasa bba ng’amusalako ebigambo nti mufere. “Kihuguru nze kennyini yankubirako essimu ng’ambuuza bwe mpita Kayondo era ye n’ategeeza nti ye mukyala we nze ndi ku byange. Namusiriikirira kubanga nze nali mmanyi ekituufu. Kati mu kiseera kino bw’avaayo ne yeekaza simanyi ky’ayogera.

Njagala ave mu bigambo alage obujulizi ku buli kimu ky’ayogerako omuli ebbaluwa y’okwanjula ne Visa y’omu Amerika nga bw’agamba nti yagenda ne Kayondo okuwummulamu e California.

Pasita Kihuguru alumiriza Kayondo okumuferalaavu ne ssente bwe yamwanjula ate n’amulekawo kyokka Kayondo bino abiwakanya. Bino we bijjidde nga Sharita yasoose kuwaana bba ono Kayondo n’akakasa nti guno omukisa gw’obufumbo gw’afunye ogwokubiri waakugukwata n’obwegendereza kuba yali takisuubira. Yagassseeko nti, “ Omanyi waliwo omusajja akwagala n’owulira nga ne Gavumenti eno togirinaako buzibu n’ogamba kimu omusajja oba afuga nze kasita banjagala...

Ate oba n’aboobukiiko bwa LC eyo yonna gye buli, babwongeze ebisanja kubanga eddembe lye mpulira mu mutima lya maanyi nze ebirala sikyabimanyi.” Wabula Kayondo yategeezezza nti Sharita tamumanyi nga mukazi we n’agamba nti alina omukazi omu yekka ye Patricia Ndagire, era tayinza kumugattako mulala.

KAYONDO AYOGEDDE KU NKOLAGANA YE NE IRYN NAMUBIRU Wakati mu katemba Kayondo gw’alimu n’abakyala abamulumiriza okubaganza, waliwo ekifaananyi ekyafulumiziddwa nga Kayondo ali n’omuyimbi Iryn Namubiru ekyaleetedde abamu okulowooza nti n’ono yandiba nga baalinako enkolagaana eyenjawuulo. Kayondo bwe yabuuziddwa ku nkolagana ye ne Namubiru yagambye nti yakoma dda okumulaba era okumusisinkana Jose Chameleone ye yamumulaga.

Yagambye nti mu biseera ebyo yali polomoota wa bayimbi n’okubatwala mu Amerika okuyimba era bangi n’abakolako omukwano. “Okusisinkana Namubiru, Chameleone ye yaamumundaga oluvannyuma nasigala njogera naye ku bya bizinensi naye kati wayise ebbanga ddene nga tetusisinkana era simanyi oba akyanzijjukira.” Ebirala bikuηηaanyiziddwa Josephat Sseguya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...