TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyasima entaana n'efuuka eky'obulambuzi ku kyalo afudde naleka ekiraamo ekikambe

Eyasima entaana n'efuuka eky'obulambuzi ku kyalo afudde naleka ekiraamo ekikambe

By Musasi wa Bukedde

Added 4th July 2018

Eyasima entaana n'efuuka eky'obulambuzi ku kyalo afudde naleka ekiraamo ekikambe

Kib1 703x422

Omugenzi Naluwooza nga bwabadde afaanana.

OMUKAZI eyeesimira entaana ebadde yafuuka eky’obulambuzi ku kyalo okuva mu 2003, afudde n’aleka batuuze mu kiyongobero olw’enkulaakulana gy’abadde atadde ku kitundu. Anna Naluwooza abadde omutuuze w’e Kiti mu ggombolola y’e Bukulula e Kalungu yafiiridde ku myaka 81 oluvannyuma lw’okulongoosebwa Haniya e Kitovu, Yalese ekiraamo ekiragira abatuuze okumuziika mu ntaana gye yetegekera ng’akayali mulamu.

Okusinziira ku mukwano gw’omugenzi, Abdul Hakim Ndawula Naluwooza tabadde na bahhanda. “Namanya Naluwooza okuva mu 1972, era ewuwe wabadde tewaggwa bantu, naye nga tatulaganga ku wa Luganda lwe n’omu,” Ndawula bwe yagambye. Naluwooza abadde yeezimbira entaana ye mu 2003, era ng’abadde agaba eddagala ly’ekinnansi eryendwadde ez’enjawulo.

EKYAMUZIMBYA ENTAANA Ndawula agamba nti Naluwooza yava Bulemeezi ng’amaze okufiirwa bba. Yali yamuzaalamu abaana 11 nabo abaggya bamufaako. Ndawula annyonnyola nti ng’amaze okusenga ku kyalo muwala wa Naluwooza Gorreti Birungi gwe yali asigazza naye yafa nti ekyamukuba ewala kubanga omulenzi Wilberforce Lukyamuzi yali yeegatta ku magye nga n’okumuwuliza tamuwuliza.

Naluwooza essuubi lyeyongera okumuggwaamu mutabani bwe yakomawo okuva mu magye ng’omutwe gutabuse. Yalaba ng’asigaliddewo nga tewali agenda kumuziika,,kwe kufuna ekirowoozo ky’okwesimira entaana.Yagitandikako mu 2003. Entaana azzenga agikyusa,nga mu kusooka kyali kinnya kyereere kye yali azimbidde mu nnyumba ey’ettaka ng’agiseresezza amabaati nti kyokka bwe yafuna ku nsimbi, yagikyusa ne bagisiba amayinja ga tarazo ne tayiro olwo n’ennyumba yonna n’eddibwamu okuzimbibwa n’amatofaali era n’eyooyootebwa bulungi munda n’ebweru.

Yateekako eddiiro omuli ekiwempe ey’omulembe n’ekisenge omusangibwa entaana. MU KIRAAMO YAGOBYE ABENGANDA EWUWE Omutuuze Bosco Lusse Kaweesi, yeeyasomye ekiraamo ky’omugenzi kye yamuteresa. Yagambye nti omugenzi yalaama nti ab’oluganda lwe bwe baamwesamba wa myaka 2, ensi n’emugabana.

Nti ne bw’aliba afudde omuntu yenna alivaayo ne yeyeyita ow’oluganda bamugoberangawo kubanga tayagala bya kumwagala ng’afudde. Ayongerako nti mu lumbe lwe teri kukaaba wadde okumusabira nti wabula bakubanga mbuutu n’ensaasi nga bwe bakoloobya ennyimba, naddala nga bamuwerekera okumutwala ku ntaana. Mu kiraamo eby’obugagga bye okuli ebisolo, ebibanja, amayumba okuli emizigo gy’abapangisa ku kyalo yabirekedde bazzukulu be, aba muwala we n’abaana baabwe.

Obuyinza obulabirira amaka ge yabukwasizza akakiiko ka LCI. Abatuuze Naluwooza baamwogeddeko ng’abadde ayagala enkulaakulana y’ekitundu ng’abadde ajjumbira emikolo gy’ebyenkulaakulana ate ng’awaayo awatali kwesika. Ogumu ku mikolo gye yasembye okwetabako nga basondera essomero yawadde ensimbi mu mpeke ezigula eminwe gy’amabaati amamyufu 40.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kenzo 220x290

Kenzo alayidde obutaddamu kuyimbira...

Muzaata bwataneetondera sidda ku siteegi-Kenzo

Bukedde TV Live Stream

Bukedde TV Live Stream

Bk 220x290

Bukedde TV Live Stream

Laba wano Bukedde TV Live

Bukedde Tv Livestream

Bukedde Tv Livestream

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...