TOP
  • Home
  • Amawulire
  • E Kenya nayo bakaaba! Batadde omusolo ku beekubya 'Selfie'

E Kenya nayo bakaaba! Batadde omusolo ku beekubya 'Selfie'

By Musasi wa Bukedde

Added 4th July 2018

NG’OKYALOJJA ekiri e Uganda, ab’e Kenya nabo Bajeti yabalese beewuunaganya olw’emisolo emipya gavumenti gy’etaddewo mu bajeti ya 2018/2019.

Kenyansocialitehuddahmonroetakingaselfie 703x422

Omuwala nga yeekuba ekifaananyi kya 'selfie'

Okusimula ebisigala by’omufu baakubisasulira okusinziira ku myaka gy’omuntu eyafa, okukuba ‘selfi e’ olina okuwa omusolo, abatembeeyi ku nguudo baakusasula buli mwezi, ebbaala, abasimba emmotoka mu kibuga Nairobi wakati nabo bagenda kusasula n’abalokole ababuulira enjiri ku kkubo oba mu kusaba okw’omu ttunu balina okusasula omusolo.

Emisolo egisinga gissiddwaawo mu masaza ag’enjawulo era gyawukana okusinziira ku ssaza omuntu mw’ava.

Essaza ly’e Siaya, okubuulira enjiri ku luguudo olina okusasula 20,000/- eza Kenya (mu za Uganda 765,695/-), awamu bagenda kubasasuza buli ssaawa gy’amala ku luguudo nga buli ssaawa abeera asasula 1,000/- eza Kenya.

Abategeka ebikujjuko nga bw’olaba abategeka emisinde gy’okusonda ssente mu Kampala, bano baakusasula 4,000/- eza Kenya buli ssaawa (mu za Uganda 153,139/-), e Makueni ekifo ekisanyukirwamu kyakusasula 1,148,542/- buli mwezi.

Okuziikula ebisigala by’omuntu omukulu osasula 50,000/- eza Kenya (mu za Uganda 1,914,237/-), omwana osasula 30,000/- eza Kenya mu za Uganda 1,148,542/- at’omuwere osasula 20,000/- ez’e Kenya mu za Uganda 765,695/-.) Minisita w’ebyensimbi Charles Kerich yagambye nti olaba omuntu agenda mu dduuka n’agula ebintu ate n’agula akaveera mw’abitwalira! Naye kye yavudde asalawo nti oyo alina ekifo eky’obwannannyini ng’asasula abasimbawo mmotoka buli ssaawa eyitawo, naye alina okubaggyako omusolo.

Emmotoka ya buyonjo yaakusasula 50/- eza Kenya (eza Uganda 1,914/-) buli ssaawa, bbaasi buli mulundi gw’esimba n’etikka abantu esasula 200/- (mu za Uganda 7,656/-), kabangali yaakusasula 100 eza Kenya ate ekifo ky’obwannannyini omusimba mmotoka nga kisobola okusimbamu emmotoka 200 kyakusasula 20,000/- (mu za Uganda 765,695/-).

Omutembeeyi akola ku luguudo waakusasula 400/- omwezi, akuba selefi e ng’okozesa essimu yo osasula 100/- eza Kenya (mu za Uganda 3,828/-) okusobola okufuna olukusa kyokka tebannaba kumanya ngeri gye bagenda kugusasulamu.

Ekibanda kya firimu olunaku kyakusasula 1,500/- (mu za Uganda 57,427/-). Okuteekawo bbandi n’ekuba ennyimba nga bw’olaba Afrigo, buli kiro olina okusasula 1,000/- (mu za Uganda 38,284/-).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta