TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri butto w'ekisubi gy'awonyaamu omutwe n'okusikiriza enjuki mu nnimiro

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri butto w'ekisubi gy'awonyaamu omutwe n'okusikiriza enjuki mu nnimiro

By Musasi wa Bukedde

Added 4th July 2018

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri butto w'ekisubi gy'awonyaamu omutwe n'okusikiriza enjuki mu nnimiro

Sub1 703x422

Ekisubi nga bwe kifaanana.

KIZIBU okusanga omuntu atamanyi kisubi. Bangi bakinywera ku caayi ate abamu beegomba okunywa amajaani agalimu ekisubi olw’akawoowo akagavaamu. Newankubadde bakyettanira okukinywa.

Abamu okukiteeka ku caayi basooka kukikolamu nsaano, wabula eno abamu bagamba nti tebakolera olw’obugimbi obukiriko, abamu bakyogerako ng’ekibasajjula amabwa naddala abalina alusa.

Olw’embeera eno kye tuvudde tukamulamu butto akuwa emigaso egy’enjawulo;

Ayamba ku bantu abakoowa naddala abakeera nga tebalina maanyi, nnywa amatondo ataano akawungeezi ne ku makya ate kiyamba ne ku nkuba y’emmere.

Era waliwo kkampuni kati ezikola eby’okunywa ebizzaamu amaanyi nga bakozesa kisubi.

Ayamba ku musujja, osobola okumukozesa mu kugujjanjaba ng’omunywera ku mazzi agabuguma. lOmukyala ali mu nsonga, kimuyamba obutalumizibwa, onywa amatondo ataano.

Ku bafuna ekiddukano, abayamba okukisiba, kuba atta obuwuka obukireeta mu bantu, ente, enkoko n’ebirala.

Ayamba okuwonya omutwe, weesiiga ku mutwe n’emabega w’amatu ne gusirikalAbalina ebirime ng’enjuki tezijja mu nnimiro naddala abalina obutunda, osobola okuteekamu pamba alimu butto w’ekisubi akawoowo kasika enjuki n’abalina ebirime ebirala nabyo kikola.

Ku muntu alunda enjuki, butto osobola okumutega ku muzinga kuba akawoowo k’alina kasikiriza enjuki ne ziyingira.

Ayamba okugumya amannyo n’okutangira endwadde zaago. Muyumuunguze mu kamwa buli kumakya.

Akola ku kaandida w’omu kamwa, kiyumuunguzeemu nga bw’onywa era kiyamba ne ku baana abeesika.

 

Alina enseke ku maaso, teeka ettondo mu mazzi g’onooba mu maaso kijja kugobamu obucaafu. Alina oluwumu mwesiige lujja kugenda. lAkola ku bakyala bannabukalu ssinga bamwesiiga mu bitundu byekyama. Kiyamba okukkakkanya ekinywa ky’amabeere amata ne geeyongera.

Alina ekirabo ky’emmere, fuuyira akawoowo mu kirabo kyo ate naawe okumwekuba ajja kusikiriza abaguzi. Ate omuteeke ne mu caayi.

Ayamba mu kwokya amasavu n’abalwadde b’akawago nga tebasobola kusiba musolo. Ssinga weesiba ekinywa, weesiige butto ono bijja kuta. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652. 

Emigaso gya Kabakanjagala   Ddammu onyinnyonnyole ku migaso gya butto wa Kabakanjagala. Davi Ssemwogerere e Mityna. Kabakanjala amannyiddwa mu Buganda era yasimbibwa ku luguudo oluva ku Lubiri okuyingira mu Bulange kati kwe batadde ebibumbe by'ebika.

Alina emigaso egy'enjawulo ssinga oba osobodde okumukamulamu butto;

Atangira omusana okukuyisa obubi ku lususu eri abo abagukoleramu ekiseera ekiwanvu.

Ayidde oba alina ekiwundu, akuyamba okukikaza mu bwangu.

Ayamba enviiri obutakutuka ng’osanirira ate kw’alina eza kaweke azigonza n’okuziggyamu situka. lAyamba mu kugoba mugaba mu bakyala n’abaami.

Ayamba ku bantu abakubiddwa kisipi, ssinga omusiigawo ayamba okumugoba n’okukaza amabwa ago. lButto wa Kabakanjagala ayamba okwongera amaanyi ku baserikale abakuuma omubiri. lAyamba ku baana abafuukuuse olususu ne batereera.

Butto wa Kabakanjagala agonza amaliba g’ensolo nga ente ne kyanguyiza abagakolamu ebintu eby’enjawulo nga engatto okwanguyirwa okugaweta n’okukola dizayini ez’enjawulo. lAyamba okuwonya alusa, amabwa mu kamwa ne mu bulago naawe akukolera. Wano onywa akagiiko kamu mu mazzi agabuguma.

Akola ku biguuna, enkyakya n’enjala ezaavunda olwa kabootongo omwesiiga, wabula ku wa kabootongo omunywa ku mazzi agabuguma.

Ensigo za Kabakanjala osobola okuzikolamu ebizigo. lAziyiza okubutuka ggwe n’emigaso emirala. Ekisubi nga bwe kifaanana. Butto akamuddwa okuva mu kisubi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba