TOP

Museveni alagidde okusala ku musolo gwa mobile money

By Musasi wa Bukedde

Added 5th July 2018

PULEZIDENTI Museveni alagidde URA obutasala ku bantu nsimbi za musolo bwe baba baweereza ssente ku mobile money.

Museveni703422 703x422

Pulezidenti Museveni

Yagambye nti abantu abaweereza ssente mu nkola ya ‘Mobile Money’ tebalina kuggyibwako ssente yonna kyokka abo abaziggyayo basalibweko omusolo omutono gwa butundutundu butaano ku buli kikumi (0.5%).

Pulezidenti okuvaayo kiddiridde Bannayuganda okwekubira enduulu olw’okusalibwako emisolo emirundi ena ku ssente z’ezimu.

Kino kibadde kikolebwa mu ngeri nti bw’ossa ssente ku ssimu bakusala, bw’oweereza ne bakusala, gw’oziweerezza bw’abeera aziggyayo ne bamusala kyokka n’azimuwa naye ne bamusala!

Museveni agamba nti omuntu alina okusasula omusolo ate omutono, y’oyo aggyayo yekka.

Yayongeddeko nti omusolo gw’awagira era ogulina okugenda mu maaso gwegwo ogw’abantu abagufudde omulimu okusiiba ku mikutu gya ‘social Media’ nga bakolerako ebintu ebitaliimu gamba ng’okulaba obuwemu, okusaasaanya engambo ezitaliiko mutwe na magulu, okuvuma, okusaasaanya obulimba ne kalonda omulala atazimba ggwanga n’abantu ssekinnoomu.

Abantu ababeera ku mikutu gino basasula naye ng’ekyewuunyisa ensimbi zino bazisasula Abazungu mu ngeri gye bateetegerezza bwatyo ne yeebuuza nti buzibu ki obukirimu bwe babeerako omusolo gwe bawa eggwanga ne gukola emirimu gy’enkulaakulana.

“ Abakozesa emikutu gimugattabantu tebalina lukusa kugemula nsimbi ze tufuna mu mmwaanyi, amata n’ebirala eri amakampuni g’essimu agava wabweru w’eggwanga nga banyumya olumu mu bulimba ng’ate tebaagala kubeerako kye bawaayo eri eggwanga lyabwe, obugagga bwalyo bwe bakozesa mu bubi?” Museveni bwe yayongedde okwebuuza.

Mu kiwandiiko kye yafulumizza eggulo, Museveni yasoose n’alaga Bannayuganda nga bwe waliwo ensonga nnyingi eziraga nti omusolo eggwanga lye guyingiza tegweyongerako (guli ku bintu 14.2%) okusinziira ku bibalo by’omwaka oguwedde. “

Embeera eno eva ku nsonga eziwerako okuli amakampuni g’amasimu okuba nti gabadde ganjula amasimu matono kwago agakubwa okutuusa lwe twafunye ebyuma ebibala, abantu abalina okuwa omusolo gw’obupangisa babadde tebasasula oba okusasula omutono, abantu baffe bakyenyigira mu bulimu bw’okukolerera olubuto lwokka ate ng’obulimu obutonotono tubadde tetubuggyaako musolo, obutabeerawo byuma byekenneenya byamaguzi ku nsalo zaffe kuba kati tulina bina (4) naye ndagidde byongerweko ssaako n’okulwawo okuleeta enkola ya sitampu z’ebyuma bikalimagezi,” Museveni bwe yannyonnyodde.

Yeebazizza Bannassaayansi b’eggwanga okwekenneenya ensonga zino ne baleeta omusolo ogunaayamba okugaziya ku nnyingiza y’eggwanga ebadde ezing’amye olw’abantu okwepena omusolo ng’ate ku mikutu mugattabantu kwe basiiba era n’alaga essuubi nti enkola ya kompyuta yaakukozesebwa okutaasa eggwanga ku batemu be yayongedde n’ayita embizzi, abagufudde omugano okutta Bannayuganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Leb2 220x290

Emmotoka mwe ntambulira etuuse...

Emmotoka mwe ntambulira etuuse okunsuza ku kkuno-Bp. Ssebaggala

Pop1 220x290

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa...

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa okutta Kirumira bateereddwa

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko