TOP

Nambooze bamututte mu Buyindi ng’ali ku ccupa

By Hannington Nkalubo

Added 5th July 2018

OMUBAKA Betty Nambooze Bakireke owa munisipaali y’e Mukono ennyonyi yagirinnye bamutaddeko amacupa agamuyamba okukkakkanya ku bulumi.

Anda 703x422

Nambooze ng’aggyibwa mu ddwaaliro e Bugoloobi okutwalibwa mu Buyindi okulongoosebwa.

Zaabadde ssaawa 9:00 ez’olweggulo n’ateekebwa ku nnyonyi ya United Arab Emirates eyamututte mu Buyindi.

Yabadde awerekeddwaako bba Henry Bakireke, omusawo we Maureen Abuni ne muwala we.

Ku kisaawe yatuukidde mu ambyulensi ya Palamenti ng’eno ye yabadde emuggye ku ddwaaliro e Bugoloobi gye yavudde ku ssaawa 6.00 ez’emisana.

Nambooze agenze kuddamu kulongoosebwa eggumba ery’omugongo oluvannyuma lw’ebyuma bye baamussaamu okuseeseetuka ekimu bwe kyamenyeka erinnyo erigambibwa nti lye lyavaako obulumi obutasalako.

Nga tannasitula, yategeezezza nti agenda kutuuka ku ddwaaliro e Buyindi leero lwa Lwakuna ku ssaawa 4.00 ez’oku makya era agenda kusanga abasawo bamulindiridde n’emmotoka etambuza abalwadde.

Yategeezezza nti bagenda kusooka kumwekebejja nga tannaba kulongoosebwa okukakasa engeri ebyuma bye baamussaamu gye byaseeseetuka.

Yategeezezza nti okusinziira ku bulumi n’embeera gye yeewulira, bagenda kuddamu kumulongoosa.

Yalese alagidde balooya be abakulirwa loodi Meeya Erias Lukwago nti baggule omusango ku baserikale ba poliisi abaamutulugunya nga bamukuba n’okumutomeza kabangali yaabwe bwe baali bamutwala mu ddwaaliro e Kiruddu.

Yagambye nti ne Gavumenti agenda kugiwaabira okumutulugunya mu ngeri eyinza n’okuggyawo obulamu bwe.

Yategeezezza nti balooya bateekwa okuggyawo ekiragiro kya poliisi kye yamuyisaako nti bakebere essimu ze.

Obulwadde bwa Nambooze okusajjuka yali akwatiddwa poliisi ng’emuvunaana okuwandiika ebigambo ku mikutu gy’amawulire ebisasamaza ku nfa ya mubaka munne, Ibrahim Abiriga eyakubwa amasasi.

Nambooze agambye nti asuubira okumalayo wiiki ssatu nga yeekebejjebwa era bw’anadda agenda kuddamu yeerwaneko mu kkooti.

Poliisi yakkiriza Nambooze okweyimirirwa ku kakalu kaayo n’emulagira addemu yeeyanjule nga July 29 omwaka guno yennyonnyoleko ekyamuwandiisa ebigambo ebisasamaza ku Abiriga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...